Khalifah Aganaga
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
Khalifah Aganaga (yazaalibwa Sadat Mukiibi nga 3 Ogwokusatu 1990) muyimbi wa dancehall ne Afrobeat Omunnayuganda, omuwandiisi w'ennyimba, pulodyusa, era munnabyabufuzi.[1][2] Yayitimuka oluvannyuma lw'okufulumya ennyimba nga Mina Konda, Ndabirawa, Oyitangayo, Kiboko ft Jose Chameleone n'olw'okwenyigira mu by'okusanyusa Bannayuganda. Ono muwanguzi w’engule eziwerako nga Zzina Awards, Buzz Teeniez awards. Era abadde akolera wansi record label ye eya Bad Character Studios era awandiikidde abayimbi ba Uganda abawerako ennyimba.[3]
Yali yeesimbyewo mu kulonda kw'omubaka wa Kawempe North mu kamyufu ka Forum for Democratic Change (FDC) mu 2025.[4][5][6]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Khalifah yazaalibwa era n’akulira e Kabowa, mu bitundu by’e Kampala, Uganda, gye yakuzibwa maama ali obwannamunigina.[7] Yagenda mu ssomero lya St Aloysius primary school okusoma pulayimale nga tannaba kwegatta ku Kawanda Secondary School okusoma O-Level ne A-Level.[4][7]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Okuyimba
[kyusa | kolera mu edit source]Aganaga yatandika olugendo lwe olw’okuyimba mu 2012 nga kigambibwa nti yakozesa ssente z’okusoma okufulumya oluyimba lwe olwasooka, Mina Konda.[7] Oluyimba luno lwakubibwa nnyo ku leediyo ne ttivvi, ne lumuyamba okuyitimuka mu kisaawe ky'okuyimba mu Uganda. Oluvannyuma yakolagana ne Twinkle Star Agency wansi wa maneja Emma Carlos, ekyamuyamba okuyitimuka amangu.[7]
Eby'obufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2021, Aganaga yayingira eby'obufuzi bya Uganda ng’avuganya ku kifo kya palamenti ekya Rubaga South, wadde nga teyawangula.[8][2] Mu 2025, yasunsulwa Forum For Democratic Change (FDC) okuvuganya ku bwa mmemba wa palamenti owa Kawempe North mu kalulu akaddibwamu[6][8]
Ennyimba ze
[kyusa | kolera mu edit source]Ng'ali yekka
[kyusa | kolera mu edit source]- Mina Konda
- Ndabirawa
- Oyitangayo
- Jangu
- Business
- Katono
- Woman
- Nassanga (The Best I Know)
- Mukidongo
- Sigwe Asose
- Zilye
- Kyusaamu
- Nkulowozako
- KAWAIDA
- Expensive
- Ananipa (Emotions)
- Halo
- Toyinza
- Fumita Emboozi
- Sibafanana
- Cinema
Ng'ali naabalala
[kyusa | kolera mu edit source]- Gudi Gude - Radio & Weasel ft. Khalifah Aganaga
- Ssaagala - Spice Diana ft. Khalifah Aganaga
- Katono Remix - Khalifah Aganaga
- Nkusaba One Day - ft. Khalifah Aganaga
- Bambo - Khalifah Aganaga
Awaadi n'okusunsulwa
[kyusa | kolera mu edit source]| Award | Year | Status | Awarder |
|---|---|---|---|
| Best Male Breakthrough Artist | 2014 | Won | HiPipo Music Awards[9] |
| Teeniez Dancehall Artist | 2014 | Won | Buzz Teeniez Awards[10] |
| Teeniez Hottest Collabo | 2015 | Won | Buzz Teeniez Awards[11] |
| Teeniez Hottest Riddim | 2015 | Won | Buzz Teeniez Awards[11] |
| Inspirational Song of the Year | 2016 | Won | Zzina Awards (Galaxy FM)[11] |
| Best Hip Hop Song | 2017 | Won | HiPipo Music Awards |
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Reporter, NewVision (2023-08-18). "Ent. & Lifestyle: Khalifa Aganaga gets nine-year Canada visa". New Vision. Retrieved 2026-06-18.
- 1 2 Reporter, Vision. "Covid 19: Five things singer Aganaga can't do without". New Vision. Retrieved 2026-06-18.
- ↑ NINSIIMA, JULIAN. "VIDEO: Singer Aganaga opens recording studio - PML Daily". pmldaily.com (in American English). Archived from the original on 2024-05-21. Retrieved 2026-06-18.
- 1 2 Lyatuu, Justus (2018-10-25). "Yes, I do weed – Khalifa Aganaga". The Observer Media Ltd (in American English). Retrieved 2026-06-18.
- ↑ Opio, Isaac (2025-02-05). "FDC Nominates Musician Kalifah Aganaga for Kawempe North MP By-Election". ChimpReports (in American English). Retrieved 2026-06-18.
- 1 2 "Aganaga: FDC gamble with big shoe that wasn't". Monitor (in Lungereza). 2025-03-22. Retrieved 2026-06-18.
- 1 2 3 4 BigEyeUg (2013-07-31). "STAR PROFILE: AGANAGA KHALIFAH". BigEye.UG (in American English). Retrieved 2026-06-18.
- 1 2 "Singer Kalifah Aganaga handed FDC flag for Kawempe North by-election". Pulse Uganda (in Lungereza). 2025-02-05. Retrieved 2026-06-18.
- ↑ "Bebe bags six trophies at hipipo music awards". Monitor (in Lungereza). 2021-01-04. Retrieved 2026-06-18.
- ↑ "Hip hop dominates Teeniez awards". Monitor (in Lungereza). 2021-01-05. Retrieved 2026-06-18.
- 1 2 3 "FULL LIST: Buzz Teeniez Awards Winners" (in Lungereza). Retrieved 2026-06-18.