Jump to content

Kasirye Ggwanga

Bisangiddwa ku Wikipedia

Major Generali Kasirye Ggwanga (26 Omwezi gw'omunaana 1952 – 9 Omwezi gw'omukaaaga 2020), yali munnayuanda munnamaggye mu ggye lya Uganda People's Defence Force . Emabegako yasibwako ng'omusibe w'olutalo okumala ennaku 897, munda mu Uganda ne Tanzania . Yali muwi w'amagezi eri pulezidenti ku nsonga z'Obwakabaka bwa Buganda . Yaweebwa nnyo ekitiibwa kinene olw'okulwana kwe eri okukuuma obutonde .

Obuvo bwe n’obuyigirize bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu 1952, [1] e Katakala mu Disitulikiti y’e Mityana eri kitaawe eyali omuyizzi era omulimi. Kasirye Ggwanga yayiga obukugu bwombi era nga mulungi mu byombi. Yasomera Katakala Primary School, Namukozi oluvannyuma n’asomera e Kibuli Secondary School gyeyamalira siniya eyokuna. Oluvannyuma lw'okumaliriza siniya 4, yeegatta ku maggye ga Uganda mu 1972. [2] [1]

Oluvannyuma lw'okuva mu nkambi n’okutendekebwa okwasooka, yasindikibwa mu Arua mu ttundutundu lya West Nile, ng’omusomi wa maapu, nga yaweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1977. Mu 1978, yakuzibwa n’aweebwa ekifo ky’omuserikale w’emmundu era omwaka ogwaddako, yakuzibwa n’atuuka ku ddaala lya staff seargent . [2]

Mu 1978, eggye lya Tanzania Tanzania People Defence Force (TPDF) lyalumba Uganda. Mu Mwezi gwokuna baawamba Kampala nebagoba Idi Amin mu ntebe . Kasirye Ggwanga yawanika neyeewaayo , n’atwalibwa e Tanga ,Tanzania ng’omusibe w’olutalo nnamba 17341. [3]

Mu Mwezi gw'omukaaga 1980, pulezidenti Godfrey Binaisa yateesa okukomyawo abasibe abaasibibwa olw'ebyobufuzi mu Uganda. Baasooka kuteekebwa mu kkomera ly'e Maluku mu Disitulikiti y'e Mbale . Oluvannyuma baatwalibwa mu kkomera lya Kirinya mu Disitulikiti y’e Jinja . Nga 7 Omwezi gw'ekkumi 1981, Kasirye Ggwanga yali mu kibinja ekyasooka okuteebwa. [3]

Oluvannyuma lw'emyezi esatu nga Kasirye Ggwanga ateereddwa, abayeekera ba Uganda Freedom Army (UFA) nga bakulembeddwamu Andrew Kayiira balumbye bbaalakisi y’amagye e Mengo Lubiri mu Kampala. Gavumenti mu kiseera ekyo eyali mu buyinza , nga ekulemberwa Milton Obote owa Uganda People's Congress (UPC) mu nsobi yalowooza nti abasibe abayimbulwa gyebuvuddeko (abaali abajaasi ba Idi Amin) beenyigira mu bulumbaganyi buno. Kasirye Ggwanga yateekebwa ku lukalala "lw'abeetaagibwa". Yekweka [2] [3]

Mukulu we, Luteenanti James Kasirye, eyali omuvuzi w’ennyonyi z'amagye mu kiseera ekyo ng’asinziira mu Nakasongola Millitary Airbase yakwatibwa era n’atulugunyizibwa, oluvannyuma n’attibwa bwe yagaana okuzuula muganda we Kasirye Ggwanga gye yali yeekwese. [2] [3]

Okuwoolera okuttibwa kwa muganda we, Kasirye Ggwanga yeegatta ku bayeekera ba UFA, mu kiseera ekyo nga bawera nga 650. [3] Ekibinja kino kyakolera mu bitundu by'e Mawokota ne Mubende mu Buganda . Mu 1985, yava mu UFA n'ayingira eggye lya Yoweri Museveni erya National Resistance Army, eryawamba obuyinza mu Mwezi ogusooka mu 1986. [2] [3] Mu kiwenda ky'okuwamba Kampala, Kasirye Ggwanga yaduumira ekibinja ky'emmundu kya mmita 120. [1]

Wakati wa 1986 ne 2005, yaweereza mu bifo bingi omuli nga ssentebe wa LC5 owa Disitulikiti ya Mubende n'era ng'akulira amaterekero mu ggye ly'eggwanga UPDF .Nga 31 Omwezi ogusooka 2005, yawummuzibwa okuva mu ggye ly'eggwanga ku ddaala lya Brigadier.[1][4] Wabula oluvannyuma lw'emyezi esatu wabweru, yakomawo mu maggye n'asaba okuzzibwamu. Omudduumizi w'eggye lya UPDF owokuntiko yamukkiriza okuddamu okugeegattako ku ndagaano ya myaka etaano ey'okuzibwa obuggya.[4]

Mu gwokusatu 2018, Kasirye Ggwanga yakuzibwa okuva ku ddaala lya Brigadier n’adda ku lya Major General mu kulinnyisa amaddaala okwalimu abasajja n’abakazi ba UPDF abawera 1,384. Era mu butongole yawumuzibwa okuva amagye ga Uganda mu 2018. [5]

Ebibye ng'omuntu

[kyusa | kolera mu edit source]

Kasirye Ggwanga yali taata mufumbo. [1] Yali mulimi alima eby'okutunda era yalina faamu bbiri; emu mu Disitulikiti y’e Mubende, n'endala mu Disitulikiti y’e Mukono eweza yiika (0.81 km) gye yayitanga Camp David [2] [3] [1]

Entalo za Ggwanga n'amateeka.

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu bulamu bwe bwonna, Gen. Kasirye Ggwanga yawaaniibwa nnyo okusinga okutiibwa olw’ebyafaayo bye eby’obukambwe ennyo. Emirundi egiwerako, yakozesanga emmundu ye okugonjoola enkaayana, nga bweyeewaana.

Okusinziira ku mawulire ga Daily monitor, mu mwezi gw'omunaana 2017, Generali kati omugenzi yeewaana ku ky'okwokya gguleeda gye yasanga ku ttaka lya muwala we e Lubowa mu nkingizi za Kampala. Omusango mu bwangu gwerabirwa engeri poliisi gyetaakola kinene okwongera okunoonyereza.

Bwe yabuuziddwa ku byabaddewo, Generali yagambye nti “Tulakita eyo najookya. Bagambe. Kati mbayigga. Ndi muyizzi muzibu. Bakimanye”. [6]

Okusinziira ku mawulire ga Softpower, mu Mwezi ogusooka ogwa 2019, Gen Kasirye Ggwanga yeewaanira ku muyimbi omumanyifu era omuwabuzi wa pulezidenti Catherine Kusasira. Mu kugezaako kwe okumalawo kkerere, munnamaggye eyagannyuka yakuba emipiira gy’emmotoka ya Catherine amasasi n’agireka nga gyonoonese era nga tegitambula. Nate era , Generali eyamala emyaka gye egyaddirira olutalo waggulu w’amateeka yavaawo nga tewali kimukoleddwako. Mbu mubutuufu omuyimbi yeeyalina okumwetondera kumpi kata amukube masasi olwokukubira batabani be kkerere.

Bingi ebirekeddwayo ku bukambwe bwe oba okusingawo obulamu obw’omukwano obukaluba. Enfunda nnyingi yatenderezebwanga abasinga obungi nga tebafaayo ku bantu abakoseddwa.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 6 Joshua Kato (24 February 2005). "Kasirye Gwanga lives in the bush". Retrieved 14 August 2017.
  2. 1 2 3 4 5 6 {{cite web}}: Empty citation (help) Cite error: Invalid <ref> tag; name "Him" defined multiple times with different content
  3. 1 2 3 4 5 6 7 Faustin Muabe (22 November 2015). "When Brigadier Ggwanga was taken prisoner of war by Tanzanians". Retrieved 14 August 2017.
  4. 1 2 Allio, Emmy (31 August 2005). "Kasirye returns to UPDF". Retrieved 14 August 2017.
  5. The Independent (6 March 2018). "Kasirye Gwanga Now A Major General". Retrieved 21 March 2019.
  6. Daily, Monitor (15 January 2021). "Brig-Gwanga-burns-grader-over-land-grabbing".

Monitor Correspondent (5 March 2018). "Museveni retires Kasirye Gwanga, promotes 1,384 UPDF officers". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 5 March 2018.

  1. Ivan Okuda (18 March 2012). "Discovering Kasirye Gwanga, the man who fears nothing". Daily Monitor Mobile. Kampala. Archived from the original on 14 August 2017. Retrieved 14 August 2017.
  2. Joshua Kato (24 February 2005). "Kasirye Gwanga lives in the bush". New Vision. Kampala. Retrieved 14 August 2017.
  3. Faustin Muabe (22 November 2015). "When Brigadier Ggwanga was taken prisoner of war by Tanzanians". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 14 August 2017.
  4. Allio, Emmy (31 August 2005). "Kasirye returns to UPDF". New Vision. Kampala. Retrieved 14 August 2017.
  5. The Independent (6 March 2018). "Kasirye Gwanga Now A Major General". The Independent (Uganda). Kampala. Retrieved 21 March 2019.
  6. Daily, Monitor (15 January 2021). "Brig-Gwanga-burns-grader-over-land-grabbing".

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]