Jump to content

Kayaga Baroda Watongola

Bisangiddwa ku Wikipedia

Kayaga Baroda Watongola munnabyabufuzi Omunnayuganda era omu kubakola amateeka mu ggwanga. Ye Mubaka wa Paalamenti akiikirira munisipaali y'e Kamuli mu Palamenti ya Uganda ey'e 11. Yayingira Paalamenti nga talina kibiina kyeyali agiddemu, okugyako okubeera obwanamunigina. [1] [2] [3]

Obuvo n’Eby'enjigiriza

[kyusa | kolera mu edit source]

Baroda Watongola muwala w’omugenzi Hajjat Rehema Tiwuwe Watongola, eyali Omubaka wa Paalamenti ng'akiikirira Munisipaali y’e Kamuli, ne Badiru Watongola, ssentebe w’ekibiina National Resistance Movement (NRM) mu Munisipaali y'e Kamuli. [4] [5] [6] [7]

Baroda Watongola yasomerako ku Kyambogo University, gyeyafunira Diguli mu Kulaakulanya Embeera y'Abantu abalina Obulemu ku Mibiri. Era alina dipulooma mu koosi y’emu. [1] [5] [8]

Baroda yadira maama we mu bigere ng'eyavuganya ku kifo kya Munisipaali y’e Kamuli oluvannyuma lwa nnyina Hajjat Rehema Watongola okufa ekirwadde kya Covid 19 ng’ebula emyezi mitono okulonda kwa bonna mu Uganda okwa 2021 kwe yali agenderera okwetabamu. Abalonzi e Kamuli baalaba Baroda ng'eyali asobola okudira maama we mu bigere. [1] [5] [9] [6] [7] [8]

Ono era yafunye okuwagirwa okuva eri pulezidenti w’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) Ying. Patrick Oboi Amuriat wadde nga yali akiikirira endowooza y’ebyobufuzi ey’enjawulo. [10]

Mu kulonda kwa bonna okwa 2021, Baroda yeegwanyiza ekifo ky’Omubaka nga talina kibiina kyabyabufuzi ky'akiikiridde nga maama we bweyali akikoze. Yawangula Mastula Namatovu owa National Resistance Movement, Mosses Bigirwa owa National Unity Platform (NUP) ne Ying. Geoffrey Mugoye (omulala eyali talina kibiina kyabyabufuzi kyeyali agiddemu). [2] [6] [7] [11]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 Benard, Don M. (2020-11-27). "Kyambogo University Finalist Nominated to Contest for Her Fallen Mother's MP Seat". Campus Bee (in American English). Retrieved 2022-04-06.
  2. 1 2 "Kamuli Municipality MP Elect Kayanga Embarks on "Non-Violent Youth Project" -" (in American English). 2021-02-23. Retrieved 2022-04-06.
  3. "KAMULI: Hon.Baroda Watongola donates to locals Covid-19 Relief items". NBS 89.4FM (in American English). 2021-07-05. Archived from the original on 2021-08-04. Retrieved 2022-04-06.
  4. Deceased MP Watongola's daughter joins MP contest for Kamuli municipality (in Lungereza), retrieved 2022-04-06
  5. 1 2 3 "Daughter nominated to compete for deceased mother's MP seat in Kamuli Municipality". Nile Post (in American English). 2020-11-24. Retrieved 2022-04-06.
  6. 1 2 3 URN. "Late Watongola's daughter Kayaga nominated for Kamuli MP seat". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2022-04-06.
  7. 1 2 3 "Watongola's daughter fights for her mother's shoes". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2022-04-06.
  8. 1 2 "Fallen Kamuli MP's daughter joins race to replace her". Monitor (in Lungereza). 2020-11-24. Retrieved 2022-04-06.
  9. "Daughter to deceased Kamuli Municipality MP Watongola nominated to "defend" mother's Seat". Matooke Republic (in American English). 2020-11-25. Archived from the original on 2020-11-26. Retrieved 2022-04-06.
  10. "Video: FDC's Amuriat Endorses NRM-leaning Candidate for Kamuli Municipality MP Seat". ChimpReports (in American English). 2020-12-27. Retrieved 2022-04-06.
  11. "The women who trounced men in parliamentary races". Bukedde (in Lungereza). Archived from the original on 2024-11-27. Retrieved 2022-04-06.