Keith Kalyegira
Keith Kalyegira mubalirizi wa bitabo, adukanya emirimu era omukozi wa gavumenti mu Uganda.Yaliko eyali akulira ekitongole kya Capital Markets Authority of Uganda. Yatekebwa mu kifo ekyo mu Gwokuminoogumu gwa 2013, ng’adira Japheth Katto mu bigere. [1]
Obuvo n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Uganda nga mu myaka gya 1971. Yatikirwa ku Makerere University mu 1993 ne Diguli mu By'obusuubuzi. Diguli ye Ey'okubiri mu Kudukanya Bizineensi yagifuna okuva ku Yunivasite y’e Cape Town mu 2002. Y'omu kuba memba ba Institute of Chartered Secretaries and Administrators, ebisaanyizo bye yafuna mu 1997. [2]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Yawerezaako nga memba ku lukiiko olufuzi olwa Uganda Securities Exchange. Era yawerezaako ng’akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulondoola eby’amaguzi ekya Parastatal Monitoring Unit ne Privatization Utility Sector Reform Project wansi wa Minisitule y’Ebyensimbi. Nga tanatukayo, yaliko avunaanyizibwa ku by’ensimbi mu kitongole kya National Social Security Fund e Uganda. Nga tanatukayo, yaweerezaako ne kampuni y'esundiro ly'amafuta eya Shell mu kitongole kyabwe eky’ennyonyi ez’eby'obusuubuzi mu butale bwabwe obw’Omubugwanjuba n’Obuvanjuba bwa Afrika. [1]
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 Kulabako, Faridah (7 November 2013). "Kalyegira is new Capital Markets chief executive". Archived from the original on 9 May 2016. Retrieved 27 April 2016. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "Who" defined multiple times with different content - ↑ Senyonyi, Taddewo (3 February 2014). "Kalyegira sets priorities as new Capital Markets Authority Boss". The CEO Magazine. Retrieved 27 April 2016.