Kampuni evunaanyizibwa Ku By'okusaasaanya Amasanyalaze mu Uganda
Kampuni evunaanyizibwa ku By'okusaasaanya Amasanyalaze mu Uganda kampuni ekola ku by’amasannyalaze ng’ekigendererwa kyayo ekikulu kwe kugula amasannyalaze mu bungi n’okutambuza amasannyalaze ku waya ezituuka mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo n'ebweru w'eggwanga. [1] Kampuni eno ye yokka ekkirizibwa okugula amasannyalaze mu bungi mu ggwanga era ye yokka ekkirizibwa okugatunda mu ggwanga n'ebweru wa Uganda. [2] [3]
Webasisinkana
[kyusa | kolera mu edit source]Ekitebe kya kampuni eno ekikulu kisinganibwa ku Poloti namba 10 ku Hannington Road e Nakasero, mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene. [4]
Ebikikwatako
[kyusa | kolera mu edit source]Kampuni eno yatandikibwaawo nga kampuni edukannyizibwa abantu abalina obuvunaanyizibwa ku by'amabanja gaayo olwa ssente zebagitekamu nga 26 Ogwokusatu 2001 mu tteeka lya paalamenti ya Uganda oluvannyuma lw’okusasika kw’ekitongole ky’amasannyalaze ekya Uganda Electricity Board ekitakyaliwo kati.[2] [3] [5]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]
UETCL evunaanyizibwa ku nkulaakulana, [6] emirimu, okudaabiriza, n’okulongoosa layini z’amasannyalaze eza waya ezitambuza amasanyalaze ag'amaanyi, ezisukka mu 33kV, mu Uganda. Era kyekidukanya n'okubeera ki ye nnannyini kifo ekiriko amasanyalaze agamaanyi agali wagulu wa 33kV, okwetoloola eggwanga. [7] UETCL edukannyizibwa yonna Minisitule y’Eby'ensimbi, Enteekateeka n’Enkulaakulana y’Eby'enfuna NG'era efugirwa Minisitule ya Uganda ey’Amasannyalaze n’Eby’Obugagga By’omu ttaka. [3]
Okukendeeza ku kugenda kw'amasanyalaze
[kyusa | kolera mu edit source]
Okukendeeza ku kufiirwa kw’amasannyalaze mu ggwanga, UETCL yeewola obukadde bwa ddoola za Amerika 100, nga mu za Uganda bwebuwuumbi 337 okuva mu Exim Bank ey'e China okuzimba ebifo byamirundi enna ebifulumya amasanyalze. Ebifo bino byakuweereza ebitundu by'amakolero e Luzira, Namanve, Mukono, ne Iganga . Omulimu guno era guzingiramu okuzimba kiromita 38 nga ze mayiro 24 eza layini ezitambuza amasannyalaze eza kilovolt 132. Omulimu guno gwali gusuubirwa okuggwa mu 2019. [8]
Bameba abapya ku lukiiko olufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Gwomukaaga 2022, Ruth Nankabirwa, Minisita w’Amasannyalaze n’Eby’obugagga By’omuttaka yayanjula era n'alayiza olukiiko olufuzi olupya olwa kampuni eno. Abapya ku lukiiko olufuzi be bano:
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Odyek, John (20 March 2018). "UETCL asked to speed up power transmission projects". Retrieved 8 July 2018.
- 1 2 NRFB (February 2015). "Investing in the electricity sector in Uganda: Ten things to know". Nortonrosefulbright.com (NRFB). Archived from the original on 15 August 2015. Retrieved 12 November 2015.
- 1 2 3 "About Uganda Electricity Transmission Company Limited". Uganda Electricity Transmission Company Limited. 8 July 2018. Archived from the original on 9 July 2018. Retrieved 8 July 2018.
- ↑ "Contact Address of Uganda Electricity Transmission Company Limited". Uganda Electricity Transmission Company Limited. 24 December 2015. Archived from the original on 1 January 2016. Retrieved 24 December 2015.
- ↑ "About Us – UETCL".
- ↑ Kasita, Ibrahim (31 October 2013). "France gives $23m for Fort Portal, Hoima power". Retrieved 12 November 2015.
- ↑ Agaba, John (24 October 2013). "Uganda gets €21m loan from German bank for electricity". Retrieved 12 November 2015.
- ↑ Kato, Joseph (5 June 2016). "UETCL to build Shs300b power sub-stations". Retrieved 5 June 2016.
- ↑ Benon Ojiambo (11 August 2022). "UETCL top management sacked". New Vision. Retrieved 24 August 2022.
- ↑ Maurice Muhoozi (9 June 2022). "Ray of hope as Minister Nankabirwa inaugurates new UETCL board". Watchdog Uganda. Retrieved 9 June 2022.
- ↑ "New UETCL board of directors swears in today". 8 June 2022.
Ewalala w'oyinza okubigya
[kyusa | kolera mu edit source]- UETCL homepage Archived
- Uganda: Kkampuni z’amasannyalaze ziyolekedde okusoomoozebwa mu bakozi Okuva nga 7 Ogwomwenda 2015.
- Bannannyini ttaka nga balemesa okugaziya omukutu gw'amasannyalaze - UETCL Okuva nga 10 Ogwokusatu 2022.