Kampala International University


Kampala International University (KIU) tendekero lya bwannannyini, eritali ku musingi gwakukola magoba, ng'era esangibwa mu Uganda. Yatandikibwaawo mu 2001 era n’efuna okumannyikwa mu 2009. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (March 2022)">okujuliza kwetaagisa</span> ] [1]
Mu kugoberera ekirooto ky’okukuza omulembe oguddako ogw’abagonjoola ebizibu eri ekitundu ky’Amawanga G'omubuvanjuba bwa Afrika, sinakindi ne mu Afrika yonna, Yunivasite eno ekola n'amatabi gaayo ag'emirundi 2 mu Uganda, ng'enkulu lisinganibwa mu Kampala n’ettendekero ly’omubugwanjuba erisinganibwa e Ishaka mu Bushenyi ; yunivasite endala emu eri mu Dar es Salaam ekya Tanzania ate ey'okusatu eri mu kulaakulanyizibwa mu kibuga Nairobi ekya Kenya . [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (March 2022)">citation needed</span> ] Yunivasite eno eyatandika ng’ettendekero erya bulijjo erigaba diguli, naye kati lyakula nerifuuka yunivasite ey’obwannannyini nnamba emu mu Uganda era mu kiseera kino eri ku nnamba 2 mu ggwanga okusinziira ku nsengeka ya 2022 ey'omukutu gwa Webometric, ku yunivasite 68. [2] Era kati y'emu ku ziri mu kibibiina ebigatta yunivasite okuli ekya Yunvivasite eziri mu lusere olumu n'eggwanga lta Bungereza, ekibiina ekigatta yunivasite ezisinganibwa ku semazinga wa Afrika, wamu n'olukiiko lwa Inter University-Council of East Africa. Yunivasite eno egaba pulogulaamu ez’enjawulo mu Sayaansi w’Eby'obulamu, Sayaansi ne Tekinologiya, Yinginiya, Bizineensi n’Okuddukanya emirimu, Amateeka, Eby’Obuntu n’Eby'enjigiriza.
Gy'esinganibwa
[kyusa | kolera mu edit source]KIU esinganibwa Kansanga ng'eno yeewali etendekero ekulu, mu Divizoni y’e Makindye mu kitundu ky’omubukiikaddyo bw’obuvanjuba bwa Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era ekibuga ekisinga obunene. Etendero liri ku kiromita nga 7, nga ze mayiro 4.3 mu bukiikaddyo bw’obuvanjuba bw’ekitundu kya Kampala ekiri wakati mu disitulikiti erimu bizineensi ennyingi, ku luguudo olugenda e Ggaba. Ensengeka z'ekibangirizi by'etendekero lino ziri 0°17'41.0"N, 32°36'13.0"E (Latitude:0.294722; Longitude:32.603611). [3]
Etendekero lya Kampala International University ery'Omubugwanjuba lisinganibwa Ishaka mu Disitulikiti y’e Bushenyi mu kiromita nga 328, nga ze mayiro 204, singa oba okozesa luguudo, mu bukiikaddyo-bwabugwanjuba bwa Kampala. [4]
KIU erabirira etendekero ey'okusatu eriyitibwa KIU Dar es Salaam Constituent College, mu kibuga Dar es Salaam, ekya Tanzania .
Ebikikwatako
[kyusa | kolera mu edit source]
Kampala International University (KIU) tendekero lya bwannannyini, ekitali ku kigendererwa kya kukola magoba, nga kisangibwa mu Uganda. Yatandikibwawo mu 2001, era neryetongola nga yunivasite mu Gwokusatu 2009. [5]
Abadukanya Yunivasite
[kyusa | kolera mu edit source]Akakiko akakulu
[kyusa | kolera mu edit source]Akakiiko ka Yunivasite ak'OKutinko kasinganibwaamu bano
- Omumyuka w'Akulira Yunivasite, Pulofeesa Mouhammed Ngoma
- Amyuka omumyuka w'Akulira Yunivasite avunaanyizibwa ku by’ensonga z'Okusoma, Dr Jacob Eneji Ashibi
- Amyuka omumyuka w'Akulira Yunivasite, nga y'avunaanyizibwa ku eby'ensiimbi n’enzirukanya y’emirimu, Dr Mundu Mustafa
- Omumyuka w'Akulira Yunivasite,, nga yaavunaanyizibwa ku By'okunoonyereza, okubidaabulula, okwebuuza n’okugaziya nga ye Pulofeesa Regina Idu Ejemot-Nwadiaro
- Amyuka omumyuka w'Akulira Yunivasite,kutendekero ly'Omubugwanjuba, Associate Professor Eric Mabonga
- Omuyambi w’omumyuka w'Akulira Yunivasite, avunaanyizibw ku by'okunoonyereza, n'Eby'enjigiriza, Dr Ibrahim Babangida Abubakar
- Omuwandiisi wa Yunivasite, Muky Asiati Mbabazi
- Adukanya Etendekero, Muky Christine Ainebyoona
Amatendekero g’ebyenjigiriza, amasomero, n’amatendekero
[kyusa | kolera mu edit source]Etabi ekulu
[kyusa | kolera mu edit source]Etendekero lya KIU ekulu lirina amatendekero gaamirundi esatu agagidukanya, amasomero 3, n'akakiiko ak'okutinko akagidukanya kamu[6]
- Etendekero ly'ebyenjigiriza ku KIU
- Etendekero eriyigiriza ku By’obuntubulamu
- Etendekero erisomes ku By'enfuna n’Okuddukanya emirimu
- Esomero ly’Amateeka
- Esomero eriyigiriza ebikwatagana ku Kompyuuta wamu ne Tekinologiya
- Esomero eriyigiriza ku bikwatagana ku By’obuntubulamu
- Ekitongole ekivunaanyizibwa ku diguli ez’oku ntikko n’okunoonyereza
Lino lyetabi erisinga obunene ku matendekero gano ag'emirundi esatu, nga lirina abayizi abasoba mu 7,000 n’abasomesa abasoba mu 300. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (July 2015)">okujuliza kwetaagisa</span> ]
Etabi ly'Omubugwanjuba
[kyusa | kolera mu edit source]Etabi ly'omubugwanjuba mu Ishaka lirina erimu amasomero 4 n’abasomesa webakungaanira wamulundi gumu
- Esomero eriyigiriza ku by Yinginiya ne Sayaansi oW'okuteeka Munkola
- Esomero eriyigiriza okulabirira abalwa nga liyita mu Sayansi w’Eby'obulamu
- Esomero lya Sayansi w’Eby'obulamu
- Esomero lya Sayansi w'Abazaalisa
- Etendekero eriyigiriza ku By'eddagala, wamu n'obusawo bw'amannyo
Etendekero lirimu abayizi abasoba mu 5,000 nga balabirirwa abasomesa abasoba mu 200. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (March 2022)">okujuliza kwetaagisa</span> ]
Pulogulaamu za satifikeeti, dipulooma, diguli esooka, ne diguli eyookubiri ziweebwa kutabi lino. Okusinga etendekero lino lisinga kuyigiriza bya sayaansi.
Esomero lya Sayaansi w’Eby'obulamu nga lisangibwa ku tendekero ly’omubugwanjuba. Esomero lino lye limu ku masomero omusanvu agayigiriza eby'obusawo mu Uganda, era ly'esomero ly'obusawo ler'obwannanyini eryasooka mu ggwanga. [7] Esomero lino liwa pulogulaamu mu busawo, okujanjaba amannyo, abazaalisa, tekinologiya mu by'okutabula eddagala, eby'enjigiriza, bizineensi, n’okuddukanya emirimu ne tekinologiya wa kompyuuta. Esomero lino lirina eddwaaliro erisomesa nga lirimu ebitanda 1,200. [8] [9]
Etendekro ly'e Dar es Salaam
[kyusa | kolera mu edit source]Etendekro lino liri ku yiika 100 (40 ha) mu kitundu ky’e Gongolamboto mu Disitulikiti y’e Ilala, ku mabali g’oluguudo lwa Pugu. Etendekero lisinganibwa ku kiromita nga 7, nga ze mayiro 4.3 okuva ku kisaawe ky'ennyonyi ekiyitibwa Julius Nyerere . [10]
Okunoonyereza kwa gavumenti okwa 2013
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2013, ekitongole kya ekivunaanyizibwa ku By'enjigiriza ebya wagulu ekya Uganda National Council for Higher Education (NCHE) kyatandika okunoonyereza oba nga Diguli Ey'okusatu ezaali ziwera 42 ezaaweebwa KIU okutuuka mu kiseera ekyo zaali zituukiriza ebisaanyizo bya NCHE. Ku nkomerero y’okunoonyereza mu Gwekuminoogumu mu 2013, NCHE yalangirira nti diguli zino zaali mu mateeka. [11]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ (N.d.). Newvision.Co.Ug. Retrieved April 4, 2024, from https://www.newvision.co.ug/news/1024560/kampala-international-university-ahead#google_vignette
- ↑ "Uganda | Ranking Web of Universities: Webometrics ranks 30000 institutions".
- ↑ Template:Google maps
- ↑ Template:Google maps
- ↑ Okurut, Karooro (17 March 2009). "KIU Didn't Start Climbing The Tree From The Top". New Vision. Archived from the original on 22 July 2014. Retrieved 15 July 2014.
- ↑ "Kampala International University Prospectus 2016". Kiu.ac.tz/prospectus, 2016
- ↑ Natukunda, Carol (29 August 2007). "KIU Medical School Accredited". New Vision. Archived from the original on 22 July 2014. Retrieved 16 July 2014.
- ↑ Muhwezi, Wilber (28 November 2010). "Basajjabalaba To Build Medical School In Kenya". The Observer (Uganda). Retrieved 16 July 2014.
- ↑ Ahimbisibwe, Chris (27 July 2009). "Basajja Given USh4 Billion for Hospital". New Vision. Archived from the original on 22 July 2014. Retrieved 16 July 2014.
- ↑ The Citizen, Reporter (7 May 2013). "TCU Suspends Postgraduate Courses At KIUT". The Citizen (Tanzania). Archived from the original on 20 July 2014. Retrieved 16 July 2014.
- ↑ Wanambwa, Richard (13 November 2013). "NCHE Okays KIU PhDs". Daily Monitor. Retrieved 16 July 2014.