Jump to content

Kibuuka (omusambwa) .

Bisangiddwa ku Wikipedia

Kibuuka, era amanyiddwa nga Kibuka omu ku balubaale oba ekibinja kya bakantonda munzikiriza y'Abaganda, abawangaalira mu Uganda. alowozebwa okuba katonda w'entalo.[1][2]


Kibuuka atera okuwa amagezi eri bakabaka ba Baganda mu kiseera ky'entalo, endwadde wamu n'ebintu ebirala eby'akatyaba n'okufa kw'abantu abangi. Okusinziira ku bigambibwa ebimu, Kibuuka, okufaananako mukulu we Mukasa, yali afa naye yayambuka mu bwakatonda.[3][4]

Kibuuka ye muto wa Mukasa, katonda w'ennyenja n'amayanja, okukulakulana, okuzaala, okukungula.[5] Bombi batabani ba Wanema, era bazzukulu ba Musisi, alagibwa nga omubiri gwa musisi

Okufa kwa Kiuuka

[kyusa | kolera mu edit source]

Okusinziira ku lufumo olumu, Kibuuka yasindikibwa kitaawe Wanema, okuyamba omu ku bakabaka b'Abaganda, Nakibinge, eyali wakati mu lutalo n'abantu ba Bunyoro. Kibuuka yayambako okuyiiya enteekateeka y'okubawangula, era omulimu gwe gwali gwa kukuba bajaasi ba Bunyoro nga asinziira mu bire. Eggye lya Baganda lyali linateera okutuuka kubuwangunzi. Olunaku lumu, amagye gaaleeta abasibe mu nkambi zaabwe - wadde nga Wanema ne Kibuuka baali babalabudde obutakikola. Omu kubawambe yali mukyala eyatoloka oluvanyuma era nanyuma bye yalaba mu nkambi ya Baganda, eri amagye ga Bunyoro omuli ekifo kya Kibuuka mu kiseera ky'okulumba. Enkeera, eggye lya Bunyoro lyetaba mulutalo olulala n'eggye lya Baganda, era n'okubeera n'okumanya ku kifo kya Kibuuka we kiri, omu kubakubi bobusaale yasumulula akasaale akalumya Kibuuka mu kifuba.[6][7]

Waliwo enkyusa eziwelako ku kyaddako. Emu kunkyusa, Kibuuka yeeta n'agwa ku muti ku lusozi Mbale, Mpigi n'afiira eyo, n'afuuka katonda. Mu nkyusa endala, engabo ye yatwalibwa eggye lya Bunyoro era gye bwaggweera nga bakolimiddwa n'endwadde. Nolwekyo, amagye gazzaayo engabo eri Kabaka Nakibinge, eyaziika omulambo gwa Kibuuka n'ebintu bye era nayimirizaawo essabo mu kitiibwa kye, era okuva olwo n'afuuka katonda w'olutwlo.[8] mu nkyusa endala omulambo gwa Kibuuka tegwazuulibwako.

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://books.google.com/books?id=4Qiq4ps_wDIC
  2. https://books.google.com/books?id=uMv0CAAAQBAJ&q=encyclopedia+of+african+religion
  3. https://books.google.com/books?id=qq7ZwwEACAAJ
  4. https://www.jstor.org/stable/2788113
  5. https://books.google.com/books?id=qq7ZwwEACAAJ
  6. https://books.google.com/books?id=4Qiq4ps_wDIC
  7. https://www.jstor.org/stable/2788113
  8. https://www.jstor.org/stable/2788113