Jump to content

Karole Kasiita

Bisangiddwa ku Wikipedia

Kasita Carol (yazaalibwa 25 Ogw'okuna 1989), era amanyiddwa nga Karole Kasita, mukyala Munnayuganda omuyimbi, omuzinyi era omuwandiisi w'ennyimba.[1][2]

Kasita yasomera Gayaza junior school, Ndejje SS, St joseph's SS nga tannayingira Makerere University Business School okufuna diguli esooka mu by'obutandisi bw'emirimu.

Kasita yatandika okuwandiika n’okuyimba ennyimba ze eri bayizi banne n’emikwano gye ng’ali mu siniya. Mu 2014, yeegatta ku bbandi y'abayimbi ''S&S'' eyatandika omulimu gwe ogw'ekikugu.[3]

Okumanyika kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Karole Kasita yasunsulwa mu awaadi za Zzina mu 2025.[4]

Z'ayimbye ne bayimbi banne

[kyusa | kolera mu edit source]
  • tetunazina ft Ekisikirize omutujju
  • Tubiddemu ft kenzo
  • Gwe ft Akasaale Bwoy ne fik fameica
  • Ebyo Byalo ne Feffe Busi
  • Omwana papa ft Taata Andre
  • Mwoto ft Cindy sanyu.
  • yaka
  • Balansi
  • Binyuma
  • Fata
  • Wabula

Karole Kasita maama eyeelabirira mutabaniwe yekka. Muyimbi munne Feffe Bussi y'agambibwa okubeera taata w’omwana.[5]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]