Jump to content

Katende Joram

Bisangiddwa ku Wikipedia

  

Katende (Kate) [1] Jerome Raymond, era amannyidwa nga Katende Joram (yazaalibwa 29 Ogwomwenda 1987) muzanyi wa mupiira gwa nsimbi Munnayuganda eyazannyirako liigi ya babinywera ey'e Malaysia ,mu Universiti Sains Malaysia mu Malaysia .Wadde azannya nga omuwuwutanyi ayita ku ludda lwa kkono, era asobola okukola nga omuteebi olwekitone ky'obwangu kyasinga okuba nakyo .

Yatandika okuzannya omupiira gwensimbi mu uganda mu Kiraabu ya Villa mu 2003, nga amaliriza siniya, era tiimu eno yagizannyira emipiira 45, nga tannakyusa kudda mu tiimu ya Poliisi eya Uganda mu 2006. Oluvannyuma lw’okuzannya emipiira 27 ne Poliisi naateeba ggoolo 18, kiraabu yomupiira eya Uganda Revenue Authority yamusendasenda era nagyegattako mu 2007. Mu myaka 2 gye yamala mu kiraabu ya ``URA yazannya Emipiira 25 , nga tannagenda mu ttiimu ya babinywera mu Oman ku ludda lwa Al Nasrin mu 2009. Nga amaze omwaka gumu ogwobuwanguzi mu Oman, yeegatta ku ttiimu yababinywera eya Malaysia mu Kiraabu ya Universiti Sains Malaysia Staff gy’azannyira mu kiseera kino.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Archived
  1. ↑ Kate is usually a female nickname of Katherine