Kassim Nakibinge
Kassim Nakibinge musuubuzi era mukungu wa bbanka mu Uganda . Yakulira enzirukanya y'emirimu eya bulijjo era omukulembeze owokuntikko owa bbanka ya Cairo International Bank, bbanka y’ebyobusuubuzi mu ggwanga. [1]
Obuvo bwe n’obuyigirize bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu ttundutundu lyomumassekkati ga of Uganda nga mu 1966. Kitaawe ye Badru Kakungulu (yafa 1991), taata omuto owa Muwenda Mutebi II, kabaka wa Buganda afuga (okuva mu 1993).
Yasomera mu Kabojja Preparatory School ne Savio Junior School ku kusoma kwe okwa pulayimale. Yasomera mu St Mary's College Kisubi ku kusoma kwe okwa siniya eyokuna ne Kibuli Secondary School ku kusoma kwe okwa siniya eyomukaaga . Yaweebwa ekifo ku yunivasite ya United States International University e San Diego mu California okusoma enzirukanya ya bizinensi ,n’atikkirwa ne ddiguli esooka mu nzirukanya ya bizinensi. Yagenda ku mutendera gw'ebyenjigiriza ebya waggulu oguddako ku yunivasite ya Wales mu Cardif, natikkirwa ddiguli ey'okubiri eyokwongera okukuguka mu nzirukanya ya bizinensi, ng’essira yalissa ku bya nsimbi. Mu 2014, yunivasite ya Lahore mu Pakistan yamuwa diguli ey’ekitiibwa kya dokita mu kusiima omulimu gwakoze mukutumbula ebyenjigiriza by’Abasiraamu mu Uganda. [2]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 1989, yeegatta ku Bbanka enkulu eya Uganda (Bank of Uganda) ng’omukungu wa bbanka, n’akolerayo okutuusa lwe yawummula mu 2005 ng’omukungu omukulu mu bbanka ( Principal banking officer). Awo yeegatta ku Tropical Bank ng’akola nga akulira enzirukanya y'emirimu (Managing director) era oluvannyuma n’aweereza nga akulira enzirukanya y'emirimu owokuntikko (Executive managing director ), n’alekulira ekitongole ekyo mu 2013. [3] Mu Mwezi ogwokubiri 2016, yalondebwa okuba nga akulira enzirukanya y'emirimu mu Cairo International Bank. [1]
Ebirala by’olina okulowoozaako
[kyusa | kolera mu edit source]Aweereza nga "jajja " w'abasiraamu mu Uganda. Nakibinge taata mufumbo. [4]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Tajuba, Paul (18 February 2016). "I will clean up Cairo Bank, says Nakibinge". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 19 February 2016.
- Tumusiime, Abdulaziizi (21 April 2014). "Prince Nakibinge: A great man willing to be little". Daily Monitor. Kampala. Archived from the original on 1 March 2016. Retrieved 19 February 2016.Template:Dead link
- Kitatta Kaaya, Sadab (9 April 2014). "Uganda: Prince Nakibinge Gets PhD". The Observer (Uganda) via AllAfrica.com. Retrieved 19 February 2016.
- Mukiibi, Ahmed (11 February 2016). "Omulangira Nakibinge alondeddwa okukulira Cairo Bank (Prince Nakibinge Has Been Appointed to Lead Cairo Bank)". Bukedde Newspaper (in Ganda). Kampala. Archived from the original on 15 February 2016. Retrieved 19 February 2016.
{{cite web}}: CS1 maint: unrecognized language (link)
- 1 2 Tajuba, Paul (18 February 2016). "I will clean up Cairo Bank, says Nakibinge". Retrieved 19 February 2016.
- ↑ Kitatta Kaaya, Sadab (9 April 2014). "Uganda: Prince Nakibinge Gets PhD". Retrieved 19 February 2016.
- ↑ Mukiibi, Ahmed (11 February 2016). "Omulangira Nakibinge alondeddwa okukulira Cairo Bank (Prince Nakibinge Has Been Appointed to Lead Cairo Bank)" (in Ganda). Archived from the original on 15 February 2016. Retrieved 19 February 2016.
{{cite web}}: CS1 maint: unrecognized language (link) - ↑ Cite error: Invalid
<ref>tag; no text was provided for refs namedGreat
Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Ekibanja ky'omutimbagano ekya bbanka ya Cairo Internationa Bank [permanet dead link]