Jump to content

Kayima owa Buganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Kayima Sendikaddiwa ye Sekabaka ow’omusanvu mu bwakabaka bwa Buganda, wakati wa 1494 ne 1524.

Okutuuzibwa ku Nnamulondo

[kyusa | kolera mu edit source]

Ye mutabani w’Omulangira Wampamba, mukyala we eyasooka, Nakayima. Yatuuzibwa ku Nnamulondo nga jjajjaawe, Kiggala Mukaabya afudde mu 1494. Yatandikawo olubiri lwe ku lusozi Nazzigo. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (August 2020)">okujuliza kwetaagisa</span> ]

Obulamu bw’obufumbo

[kyusa | kolera mu edit source]

Yalina abakyala babiri:[1]

  • Nababinge muwala wa Wampona ow'ekika kya Mamba
  • Naddogo muwala wa Kasujja ow'ekika ky'e Ngeye

Yazaala abaana babiri ab’obulenzi:

Emyaka egyasembayo

[kyusa | kolera mu edit source]

Yattibwa mu lutalo n’Omulangira Bwakamba ow’e Nyendo, e Sunga, mu 1524. Yaterekebwa e Nabulagala mu Busiro.[2]

Ennambika y'obusika

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Kaggwa, Apollo; Kalibala, Ernest B. (1934). The Customs of the Baganda. p. 22.
  2. "Ssekabaka Kayima Is Buried At Nabulagala, Busiro". Buganda.com. Archived from the original on 15 June 2013. Retrieved 4 October 2014.

Ebiyungo eby’ebweru

[kyusa | kolera mu edit source]