Kasha Nabagesera
Kasha Jacqueline Nabagesera ng'olumu amannyikiddwa nga Jacqueline Kasha, yazaalibwa mu myaka gya 1980 [1] nga Munnayuganda alwanirira eddembe ly'abali b'ebisiyaga era nga ye yatandikawo era akulira ekibiina ekirwanirira eddembe ly'abali b'ebisiyaga ekimannyikiddwa nga Freedom & Roam Uganda (FARUG). Yafuna engule ya Martin Ennals Award for Human Rights Defenders mu 2011 [2] ne Right Livelihood Award mu 2015.
Obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Nabagesera yasomera mu masomero agawerako oluvannyuma lw’okuyimirizibwa buli kiseera n’okugobwa olw’okwenyigira nga mu bintu eby'obukaba, ng'era kyazuulibwa nga nti ono yali awandikira nga bawala bane ebaluwa z’omukwano; yasomera ku Gayaza Junior School, Maryhill High School, Mariam High School, ne Namasagali College. Bweyali ku Nkumba University, yasoma bya kubala bitabo n'afuna diguli mu by'okudukanya bizineensi, era mu 2004 n'akola koosi ya diguli mu bikwatagana ne tekinologiya wa kompyuuta ne satifikeeti mu by'okutunda okuva mu kampuni ya New Vision Group mu Kampala. Mu 2005, yeewandiisa mu Human Rights Education Associates, ekifo ekisomesa ku by'eddembe ly’abuntu n’okutendeka abayizi ab’ewala mu nsi yonna ekisangibwa e Massachusettsmu Amerika . Mu 2006, yamaliriza satifikeeti mu by’amawulire mutendekero lya Johannesburg Media School, gye yatendekera abayizi okuva mu mawanga ga Afrika nga Botswana, Zimbabwe, Zambia, ne Uganda mu by’okulwanirira eddembe ly’abuntu. Mu 2008, yakakasibwa "okutendeka abatendesi" okuva mu Frontline Human Rights Defenders mu Dublin, Ireland.
Okulwanirira eddembe ly’abuntu
[kyusa | kolera mu edit source]
Mu 1999, yakola kampeyini okumalawo obukyayi bw’ebisiyaga mu Uganda, ng’eno obuli bw'ebisiyaga bumenya mateeka.
Mu 2010, olupapula lw'amawulire mu Uganda olumannyikiddwa nga Rolling Stone lwafulumya amannya n'ebifaananyi by'abantu abateeberezebwa okuba nga bali babisiyaga, nga kuliko omutwe ogugamba nti "Hang Them" oba batekebwe ku kalaba. Olukalala lwaliko Nabagesera ne munne David Kato, bombi ne bawawaabira olupapula luno mu kkooti z'amateeka ne bateekawo omusingi gw’eddembe ly’obuntu mu Uganda. [3] [ <span title="unclear what "benchmark" means in this context (March 2021)">clarification needed</span> ] Nabagesera yanyonyola nti kyateekawo omugaso ng’okugezaako okukuuma “eby’ekyama n’obukuumi ffenna bwe tulina okuva ku kukuma omuliro mu bantu okukola effujjo”. [4] Kato oluvannyuma yatibwa nga kisibuka ku lutalo lw'amateeka olw'ebyo ebyali byafulumizibwa mu biwandiiko..
Nabagasera ayongedde okulwanirira eddembe ly’abasajja abaagala basajja banaabwe mu Uganda. Ng'ali wansi wa FARUG, alwanye okulaba ng'agyawo ekigambibwa nti okulya ebisiyaga mu Uganda kumenya amateeka ng'afuna engeri gyeyeetoloolera ebbago ly’etteeka lya Uganda erirwanyisa ebisiyaga. Akiyita etteeka ly’e Nuremberg eriragira ebibonerezo ebikakali okuva ku kusibwa mu komera okutuuka kibonerezo ky’okufa, ng'era liragira nti ne banaansi abataloopa bisiyaga eri ab’obuyinza basobola okusibwa emyaka esatu mu komera.
Mu 2011, Nabagesera yagambibwa nti yeeyeka eyatandikawo ekibiina ekyali kirwanirira eddembe ly'abali b'ebisiyaga okuva mu myaka gya 90 nga akyali mulamu mu Uganda. Yayogera mu lukiiko lwa WorldPride olwatuula mu kibuga Madrid mu 2017, era n'akulembera okukubaganya ebirowoozo ku bali b'ebisiyaga mu Afrika ne Najma Kousri okuva e Tunisia, Yahia Zaidi okuva mu South Afrika, Alimi Bisi Ademola okuva e Nigeria, ne Michèle Ndoki okuva e Cameroon .
Nabagesera yagezezzaako okufuna omwaka gw'akuza mu Uganda ng'ayita mu mateeka g'ekooti, kuba enkola y'okukuza omwana gw'otazaala tekyetagisa kikula kyamuntu ng'omusingi mu Uganda, wabula yagambibwa nti yali tasobola kukuza mwaana gw'atazaala kuba yali talina bisaanyizo byakubeera muzadde. [5]
Mu 2013, Nabagesera yatandikawo akatabo akamannyikiddwa nga Bombastic, ng'awandiika ku bali b'ebisiyaga mu Uganda n'okusosolwa kwe baali bayiseemu.
Engule
[kyusa | kolera mu edit source]Akatabo akamannyikiddwa nga Velvetpark, magazini y’ensi yonna ey’abakyala abali mu buli bw'ebisiyaga, baayogera ku ku Nabagesera ng'omukazi alina omutimba omuvumu era nebamulonda ng’omukyala ali wansi w'ekibiina ky'abali b'ebisiya mu nsi yonna mu 2010. [6]
Mu 2011, Nabagesera yatekebwa mu kujaguza ogw'emyaka 100 Okw'olunaku Lw'abakyala Olw'ensi yonna. Mu mwaka gwe gumu yeeyali omwogezi omukulu mu lukiiko lw'eddembe ly'obuntu ne N'obukulembezze obulondebwa abantu olwaali e Geneva . [7] Nabagesera yateekebwa ku lukalala lw'abakyala bakyala 50 abasinga okusikiriza abakyala mu Afrika mu 2011 era omulwanirizi w'eddembe ly'abasajja abaagaala basajja banaabwe eyasooka okufuna engule ya Martin Ennals Award for Human Rights Defenders .[8][7] Okusinziira ku Michelle Kagari ow'ekibiina Ekirwanirira Eddembe ly'Abantu Munsi yonna engule eno yali esiima obuvumu Nabagesera bweyayolesa mu kwenganga okusosolebwa n'okunyigirizibwa okukolebwa kuba bantu abalya ebisiyaga mu Uganda.Okwagala kwe okutumbuula obwenkanya n'emirimu gye egy'obutaweera okwagala okukomekereza embeera y'obukyayi n'okutya y'engeri yokka eyinza okusikiriza abalwanirira eddembe ly'abalya ebisiya okwetoloola ensi yonna.
Mu Gwekuminoogumu mu 2011, yaweebwa ekirabo kya Rafto Prize e Bergen mu Norway, n’ekibiina kya Sexual Minorities Uganda, ekibiina ye kyeyayamba okutandikawo mu 2004.
Mu Gwokubiri 2013, Nabagesera yaweebwa engule y’ekitiibwa eya QX magazine mu kibuga Stockholm eSweden. Mu mwaka gwe gumu mu Gwokuna, yafuna engule ya James Joyce okuva mu University College Dublin, engule ya Sean McBride Award okuva mu kibiina Ekirwanirira Eddembe ly'Abantu e Dublin,ekirabo kya Civil Courage Prize mu Berlin, engule y’ensi yonna ey’omulwanirizi w'eddembe ey’omwaka mu GALAS (Gay and Lesbian Awards, eyategekebwa ekibiina ekigatta abasajja abaagala basajja banaabwe wamu n'abakazi abaagala abakazi ekisinganibwa mu ggwanga lya Ireland, n'engule ya Nuremberg International Human Rights Award.
Mu 2015, yawangula engule za Right Livelihood Awards olw'obuvumu n'okubeera nga yali akola obutaweera, wadde nga waaliwo obutabanguko n'okutiisibwatiisibwa, mu kukola ku ddembe ly'abantu abalya ebisiyaga okufuna obulamu obutaliimu busosoze na kuyigganyizibwa".
Mu Gwokuna 2019, Nabagesera yaweebwa engule ya Bonham Center Award okuva mu The Mark S. Bonham Center eya Sexual Diversity Studies okuva mu University of Toronto, olw’ebyo bye yakola mu kutumbuula n’okusomesa ensonga ezeetooloolera ku by'ekikula ky'abantu. [9]
Mu Gwekumineebiri mu 2024, Nabagesera yateekebwa ku lukalala lw'omukutu gwa BCC,ogw'abakyala 100. [10]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Kasha Jacqueline Nabagesera- Ugandan LGBTI human rights defender - GuardianWitness". Archived from the original on 2018-07-22. Retrieved 2017-05-12.
- ↑ "News & Updates". Martin Ennals Award (in American English). Retrieved 2019-12-13.
- ↑ "Kasha Jacqueline, David Kato Kisule and Onziema Patience v. Rolling Stone Ltd and Giles Muhame, High Court of Uganda at Kampala". 30 December 2010. Retrieved 2021-03-29.
- ↑ Nabagesera, Kasha. "My Life as a Gay Ugandan". online article. African Activist. Archived from the original on 2012-02-01. Retrieved 2012-01-30.
- ↑ "Would-be Ugandan Parents Denied Adoptions Because of Sexuality". Global Press Journal (in American English). 2020-06-07. Retrieved 2020-06-07.
- ↑ "Use Your Power: Human Rights Conference 2013 Confirmed Speakers" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2022-07-22. Retrieved 2021-03-29.
- 1 2 "Program, Tuesday, March 15, 2011". Geneva Summit for Human Rights and Democracy. Archived from the original on February 27, 2015. Retrieved February 28, 2015.
- ↑ Cite error: Invalid
<ref>tag; no text was provided for refs named:0 - ↑ "2019 Bonham Centre Gala Award Recipients". Archived from the original on 2019-05-01. Retrieved 2019-05-01.
- ↑ "BBC 100 Women 2024: Who is on the list this year?". BBC. 3 December 2024. Retrieved 3 December 2024.
- "Uganda Gay Activist Kasha Jacqueline Nabagesera Hailed", BBC News, BBC, 4 May 2011, retrieved 15 October 2011
- "Biography". online article. Oslo Freedom forum. Archived from the original on 2012-03-14. Retrieved 2012-01-30.
- "Kasha Jacqueline Nabagesera Speaks Out for LGBT Rights", Human Rights Watch Press Release, allAfrica, 3 May 2011, retrieved 15 October 2011
- "Kasha Jacqueline Nabagesera". The Right Livelihood Award (in American English). Archived from the original on 2020-03-24. Retrieved 2020-01-07.
- "Kasha Jacqueline Nabagesera | Front Line". Archived from the original on 2014-09-13. Retrieved 2014-09-12.
- "Kasha Nabagesera: The face of Uganda's LGBT movement". March 6, 2017. Retrieved 2021-03-29.
- "AFRICAN VIEW". www.worldpridemadrid2017.com. Retrieved 2019-12-11.
- Geen, Jessica (14 October 2011), "'Inspirational' Ugandan Lesbian Campaigner Wins Human Rights Award", Pink News, retrieved 15 October 2011
- Avery, Dan (5 October 2011), "Sappho Islands, The Only Gay Bar In Uganda, Closes", Queerty, Queerty, Inc, retrieved 15 October 2011
- McConnell, Tristan (15 May 2011), "Uganda's Anti-Gay Bill Fails", GlobalPost, retrieved 15 October 2011
- Titi-Fontaine, Sandra (14 October 2011), "Gay Rights Activist Calls for End to Hate", swissinfo, SRG SSR, archived from the original on 7 January 2012, retrieved 15 October 2011
Ewalala w'oyinza okubigya
[kyusa | kolera mu edit source]- Kasha Jacqueline Nabagesera ng'ayogera mu ICM 2011, omukutu gwa Amnesty International ogwa YouTube
- , Okusiima Abalamuzi - Human Rights Award eya 2013