Jump to content

Katera ow'e Toro

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Rukirabasaija Katera yali Omukama ow’omwenda mu Bukama bwe Tooro, yafuga okuva mu 1876 okutuuka mu 1877. Obukulembeze bwe obw’akaseera akatono bwaliwo mu kiseera eky’obutabanguko obw’amaanyi, anti Tooro yali elumbibwa enfunda eziwera okuva mu Bukama bwa Bunyoro era nga yeesigama ku mukago ogw'ali wakati we ne Buganda okukuuma obwetwaze bwayo. [1] [2]

Okulinnya ku ntebe y'Obukama

[kyusa | kolera mu edit source]

Katera yali mutabani wa Omukama Kasunga Kyebambe Nyaika owoomukaaga, eyafuga Tooro okuva mu 1862 okutuuka mu 1874. Yazaalibwa mu lulyo lwa Babiito, obuto bwa Katera tebwogerwako ne mubiwandiiko tewali kyogera oba ekikwata ku nnyina oba engeri gye yakuzibwamu. Katera yatuula ku Nnamulondo mu 1876 oluvannyuma lwa muganda we, Kakende Nyamuyonjo okuva e Tooro nagenda n’amagye ga Buganda agaali gawagidde obukulembeze bwe. Abantu b’e Tooro baasitula Katera okukuuma obukulembeze nga bugenda mu maaso mu kiseera ekyaliwo eky’akavuyo. Obukulembeze bwe bwe bwali bumpi nga bwaliwo okutuusa mu 1877, mukulu we Rububi Kyebambe II lwe yakomawo okuva e Buganda n’amugoba mu ntebe. Obukulembeze bwa Katera obw’akaseera akatono bwalimu kaweefube w’okutebenkeza obwakabaka wakati mu kutiisibwatiisibwa okuva ebweru naddala okuva e Bunyoro, abaali baagala okufuga Tooro.

Obulamu bwe obw’obufumbo

[kyusa | kolera mu edit source]

Tewali kyogerwa ku bulamu bwe obw’obufumbo mu bitabo ebiriwo.

Abaana b'Omukama Isingoma Rukidi II beyazaala tebamanyikiddwa oba abaana abo be baani.

Emyaka gye egy'oluvannyuma

[kyusa | kolera mu edit source]

Tekinnamanyika wa Omukama Rukidi II gye yafiira n’engeri gye yafamu oba kiki ekyamuviirako okufa.

Engeri Abakama gye bazze beddiringana

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]