Jump to content

Kibe Clan

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ekika ky'e Kibe ky'ekimu ku bika ebingi mu Bwakabakabwa Buganda . Ekibe linnya lya Luganda ekitegeeza Kibe . Ekika ky'e Kibe kyaliwo ku mulembe gwa Ssekabaka Kintu . Omukulu w’ ekika bamuyita Muyige. Obutaka bwa Muyige busangibwa e Wantaayi mu Kyaggwe, kati ye disitulikiti y'e Mukono. Abantu b’e kika ky’e Kibe baasooka kusenga Busujju nga tebannagenda Kyaggwe kati disitulikiti y’e Mukono. [1]

Awo olwatuuka, Ssekabaka Jjuuko yalagira muto we Omulangira Kayemba agende awambe amatwaale g’e Buvuma . Omulangira Kayemba yagenda n'ab'ekika ky'e Kibe bangi okulwanirira ettaka ly'e Buvuma .

Oluvannyuma lw’okuwangula obulungi Buvuma, abamu ku basajja be okuva mu Kika ky’e Kibe baasenga eyo. Okuva e Buvuma abamu ku bbo ne basenga e Busoga . Omulangira Kayemba bwe yaddayo mu Buganda okuva e Buvuma, bangi ku b'ekika ky'e Kibe baddayo naye. Baatuukira ku mwalo gwa Kigaya era wano we baasobola okufuna ettaka ku nsozi ezeetoolodde omwalo Kiyaga ku kyalo Makindu. Era baafuna ettaka e Buikwe nga kw’otadde n’ebitundu ebyetooloddewo n’ebifo ebirala nga Buzaana ne Bugolo. [1]

Ekika kya Kibe kyamanyikibwa nnyo ku mulembe gwa Kabaka Ssemakookiro eyafuga wakati wa 1779-1794. [1]

Omulimu omukulu

[kyusa | kolera mu edit source]

Ekika ky'e Kibe kyaweebwa omulimu gwa " Obasenero bw'omwenge gwa Kabaka " ekitegeeza "Abakulu abakola omwenge gwa Kabaka" Ekitiibwa kino baakifuna okuva mu Kika ky'e Nvuma . Baafuna omulimu guno ku mulembe gwa Ssekabaka Ssemakokiro. [1]

Ensibuko y’omulimu Omukulu

[kyusa | kolera mu edit source]

Waliwo omusajja ayitibwa Kyasanku eyali ow'e kika ky'e Kibe, yagenda okubeera n'Omulangira Ssemakookiro bwe yali abeera e Nnamwezi mu Kyaggwe kati Disitulikiti y'e Mukono. Eno Omulangira gyeyali atekateekera basajja be okulumba muganda we Kabaka Jjunju . [1]

Kyasanku yali wa magye ga Ssemakokiro, kale bwe baali bagenda okulwanyisa Kabaka Jjunju, Omulangira Ssemakokiro yasaba Kyasanku amuwe ku mwenge. Mu kiseera ekyo, Kyasanku yali alowoozezza ku ky’okunywa omwenge n’oluseke. Kino kyaviirako Omulangira okubuuza Kyasanku kiki ekyatuuka ku mwenge gweyali ataddemu oluseke. Yabuuza nti," Omwenge gwange gw'osimbyemu Oluti gubade ki? " ekitegeeza mu ngeri ennyangu nti,"Kiki ekituuse ku mwenge gwange mw'otaddemu oluti ?" Kyasanku yaddamu nti," Oluti olwo lujja kukunywesa bulungi omwenge nga teguyinza na kukuyiikira ." ekitegeeza nti ," oluti lujja kukusobozesa okunywa obulungi omwenge gwo era teguyinza kukuyikako." Olwo Omulangira n’asalawo okukozesa oluseka ng'anywa omwenge era n’ategeera nti ekyokunywa kikulukuta bulungi era ng’okukozesa oluti kyali kyangu era nga kimuwa emirembe. Kale, okuva olwo, buli lwe yayagalanga ekyokunywa, ng’asaba Kyasanku amuleetere omwenge wamu n’oluti. Wano Omulangira weyatandikira okuyita Kyasanku,"Sseruti, ndeteera ku mwenge gwange nyweeko" ekitegeeza nti, "Sseruti, leeta omwenge gwange nsobole okunywa." Bwatyo Kyasanku bwe yatuuka okutuumibwa erinnya lya Sseruti. Sseruti kiva mu kigambo Oluti ekitegeeza omuggo. [1]

Oluvannyuma lw’Omulangira Ssemakookiro okulwana n’okuwangula mukulu we Jjunju, eKika ky’e Nvuma yakijjako omulimu gw'obukulu bw'okusogola omwenge n’aguwa Sseruti eyazuula engeri y’okunywa omwenge oluseke-Oluti. [1]

Ebikwata ku kika

[kyusa | kolera mu edit source]
Ekika Obubaka
Ekika Kibe
Omuziro Mpiri
Omukulu w'Ekika (Omutaka) . Muyige
Obutaka Buluutwe, Kyaggwe
Omubala Kibe Kibe: Kimaze okulya, kyekubye ensiko, Kyasanku bakuzaala wa ? Wambogwe,

Kabaka bwanywa anyway nvuba, Muyige bwakwana gw'akwana amalirira, Muyige waddalu waddalu. [2]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 6 7 "Archive copy". Archived from the original on 2024-02-13. Retrieved 2026-01-20.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. "Kibe". www.obutaka.com. Archived from the original on 2024-01-26. Retrieved 2024-02-12.