Kateregga owa Buganda
Template:Infobox royaltyKateregga Kamegere yali Kabaka ow'ekkuminabana mu Bwakabaka bwa Buganda wakati wa 1644 ne 1674. [1] [2]
Okutuuzibwa ku ntebe y’obwakabaka
[kyusa | kolera mu edit source]Yali mutabani wa Kabaka Sekamaanya yekka ey'alamula wakati wa 1614 ne 1634. Maama we yali Nabakyaala Nabuuso nga ye yali Naabagareka era omukyala yekka kitaawe gwe yawasa . Yalinnya ku Nnamulondo oluvannyuma lw’okuseerera (okufa) kwa kitaawe omuto, kigambibwa mbu yamutta nga akozesa ebikolwa eby'obusamize mu mwaka gwa 1644.
Ku mulembe gwa Kimbugwe, Omulangira Kateregga yazala abalongo ab'obulenzi. Mu kukola emikolo gy'okumala abalongo mu maaso ga Kabaka, Kateregga yawerekerwaako omukyala omulala mu kifo kya Nnalongo, kubanga ono yali mulema. Okwebuuza kwa Kimbugwe olw'obutabaawo bwa Nnalongo kyanyiizza Kateregga n’ava ku mukolo nga mukaawu. Kateregga yalangirira olutalo eri Kabaka Kimbugwe, mwe yawambira Nnamulondo okuva ku kizibwe we. [3]
Obukulembeze bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yatandikawo Olubiri lwe ku lusozi Lugeye.
Kateregga amanyiddwa nnyo olw’empisa ze ez’obukambwe, n’okuyigganya kwe yakola ku b'ekika ky’Engo olw’okugamba nti balina akakwate ku bwakabaka. Abantu b’ekika kino beesanga basenguka, ne beegatta ku bika ebirala oba okutandikawo ebika eby’enjawulo okusobola okukweka obuzaale bwabwe. [4]
Ku ttaka lya Buganda, Kateregga yagattako Butambala ne Gomba ng’ayita mu kuwamba. Yassaawo abaami be mu bitundu bino nga bwe kiri mu Bukiikaddyo bw'e Singo. [5] Okulonda kwe okw'abaami b’obwakabaka mu buyinza okukulembera amasaza kyaraga enkola y'okuva ku bufuzi obutali butereevu obw’abakulu b’ebika n’abaami ab’obusika okudda ku bufuzi obw’obwakabaka.
Obulamu bwe obw’obufumbo
[kyusa | kolera mu edit source]Yawasa abakyala mwenda (9) : [6]
- Nakabugo muwala wa Mugema ow'ekika ky'e Nkima
- Nakamu muwala wa Kinyolo, ow’ekika ky’e Nkima
- Nakinyago muwala wa Naserenga ow'ekika kya Ffumbe
- Naalongo Kawenyera muganda wa Nakabugo, era muwala wa Mugema, ow'ekika ky'e Nkima
- Naluggwa muwala wa Lwoomwa ow'ekika ky'e Ndiga
- Namayumba muwala wa Mugema ow'ekika ky'e Nkima
- Namugayi muwala wa Mpinga ow’ekika ky’e Lugave
- Namutebi muwala wa Mbaja ow'ekika kya Mamba.
- Nanzigu muwala wa Sekayiba ow'ekika kya Mbogo.
Era yawasa abakyala 100 ab'ebbali n’abazaana abaweereza mu lubirir 200.
Ensonga endala
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaala abaana kkumi na bataano (15) :
- Omulangira Lumansi Kijojo, nga nnyina yali Nakabugo
- Omulangira Naluwembe, nga nnyina yali Nakamu
- Omulangira Kinyago, nga nnyina yali Nakinyago
- Omulangira Wasswa Sseninde, nga nnyina yali Naalongo Kawenyera. (Yazaalibwa nga 1644 tannatuuka ne muganda we Kato)
- Omulangira Kato Geserwa, nga nnyina yali Naalongo Kawenyera. (Yazaalibwa nga 1644 tannatuuka ne muganda we Waswa)
- Omulangira Senninde, nga nnyina yali Naluggwa
- Omulangira Gaweserwa, nga nnyina yali Naluggwa
- Omulangira Kawuuwa, nga nnyina yali Namayumba
- Omulangira Kawagga, nga nnyina yali Namugayi
- Omulangira Kazibwe Katakessu, nga nnyina yali Namugayi
- Kabaka Mutebi I, Kabaka wa Buganda okuva mu 1674 okutuuka mu 1680, nga nnyina yali Namutebi
- Kabaka Juuko Mulwaana, Kabaka wa Buganda, wakati wa 1680 ne 1690, nga nnyina yali Namutebi
- Kabaka Kayemba Kisiki, Kabaka wa Buganda, wakati wa 1690 ne 1704, nga nnyina yali Namutebi
- Omulangira Nzigu, nga nnyina yali Nanzigu
- Omumbejja Nazibanja, nga nnyina yali Naluggwa.
Emyaka egy'oluvanyuma
[kyusa | kolera mu edit source]Yaseerera (yafa) olw’okubogyebwa engongola mu bitundu bye eby’ekyama mu 1674. Yaterekebwa (yaziikibwa) e Mitw’ebiri. Ensonda endala ez'esigika yateeka ekifo we yaziikibwa e Buteregga, Busiro. [7]
Engeri Bakabaka gye bazze beddiringana
[kyusa | kolera mu edit source]Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/who-are-buganda-s-longest-serving-kings--4322798
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-05-28. Retrieved 2025-07-31.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ J. Roscoe, The Baganda, 1911, p.218.
- ↑ Kaggwa, Sir Apolo. Ebika kya Baganda (1912), reprinted Kampala, 1949, pp.62-65.
- ↑ Kiwanuka, M. S. (1972). A History of Buganda from the Foundation of the Kingdom to 1900. pp. 69-70
- ↑ Kaggwa, Apollo; Kalibala, Ernest B. (1934). The Customs of the Baganda. p. 27.
- ↑ https://web.archive.org/web/20130615070042/http://www.buganda.com/kings.htm
Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Olukalala lwa Bassekabaka ba Buganda biterekeddwa