Kassim Ouma
Kassim Ouma yazaalibwa Ogwekumineebiri nga 12 mu 1978) Munnayuganda omuzannyi w'ebikonde eby'ensiimbi. Yawangulako engule y'ensi yonna eya IBF ey'abali mu buzito bwa wakati okuva mu 2004 okutuusa mu 2005, era avuganyiza ku ngule y'obuzito bwa wakati mu 2006 ne 2011.
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu bwavu, ku myaka mukaaga yasengulwa olutalo era n'akomekerera ng’akuumibwa amagye g’abayeekera agaaliwo ebiseera ebyo aga National Resistance Army ng'era yamala akabanga nga talaba ku famire ye okumala emyaka etaano. Ouma ye mwana ow'omusanvu ku 13, nga kuno kuliko baganda bbe abalenzi 7, nebannyina 5. Banganda bbe abalenzi 4 beebakyaali abalamu.
Nga akyali kyakayiga
[kyusa | kolera mu edit source]Ng'avudde mu magye, Ouma yatandika okuzannya ebikonde n'akungaanya likodi nga kyakayiga ez'okuwanguzi 62 n'okubwa okw'emirundi 3. Yalondebwa okubeera ku ttiimu y'eggwanga lya Uganda ey'ebikonde ng'era yalina okulwana mu mpaka z'Olympics ez'omukyeya mu 1996 mu Atlanta, Georgia, wabula nga teyazetabaamu olw'okubeera nga yali talina bulungi ssente.
Nga azannya eby'ekikugu
[kyusa | kolera mu edit source]Ku lugendo lwa ttiimu y’eggwanga eya Uganda ey'abakyakayiga mu Amerika, Ouma yasalawo okusigalayo atandike okuzannya ebikonde eby'ensiimbi kimusobozese okulabirira famire ye eyali mu Uganda. Ouma oluvannyuma yawangula engule y’ensi yonna mu buzito bwa wakati eya International Boxing Federation (IBF).
Ouma yaliko nnantameggwa era eyavuganya ku mutendera gw'obuzito bwa Light Middleweight . Alina obuwanguzi obw’omutindo ku Jason Papillion, Juan Carlos Candelo, ne Verno Phillips, ng'obuwanguzi bwe obw'okubiri ku ye bwebwamufunisa engule ya IBF Light Middleweight. Ouma yediza engule ye oluvannyuma lwa lawundi 12 ezaliko okusalawo kw'abantu abasuka mu omu bweyali alwana ne Kofi Jantuah okuva e Ghana. Oluvannyuma Ouma yafiirwa engule ye olw'okusalawo kw'abantu abaali basuka mu omu ng'akubiddwa Roman Karmazin, mu lulwana olutongole Ouma mwebamutekera wansi emirundi ebbiri. Gwali mulundi gwakubiri gwokka ng’akubwa mu bulamu bwe.
Okuva mu lulwaana lwa Karmazin, Ouma asigadde mu buzito bwa Light Middleweight, n’afuna obuwanguzi bwa mirundi esatu, ebbiri nga gya tonzirira nga. Mu Gwokutaano nga 6, 2006 Ouma yawangula Marco Antonio Rubio mu kusalawo okwali okwokweyawulamu newankubadde ng'ono yali yakubiddwa n'agwa mu lawundi esooka.
Ouma yakomawo mu liingi n’obuwanguzi obwali bumatiza ng'azannya Sechew Powell mu Gwomunaana 5, 2006 eyali takubwa ngako, ng'asoosa mukono ddyo n'ekigere mu maaso ng'alwana ka kkono. Powell yali ava mu Brooklyn, NY ng'olulwana lwaliwo mu kifo ekimannyikiddwa nga Madison Square Garden. Obubonero obutongole bwali 90-100, 93-97, ne 94-96 nga bwonna bubwa wa Kassim Ouma mu kusalawo okwali okw'abantu abaali basuka mu omu.
Ouma yafiirwa engule y'obuzito bwa wakati eri Jermain Taylor mu Gwekumineebiri nga 9, 2006. Amaanyi ga Taylor n'engeri gyeyapima ngamu ebmikono gye byakuumira nga Ouma obutakasuka bikonde bingi nga bw’atera okukikola. Wadde nga yamira ng'enguumi nnyingi ezaali ez'amaanyi, Ouma teyagwa wansi. Olulwana lwagendera ddala paka ku lawundi 12 ezijjuvu, era Ouma n’awangulwa mu kusalawo okwali okw'abantu abasuka mu omu. Abalamuzi baayawuzaamu obubonero bw'olulwana nga bagamba nti 118-110, 117-111 ne 115-113 ku Taylor eyali ewaka mu kibuga Little Rock ekya Arkansas .
Oluvannyuma lw’olulwana lwa Taylor, Ouma yakubwa emirundi egidiringana mu kusalawo ng'alwana ne Saul Roman mu Gwekumi mu 2007 ne Cornelius Bundrage mu Gwokusatu 2008.
Mu Gwomwenda nga 25, 2010, Ouma yayimiriza Joey Gilbert mu lawundi ey’omukaaga mu lulwana lwabwe olwa lawundi 10 olw’engule ya NABA eky’obuzito bwa wakati etaaliko nannyini yo, mu lulwaana olwali mu Grand Sierra Resort e Reno, Nevada.
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Bwe yali mu Uganda teyakubwaako ku masasi wadde nga yali mu magye. Kyokka oluvannyuma lw’okusenga mu Amerika yakubwa amasasi emirundi ebiri mu Florida mu Gwekumineebiri mu 2002. Okusinziira ku Ouma, kitaawe yakubwa amagye ga Uganda n’afa nga beesasuza olw’okuva mu ggwanga lino. [1] [2] Akataambi akakwatibwa nga kayitibwa Kassim the Dream kyakolebwa mu 2008. Kaali ku bumu obwalondebwa mu butongole mu bikujuko bya ffirimu ebiwerako. [3]
Laba ne bino
[kyusa | kolera mu edit source]Likodi zze mu ebikonde eby’ensiimbi
[kyusa | kolera mu edit source]| Namba | Ebyavaamu | Likodi | Gweyali alwana naye | Ekika | Lawundi n'obudde | Eanaku z'omwezi | Gyebaali | Ebiwandiiko |
|---|---|---|---|---|---|---|---|---|
| 49 | Template:No2Loss | 29–18–1 (1) | Fedor Michel | UD | 6 | Ogwokutaano, 25 2022 | Felsenkeller, Traunreut, Germany | |
| 48 | Template:No2Loss | 29–17–1 (1) | Ryno Liebenberg | UD | 8 | Ogwokusatu 26, 2022 | Westfalenhalle, Dortmund, Germany | |
| 47 | Template:No2Loss | 29–16–1 (1) | Ibrahima Diallo | RTD | 4 (8), 3:00 | Ogwekumineebiri 4, 2021 | Sartory Saele, Cologne, Germany | |
| 46 | Template:No2Loss | 29–15–1 (1) | Tony Browne | UD | 8 | Ogwokusatu 28, 2021 | Claridge Events, Brussels, Belgium | |
| 45 | Template:No2Loss | 29–14–1 (1) | Ashley Theophane | UD | 10 | Ogwekumi 5, 2019 | Gilleleje Hallen, Gilleleje, Denmark | |
| 44 | Template:No2Loss | 29–13–1 (1) | Fiodor Czerkaszyn | TKO | 2 (8), 2:10 | Ogwokusatu 23, 2019 | Hala Sportowa im. Olimpijczykow, ul. Ksieznej Anny 18, Lomza, Poland | |
| 43 | Template:No2Loss | 29–12–1 (1) | Pavel Semjonov | UD | 8 | Ogwekuminoogumu 16, 2011 | Kalev, Tallinn, Estonia | |
| 42 | Template:No2Loss | 29–11–1 (1) | Ilias Essaoudi | UD | 8 | Ogwekumineebiri 3 2017 | Hamburg, Germany | |
| 41 | Template:No2Loss | 29–10–1 (1) | Kamil Szeremeta | UD | 10 | Ogwomunaana 20, 2016 | Amfiteatr, Misdroy, Poland | |
| 40 | Template:Yes2Win | 29–9–1 (1) | Adam Katumwa | TKO | 6 (8) | Ogwokuna 22, 2016 | Okapi Hotel Kigali, Rwanda | |
| 39 | Template:No2Loss | 28–9–1 (1) | Igor Selivanov | UD | 8 | Ogwekuminoogumu 29, 2015 | Club A2, Saint Petersburg, Russia | |
| 38 | Template:Yes2Win | 28–8–1 (1) | Rahman Mustafa Yusubov | UD | 6 | Ogwekumineebiri 11, 2013 | EconoLodge, Allentown, Pennsylvania, US | |
| 37 | Template:No2Loss | 27–8–1 (1) | Gennady Golovkin | TKO | 10 (12), 1:57 | Ogwomukaaga 17, 2011 | Roberto Durán Arena, Panama City, Panama | For WBA (Regular) middleweight title |
| 36 | Template:Yes2Win | 27–7–1 (1) | Joey Gilbert | TKO | 6 (10), 0:59 | Ogwomwenda 25, 2010 | Grand Sierra Resort, Reno, Nevada, US | Won vacant WBA–NABA middleweight title |
| 35 | Template:No2Loss | 26–7–1 (1) | Vanes Martirosyan | UD | 10 | Ogusooka 16, 2010 | The Joint, Paradise, Nevada, US | For WBO–NABO and NABF light middleweight titles |
| 34 | Template:No2Loss | 26–6–1 (1) | Gabriel Rosado | SD | 10 | Ogwokuna 24, 2009 | Prudential Center, Newark, New Jersey, US | |
| 33 | Template:Yes2Win | 26–5–1 (1) | Martinus Clay | TKO | 6 (10), 1:38 | Ogwekumi 4, 2008 | 32nd Street Armory, Philadelphia, Pennsylvania, US | |
| 32 | Template:No2Loss | 25–5–1 (1) | Cornelius Bundrage | UD | 10 | Ogwokusatu, 28, 2008 | Seneca Allegany Casino, Salamanca, New York, US | |
| 31 | Template:No2Loss | 25–4–1 (1) | Saúl Román | SD | 10 | Ogwekuminoogumu 2, 2007 | Morongo Casino Resort & Spa, Cabazon, California, US | |
| 30 | Template:No2Loss | 25–3–1 (1) | Jermain Taylor | UD | 12 | Ogwekumineebiri 9, 2009 | Alltel Arena, North Little Rock, Arkansas, US | For WBC, WBO, and The Ring middleweight titles |
| 29 | Template:Yes2Win | 25–2–1 (1) | Sechew Powell | UD | 10 | Ogwomunaana 5, 2006 | Madison Square Garden, New York City, New York, US | |
| 28 | Template:Yes2Win | 24–2–1 (1) | Marco Antonio Rubio | SD | 12 | Ogwokutaano 6, 2006 | MGM Grand Garden Arena, Paradise, Nevada, US | Retained WBO–NABO light middleweight title |
| 27 | Template:Yes2Win | 23–2–1 (1) | Francisco Antonio Mora | TKO | 8 (12), 2:34 | Ogusooka, 27, 2006 | Desert Diamond Casino, Tucson, Arizona, US | Won vacant WBO–NABO light middleweight title |
| 26 | Template:Yes2Win | 22–2–1 (1) | Alfredo Cuevas | RTD | 4 (10), 3:00 | Ogwekumi 13, 2005 | Borgata Hotel Casino & Spa, Atlantic City, New Jersey, US | |
| 25 | Template:No2Loss | 21–2–1 (1) | Roman Karmazin | UD | 12 | Ogwomusanvu 14, 2005 | The Orleans, Paradise, Nevada, US | Lost IBF light middleweight title |
| 24 | Template:Yes2Win | 21–1–1 (1) | Kofi Jantuah | UD | 12 | Ogusooka 29, 2005 | Boardwalk Hall, Atlantic City, New Jersey, US | Retained IBF light middleweight title |
| 23 | Template:Yes2Win | 20–1–1 (1) | Verno Phillips | UD | 12 | Ogwekumi 2, 2004 | Caesars Palace, Paradise, Nevada, US | Won IBF light middleweight title |
| 22 | Template:Yes2Win | 19–1–1 (1) | Juan Carlos Candelo | TKO | 10 (12), 0:15 | Ogusooka 3, 2004 | Foxwoods Resort Casino, Ledyard, Connecticut, US | |
| 21 | Template:Yes2Win | 18–1–1 (1) | Carlos Bojorquez | TKO | 8 (10), 0:35 | Ogwomunaana 22, 2003 | Silver Star Hotel & Casino, Choctaw, Mississippi, US | |
| 20 | Template:Yes2Win | 17–1–1 (1) | Ángel Hernández | SD | 12 | Ogwokutaano 30, 2003 | Foxwoods Resort Casino, Ledyard, Connecticut, US | Won vacant USBA light middleweight title |
| 19 | NC | 16–1–1 (1) | Darrell Woods | TKO | 11 (12), 0:25 | Ogwekumi 4, 2002 | Dover Downs, Dover, Delaware, US | USBA light middleweight title at stake;Originally a TKO win for Ouma, later ruled an NC after he failed a drug test |
| 18 | Template:Yes2Win | 16–1–1 | Jason Papillion | RTD | 8 (12), 3:00 | Ogwokutaano 10, 2002 | Dover Downs, Dover, Delaware, US | Won vacant USBA light middleweight title |
| 17 | Template:Yes2Win | 15–1–1 | Michael Lerma | UD | 10 | Ogwokubiri 15, 2002 | Museum of Art, Philadelphia, Pennsylvania, US | |
| 16 | Template:Yes2Win | 14–1–1 | Pedro Ortega | RTD | 4 (10), 3:00 | Ogwekumineebiri 13, 2001 | Mohegan Sun Arena, Montville, Connecticut, US | |
| 15 | Template:Yes2Win | 13–1–1 | Verno Phillips | UD | 10 | Ogwomukaaga 29, 2001 | Magic Casino, Hankinson, North Dakota, US | |
| 14 | Template:Yes2Win | 12–1–1 | Tony Marshall | UD | 10 | Ogwomukaaga 29, 2001 | Grand Casino, Gulfport, Mississippi, US | |
| 13 | Template:DrawDraw | 11–1–1 | James Coker | TD | 2 (12), 1:46 | Ogwokuna 26, 2001 | Hilton Anatole, Dallas, Texas, US | For vacant WBC Continental Americas light middleweight title;TD after Coker was cut from an accidental head clash |
| 12 | Template:Yes2Win | 11–1 | Quvonchbek Toygonbayev | UD | 6 | Ogwekumi 13, 2000 | Foxwoods Resort Casino, Ledyard, Connecticut, US | |
| 11 | Template:Yes2Win | 10–1 | Alex Bunema | RTD | 4 (8), 3:00 | Ogwokutaano 4, 2000 | Dallas, Texas, US | |
| 10 | Template:No2Loss | 9–1 | Agustin Silva | TKO | 1 (4) | Ogwekuminoogumu 20, 1999 | Miccosukee Resort & Gaming, Miami, Florida, US | |
| 9 | Template:Yes2Win | 9–0 | Angel Villegas | TKO | 8 (8) | Ogwomukaaga 18, 1999 | Robert and Mary Montgomery Armory Art Center, West Palm Beach, Florida, US | |
| 8 | Template:Yes2Win | 8–0 | Emiliano Valdez | PTS | 6 | Ogusooka 30, 1999 | Miccosukee Resort & Gaming, Miami, Florida, US | |
| 7 | Template:Yes2Win | 7–0 | Victor Ramos | TKO | 5 (12), 2:50 | Ogusooka 15, 1999 | Order Sons of Italy, Lake Worth, Florida, US | Won vacant Florida light middleweight title |
| 6 | Template:Yes2Win | 6–0 | Jerry Smith | TKO | 3 (8), 2:37 | Ogwekuminoogumu 20, 1998 | Southeastern Livestock Pavilion, Ocala, Florida, US | |
| 5 | Template:Yes2Win | 5–0 | Rodney Weston | KO | 1 (6), 2:54 | Ogwekuminoogumu 7, 1998 | Order Sons of Italy, Lake Worth, Florida, US | |
| 4 | Template:Yes2Win | 4–0 | Renan Reyes | KO | 1 (6), 1:44 | Ogwekumi 16, 1998 | War Memorial Auditorium, Fort Lauderdale, Florida, US | |
| 3 | Template:Yes2Win | 3–0 | Joseph Ragusa | KO | 1 (4), 0:27 | Ogwomwenda 12, 1998 | Order Sons of Italy, Lake Worth, Florida, US | |
| 2 | Template:Yes2Win | 2–0 | Alton Madison | TKO | 3 (4), 2:19 | Ogwomusanvu 27, 1998 | Order Sons of Italy, Lake Worth, Florida, US | |
| 1 | Template:Yes2Win | 1–0 | Napoleon Middlebrooks | TKO | 1 (4), 1:20 | Ogwomusanvu 10, 1998 | War Memorial Auditorium, Fort Lauderdale, Florida, US |
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "The Big Interview" at Guardian unlimited
- ↑ Biograph at Ouma's websiteTemplate:Dead link
- ↑ "Kassim The Dream". www.kassimthedream.com. Retrieved 2021-08-18.
Ewalala w'oyinza okubigya
[kyusa | kolera mu edit source]- Boxing record for Kassim Ouma from BoxRec (registration required)
Template:S-start Template:S-sports Template:S-text Template:S-break Template:S-vac Template:S-ttl Template:S-vac Template:S-break Template:S-vac Template:S-ttl Template:S-vac Template:S-break Template:S-vac Template:S-ttl Template:S-vac Template:S-break Template:S-vac Template:S-ttl Template:S-vac Template:S-break Template:S-vac Template:S-ttl Template:S-vac Template:S-text Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:S-end