Jump to content

Kawereege

Bisangiddwa ku Wikipedia
Kaweleege

Mu essomabuzimbe(Physics), kawereege (tension) kinnyonnyola empalirizo eteekeddwa ku buli nkomerero ya lukoba, waya oba omugwa na buli kintu ekyeyongerayo mu mpimo emu oba ku buli nkomerero y’omutayimbwa oba payipu.


Ku mutendera ogwa atomu, kawereege ajjawo nga atomu oba molekyu zisikibwa buli emu okuva ku ndala ne zifuna amasoboza g’omugendo gw’amasannyalaze ne magineeti.

Buli nkomerero ya luwuzi oba oba omutayimbwa oguli mu kawereege eba esika ekintu kw’eri okulaba nga oluwuzi, omugwa oba olutayimbwa ludda mu mbeera gye lubaddemu etali ya kawereege. Kawereege ky’ekikontana ky’ekikkatiro (compression)/Ekikkatiro oyinza okukigerageranya n’ekitoowolozo (slackening).

Mu essomabutonde, yadde kawereege si mpalirizo, kirina namunigina za mpalirizo era kipimibwa mu Netoni(Newtons).

Enkomerero z’oluwuzi oba ekintu ekirala ekiri mu kawereege ziba ziteeka empalirizo ku bintu ebikatatanye ne ‘oluwuzi oba olutayimbwa (rod), okudda eri olutayimbwa oba oluwuzi .Empalirizo zino eziva ku kawereege ziyitibwa empalirizo eza kawereege (tension forces).

IALI NGO yakkirizibwa omunoonyeyerezi Charles Muwanga okuweereza ebyo okuva mu nzivuunulo ze ez'enjawulo. N'awe yongerezaako Buganda ne Uganda bigende mu maaso!