Katogo (emmere)
class="infobox-label" scope="row" style="line-height:1.15em;
padding-right:0.65em;" |Ekkubo |
Ekyenkya |
|---|---|
class="infobox-label" scope="row" style="line-height:1.15em;
padding-right:0.65em;" |Ekifo mw'esibuka |
Uganda |
class="infobox-label" scope="row" style="line-height:1.15em;
padding-right:0.65em;" |Ebintu ebikulu ebikozesebwa |
Emmere ng'amatooke, ennyama y'ente, ebyenda, ebinyeebwa n'ebijanjaalo. |
Katogo mmere y'ekyenkya esibuka mu Uganda. Kaliibwa mu bitundu ebisinga mu Uganda era kategeeza emmere ey'anjawulo enfumbire awamu n'enva. Emmere enkulu esinga okuba mu katogo mulimu amatooke nga bifumbiddwa wamu n'enva okuli (ennyama y'ente, omuzigo gw'ente, ebyenda, ebijanjaalo, ebinyeebwa n'ebirala)
Ensibuko
[kyusa | kolera mu edit source]Akatogo kaasibuka mu Buganda ne mu Bugwanjuba bwa Uganda, gye kaasooka okutwalibwa ng'emmere y'omuntu omwavu. Tewali byafaayo bikakasa ku ddi abantu b'omu Uganda lwe baatandika okufumba katogo, naye kasita kirowoozebwa nti kawangadde ng'okubeerawo kw'amatooke bwekuli.[1] Abaganda baavumbulayo akatogo ak'ebyenda n'amatooke. Kyokka akatogo mu kusooka kaalinga ako kokka aka muwogo n'ebijanjaalo. Eno ye yayitibwanga emmere y'omuntu omwavu. Abagagga be baaleeta akatogo akapya ak'amatooke n'ebyenda ssaako okukatabikamu enva endala ng'ennyama n'ebirala ebipya. Akatogo kaacaaka era ne kabuna mangu mu Uganda yonna era n'okutuusa leero waliwo ebika by'akatogo eby'enjawulo ebiriibwa. Kawoomera nnyo abantu aboogera ennimi za Babantu n'abantu abasinga obungi mu bibuga bya Uganda.[2] Kati kasangibwa mu birabo by'emmere ebisinga obungi ne mu wooteero, era kaliibwa nnyo ng'emmere ey'ekyenkya[3].
Ebika by'akatogo
[kyusa | kolera mu edit source]Waliwo enkola ez'enjawulo akatogo mwe kafumbirwa naye esinga okumanyibwa y'eyo ey'amatooke nga ge mangi nga bagatabiseemu ebyenda eby'ente.[4] Amatooke amawaate gafumbibwa mu nva z'ebyenda eziwedde okufumbibwa okutuusa amatooke lwe gaggya. Akatogo katera okugabulwa n'enva endiirwa n'omubisi gw'ebibala.
Enfumba y'akatogo
[kyusa | kolera mu edit source]Enkola y'okufumba akatogo ya kumala kufumba nva ne ziggya okugeza(ebyenda, ennyama y'ente, ebinyeebwa oba ebijanjaalo) ebigattibwa wamu n'amatooke oba emmere endala ne bifumbibwa wamu okutuusa ng'emmere eyidde. Akatogo katwala obudde butonotono okuggya era ebiro bino abantu abasinga bakozesa enku oba amanda okukafumba.
Ebika ebirala
[kyusa | kolera mu edit source]Ebika by'akatogo kuliko emmere nga (amatooke, obummonde, muwogo oba lumonde) ebifumbibwa mu ntamu y'emu n'enva omuli:(ennyama y'ente, ebyenda, ebijanjaalo, kawo oba enva endiirwa).
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebyawandiikibwa ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ http://www.monitor.co.ug/SpecialReports/ugandaat50/-/1370466/1377136/-/ujj1orz/-/index.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20140407074950/http://www.maranathatoursug.net/katogo-ugandas-breakfast-delicacy/
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Breakfast
- ↑ http://www.monitor.co.ug/artsculture/Dining---Recipes/-/691226/941578/-/c8y70v/-/index.html