Kampuni evunaanyizibwa ku Nsaasaanya y'Amasanyalaze mu Bitundu bya Uganda

Kampuni evunaanyizibwa ku By'okusaasaanya Amasanyale mu Uganda emannyikiddwa nga Uganda Electricity Distribution Company Limited nga mu bumpi bakiwandiika nga UEDCL, kampuni edukannyizibwa gavumenti ng’ekigendererwa kyayo ekikulu kwe kutambuza amasannyalaze eri abagakozesa mu ggwanga n'abagakozesa mu by'obusuubuzi mu Uganda, mu bungi bwa kiroVolts 33 oba obutasuka. [1] Omulimu guno gwaweebwa ab'ekitongole kya Umeme okumala emyaka 20 egyakoma nga 31 Ogwokusatu mu 2025. [2]
Ekitebe kya UEDCL ekikulu kisingaanibwa ku mwaliiro ogw’omukaaga ku kizimbe kya UEDCL Towers kundagiriro eya 37 ku luguudo lwa Nakasero Road ku Nakasero Hill, mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekibuga ekisinga obunene. [3] Endagiriro z'ekitebe kya kampuni ekikulu singa obeera okozesa bibalo ziri 0°19'35.0"N, 32°34'38.0"E (Latitude:0.326390; Longitude:32.577222).[4]
Ebikikwatako
[kyusa | kolera mu edit source]UEDCL yatandikibwawo mu 2001 mu tteeka lya paalamenti ya Uganda oluvannyuma lw’okusasika kw’ekitongole ky’amasannyalaze ekya Uganda Electricity Board. Mu 2005, Umeme yakwata eby’obugagga n’obuvunaanyizibwa ebusinga obungi mu UEDCL okumala emyaka 20 ku miwendo emitono tono egibeera gisaliddwaako. [1] [5]

Mu 2018, Akakiiko Akavunaanyizibwa ku by’Obugagga By’omuttaka mu Paalamenti ya Uganda kaapima emigaso n’ebiyinza okuva mu kuggyawo omukisa gw'okusanyaawo emiwendo egyo nga tettunatuuka mu 2025. Akakiiko kaategeezebwa Joseph Katera, eyali akulira UEDCL, nti gavumenti yali yeetaaga okusaamu ssente ezitaka wansi wa bukadde bwa doola za Amerika 100 buli mwaka, okusobola okukuuma emirimu egigenda mu maaso. Obukadde bwa ddoola za Amerika 330 ezandibadde zisasulwa aba Umeme zandibadde zimenyebwaamu mu kaseera ky’okugoba omulimu nga tebunnatuuka. [6]
Emirimu egikolebwa
[kyusa | kolera mu edit source]Mu kiseera ky’emisoso eri Umeme, UEDCL erina emirimu gino wamanga: [1] [5] (a) Okulondoola Umeme n'obuvunaanyizibwa bw'erina eri abantu nga bagoberera ebigendererwa by'ebyo ebibeera bisabibwa (b) Okulabirira n’okuddukanya emikutu gy’amasannyalaze agataliiko mu disitulikiti z’e Adjumani, Moroto ne Moyo ne (c) Okulondoola okumaliriza pulojekiti z’okugaziya emikutu egyali gizimbibwa ab'ekitongole kya Rural Electrification Network, ekitongole kya gavumenti, mu kiseera ebigendererwa ebibeera bisabibwa, aba Umeme baakitandikirawo (d) Okulabirira, okuddukanya, n’okuddukanya ekyuma ekirongoosa ebikondo by’amasannyalaze e Lugogo mu Central Kampala. [1] [5]
Abagidukanya
[kyusa | kolera mu edit source]UEDCL edukanyizibwa olukiiko olufuzi olw’abantu musanvu nga ssentebe waayo ye Francis Tumuheirwe. Abalala ku lukiiko olufuzi kuliko James Banabe Isingoma, Dr May Ssengendo, Habib Zaitun, Kalanguka Kayondho, Godfrey Turyahikayo ne Christopher Mugisha. Akulira Kampuni eno ye Paul Mwesigwa. [7]
Enkulaakulana
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Gwokubiri 2021, emikutu gy’amawulire egy’oku yintaneeti mu Uganda gyategeeza nti ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulondoola Amasannyalaze mu Uganda kyasazaamu layisinsi y’okusasaanya amasannyalaze eya Bundibugyo Energy Cooperative Society (BECS), eyali evunaanyizibwa ku kukutambuza amasannyalaze mu Disitulikiti y’e Bundibugyo . Layisinsi eyo yakyusibwa mangu n’eweebwa UEDCL. Ebitundu ebyakozesa mu kusaasaanyizibwaako mwalimu mulimu Disitulikiti y'e Ntoroko n'ebitundu bya District y'e Kabarole . [8] [9]
Nga 31 Ogwokusatu mu 2025, oluvannyuma lw’ebyaali bisuubirwa mu UMEME eby’emyaka 20 okugwaako n’enjuyi ezikwatibwaako okulemererwa okuzza obuggya ebyo ebyaali bibasubirwaamu, UMEME yakwasa UEDCL omulimu gw’okugaba amasannyalaze mu Uganda. Waliwo enjawulo wakati wa ssente UMEME ze yali esuubira ku bikwata ku ssente z’omuwendo ezaali zisuubira okugula n’ebyo Omubalirizi w’Ebitabo bya Uganda bye yabalirira. Enjawulo eyo yali yakugonjoola okusalawo okwali kulina okuberawo mu kibuga London ekya Bungereza. [10]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 Advertisement (10 February 2016). "Uganda Electricity Distribution Company Limited (UEDCL)". Retrieved 11 October 2016.
- ↑ Nate Nate (31 March 2025). "Umeme Limited Hands Over Operations To UEDCL After 20-Year". The Tower Post. Retrieved 6 May 2025.
- ↑ UEDCL. "Uganda Electricity Distribution Company Limited: UEDCL Contacts". Uganda Electricity Distribution Company Limited (UEDCL).
- ↑ Template:Google maps
- 1 2 3 UEDCL (11 October 2016). "Uganda Electricity Distribution Company Limited: Welcome to UEDCL". Uganda Electricity Distribution Company Limited (UEDCL). Retrieved 11 October 2016.
- ↑ Kasemiire, Christine (24 April 2018). "What it would take to replace Umeme". Retrieved 8 July 2018.
- ↑ UEDCL (11 October 2016). "The Board of Directors of UEDCL". Uganda Electricity Distribution Company Limited (UEDCL). Retrieved 11 October 2016.
- ↑ Basaija Idd and Godwin Bwambale (23 February 2021). "Bundibugyo Power Distribution Company Loses Contract Over Mismanagement, Debts". Uganda Radio Network. Retrieved 5 April 2021.
- ↑ SoftPower (1 April 2021). "UEDCL Takes Over Electricity Distribution In Bundibugyo". SoftPower Uganda. Retrieved 5 April 2021.
- ↑ Rogers Atukunda (31 March 2025). "Umeme Hands Over To UEDCL As Uganda Enters New Energy Era". SoftPower Uganda. Retrieved 6 May 2025.
Ewalala w'oyinza okubigya
[kyusa | kolera mu edit source]- Omukutu gwa UEDCL ogwa Homepage
- Kkampuni z’amasannyalaze Zolekedde okusoomoozebwa mu bakozi Okuva nga 8 Ogwomwenda 2015.