Kampala YMCA

YMCA esingannibwa mu Kampala esangibwa e Wandegeya mu Kampala, Uganda . Ekizimbe kino kyazimbibwa mu 1962, era nga kirimu ekitongole ekitalina kakwate ku ddini wansi wekitongole kya YMCA Comprehensive Institute, etendeka eby’emikono . Ekisenge ekya wansi gyebkuyimba mu Kampala, eyetongodde ku YMCA, etendekebwa okukola ebigezo ABRSM . Ekizimbe ky’ebyenjigiriza ekipya, okumpi n’ekizimbe ekyasooka, kitundu ku ttendekero lino.
Yeegattira mu kibiina kya Uganda YMCA nga kino kirina amatabi e Jinja, Mukono, Mbale, Mbarara, Kasese .
Ekitongole kino kigabanyizibwamu eby'enjigiriza mu Pulogulaamu (ebibiina by’okwewummuzaamu ne Gala), Ekikula ky’abantu (okumanyisa abantu ku mukenenya n’ebirala), n’okuddukanya emirimu. Oludda lw’Ebyenjigiriza lukwata ku...
- Obwakituunzi
- Enzirukanya y'emirimu
- Eby'embalirira y'ebitabo
- Eby'obulambuzi
- Okusomesa abaana abato
- Eby'okufumba
- Oby'okutunga n'okwewunda
- Satifikeeti mu bizinensi ya Uganda
- Eby'obuwandiisi
- Okusoma ebya kompyuta
- Abakola ku mpapula z'okusabaza ebyamaguzi
- Okubuulirira abantu
- Eby'enzirukanya y’emirimu
- Eby'okwewunda
Mu kibangirizi kino era mulimu essomero lya baana abato, eriddukanyizibwa ng’ekitundu ku ttendekero lino, n’ebifo ewategekerwa eby’emizannyo.
Ebijuliziddwamu
[kyusa | kolera mu edit source]- Magazini ya Y-Eddoboozi, 2005