Jump to content

Kassiano Wadri

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Kassiano Ezati Wadri (yazaalibwa 29 Omwezi ogwomwenda 1957) munnayuganda omukozi munnambeera z'abantu era munnabyabufuzi. Yeeyali omubaka wa Palamenti eyeeto, eyakiikirira munisipaali ye Arua mu paalamenti ey'ekkumi (2016 okutuuka 2021), okutandika nga 29 Omwezi ogwomunaana 2018. [1] Ekifo kyasigala kyereere Ibrahim Abiriga owa National Resistance Movement (NRM), bwe yatemulwa mu Mwezi ogwomukaaga 2018. [2]

Wadri emabegako yakiikirira essaza ly'e Terego, disitulikiti ye Arua mu paalamenti ey’omusanvu (2001–2006), palamenti ey’omunaana (2006–2011) ne palamenti ey’omwenda (2011–2016), nga mmemba wa Forum for Democratic Change (FDC) ekibiina ky'ebyobufuzi ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti. Mu biseera ebyo eby’emirimu, Wadri yaweereza nga Nampala (Chief whip) w’oludda oluvuganya, ssentebe w’akakiiko akalondoola ebisuubizo bya gavumenti era nga mmemba w’akakiiko k’ebyobulimi, amakolero g’ebisolo n’obuvubi n’akakiiko ka bizinensi. [3]

Obuvo bwe n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu ggombolola ya Aivu, mu disitulikiti y’e Arua nga 29 Omwezi ogwomwenda 1957. Yatikkirwa okuva mu yunivasite y’e Makerere, yunivasite ya Uganda eya gavumenti esinga obukadde era esinga obunene mu Uganda, n’afuna diguli esooka mumbeera z'abantu z'enzirukanya y'emirimu egigasiza awamu abantu mu 1981. Nga wayise emyaka 20, yunivasite y’emu yamuwa ddiguli eyokubiri ey'embeera z'abantu mu kuteekateekera abantu n'ebitundu n'okubiddukanya. Mu 2003, yatikkirwa ne ddiguli ey'emyaka ebiri mu demokulasiya and n'enkulaakulana y'ebitundu, okuva mu yunivasite ya Uganda Martyrs University, e Nkozi mu disitulikiti y’e Mpigi . [4]

Kassiano yali mubaka wa paalamenti emyaka abiri emabega ng'odiddeyo ddala mu 2001, lwe yasooka okulondebwa. ebbange erisinga mu kiseera ekyo yali mu koifo kya bukulembeze nga Nampala w'oludda oluvuganya. Yali mmemba w’ekibiina kya FDC ekibiina ekyali kisinga obunene ekivuganya gavumenti mu kiseera ekyo.

Mu kuddamu okulonda anadda mu bigere bya Ibrahim Abiriga eyattibwa mu Mwezi ogwomunaana 2018, Wadri yasalawo okwesimbawo ku bwannamunigina. [5] Nga twetegekera okulonda kuno, Kassiano Wadri yakwatibwa wamu ne bannabyabufuzi abalala okuli Robert Kyagulanyi Ssentamu n’abalala. Bano bavunaanibwa emisango egy’enjawulo egy’ebyobufuzi era emisango gyabwe gyali gikyayita mu nkola y’ekitongole ekiramuzi mu Uganda ne'omwezi ogwekkumi n'ebiri 2018. [6]

Nga 15 Omwezi ogwomunaana 2018, Wadri yawangula akalulu ka munisipaali ye Arua akaddibwamu, ng'ali mu kkomera mu disitulikiti y’e Gulu, n’obululu 6,421, ng’awangula eyali asinga okumuvuganya eeyo, Nusura Tiperu, ow’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya NRM, eyafuna obululu 4,798. [7] Yalayizibwa nga 29 Omwezi ogwomunaana 2018. [1]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Parliament of Uganda (29 August 2018). "Kassiano Wadri sworn-in as Arua Municipality MP". Kampala: Parliament of Uganda. Retrieved 20 December 2018.
  2. Harry Misiko, and Daily Monitor Reporter (16 August 2018). "Blow to Yoweri Museveni as NRM loses seat to Kassiano Wadri". Daily Nation. Nairobi. Retrieved 20 December 2018.
  3. Harry Misiko, and Daily Monitor Reporter (16 August 2018). "Blow to Yoweri Museveni as NRM loses seat to Kassiano Wadri". Daily Nation. Nairobi. Retrieved 20 December 2018.
  4. Kigozi, Curthbert (16 August 2018). "Profile: What you need to know about new Arua MP Kassiano Wadri" (Archived from the original). Kampala: Watchdog Uganda. Retrieved 20 December 2018.
  5. Ampurire, Paul (9 August 2018). "Opposition Coalition Rallies Behind Kassiano Wadri in Arua Municipality Race". Kampala: Soft Power Uganda. Retrieved 20 December 2018.
  6. Ampurire, Paul (9 August 2018). "Opposition Coalition Rallies Behind Kassiano Wadri in Arua Municipality Race". Kampala: Soft Power Uganda. Retrieved 20 December 2018.
  7. Paul Ampurire (16 August 2018). "Jailed Kassiano Wadri Wins Arua Municipality Election". Soft Power Uganda. Kampala. Retrieved 20 December 2018.
  1. 1 2 Parliament of Uganda (29 August 2018). "Kassiano Wadri sworn-in as Arua Municipality MP". Parliament of Uganda. Retrieved 20 December 2018. Cite error: Invalid <ref> tag; name "1R" defined multiple times with different content
  2. Harry Misiko, and Daily Monitor Reporter (16 August 2018). "Blow to Yoweri Museveni as NRM loses seat to Kassiano Wadri". Retrieved 20 December 2018.
  3. Vision Reporter (27 June 2006). "Kassiano Names Committee Chiefs". Retrieved 20 December 2018.
  4. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named 4R
  5. Ampurire, Paul (9 August 2018). "Opposition Coalition Rallies Behind Kassiano Wadri in Arua Municipality Race". Soft Power Uganda. Retrieved 20 December 2018.
  6. Daily Monitor (3 September 2018). "Tortured Ugandan MP Kassiano Wadri speaks out".
  7. Paul Ampurire (16 August 2018). "Jailed Kassiano Wadri Wins Arua Municipality Election". Retrieved 20 December 2018.

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]