Jump to content

Kenneth Arhtur Davies

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Kenneth Arthur Davies yali Mungereza eyali anoonyereza ku By'ekikula ky'ensi, eyali akulira abaali bakola okunoonyereza ku kikula kya Uganda, era eyali ng'abagenyi webaali batukira mu kifo ekyali kiyitibwa nga Murchison Medal ekyali ng'eky'e Kibiina ekyali Kigatta Abakola Okunoonyereza ku By'ekikula Ky'ensi nga bano baali basinganibwa mu kibuga London. Yaweerezaako ng'omukulembeze w'ekibiina kya Uganda Society eky'omulundi ogw'e 13 okuva mu 1944 okutuusa mu 1945.

Davies yazaalibwa mu 1897, era yasoma byakunoonyereza ku byakikula kyansi ku University College of Wales, Aberystwyth[1] wansi wa William Pugh oluvannyuma lw'okukomekerezebwa kwa sematalo eyasooka. Davies y'agenda ng'okukola mu kunoonyereza ku by’ekikula ky'ensi mu matwale agaali badukanyizibwa abagwiira mu Buvanjuba bwa Afrika, ng'no gye yafuukira eyali akulira abaali bakola okunoonyereza ku by'ekikula kya Uganda. Mu bintu ebirala, Davies yakola ku bifo eby’ebyenfuna, omuli ebifo ebigazi ebyali bisinganibwaamu eky'obugagga kya phosphates ebyali ensibuko enkulu ey’ebintu ebigimusa, [2] ne ku njazi z’olusozi olufuuw omuliro mu Uganda n’ekiwonvu.[3][4]

Davies yalondebwa okubeera Omukulu mu Magye agaali gadukanya Obukulembeze bwa Bungereza ku lukalala lwa New Years Honours olwa 1946, [5] ne CMG mu lukalala lw’ebitiibwa by’emyaka emiggya egya 1952, olw’obuweereza bwe mu baali bakola okunoonyereza ku by'ekikula ky'ensi aba Uganda geological survey, era ng’omumyuka w'akulira Abaali Bakola Okunoonyereza ku By'ekikula kjy'ensi mu mawanga g'ebweru ku lwa Bungereza. [6]

Mu 1954, Davies yaweebwa awaadi ya Murchison Medaleya Geological Society of London olw'ebyo bye yakola mu by’okunoonyereza ku by'ekikula ky'ensi mu Mawanga G'Omubuvanjuba bwa Afrika, n’okusingira ddala olw’okunoonyereza ku njazi enkadde ez’ensenke y'ettaka n'ensozi eziwanda omuliro n'enjazi ez’Olusozi Elgon, mu Uganda.[7]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "William John Pugh, 28 July 1892 - 18 March 1974". Biographical Memoirs of Fellows of the Royal Society. 21: 485–495. November 2, 1975. doi:10.1098/rsbm.1975.0015 via CrossRef.
  2. "Fertilizer Manufacture in East Africa". Nature. 162 (4118): 522. October 1, 1948. Bibcode:1948Natur.162S.522.. doi:10.1038/162522c0 via www.nature.com.
  3. Davies, K.A. (1952). "The Building of Mount Elgon (Est Africa)". Memoirs, Geological Survey of Uganda. VII: 1–62.
  4. Davies, K.A. (1956). "The geology of part of South-East Uganda with particular reference to the Alkaline Complexes". Memoirs, Geological Survey of Uganda. VIII: 1–76.
  5. "Page 62 | Issue 37407, 28 December 1945 | London Gazette | The Gazette". www.thegazette.co.uk.
  6. "Page 5 | Supplement 39421, 28 December 1951 | London Gazette | The Gazette". www.thegazette.co.uk.
  7. "Geological Society: Awards for 1954". Nature. 173 (4395): 151. January 2, 1954. Bibcode:1954Natur.173S.151.. doi:10.1038/173151c0 via www.nature.com.