Kichwamba massacre
Ekittabantu e Kichwamba lwali lulumbaganyi lw'abatujju olwatukawo nga 8 Ogwomukaaga 1998 mutendekero lya Kichwamba Technical Institute mu Disitulikiti y'e Kabarole mu Uganda . Obulumbaganyi buno bwakolebwa abayeekera abalina akakwate ku maggye ga Allied Democratic Forces (ADF), ekyavirako okufa kw'abayizi 80 okuwambibwa kw'abalala abasoba mu 100.[1][2][3][4]
Abayeekera baasibira abayizi mu bisulo byabwe ne babakumako omuliro. Abayizi 27 abaayokebwa okutuuka kusa nga tebakyasobola kutegerekekwa baazikibwa muntaana eyasimwa nga nene munda mutendekero ng'era entaana eno eriko amannya gaabwe gonna. Abayizi abamu basimatuka ne bawona obulumbaganyi buno. [5]
Ebikikwatako
[kyusa | kolera mu edit source]Obulumbaganyi buno bwaliwo mu kiseera ng’obuyeekera bw'amagye ga Allied Democratic Forces bwali bunyinyitidde mu Bugwanjuba bwa Uganda. Ekibinja ky’abayeekera ekya ADF kyali kikolera mu kitundu kino okuviira ddala mu masekati g'emyaka gya 1990, ng'era baali bakola obulumbaganyi obw’enjawulo eri abatuuze wamu n'amaggye ng'ebimu ku kaweefube waabwe eri ku gavumenti ya Uganda.[5]
Obulumbaganyi
[kyusa | kolera mu edit source]Mu saawa ez'okumakya nga 8 Ogwomukaaga mu 1998, abayeekera ba ADF etendekero lya Kichwamba Technical Institute. Abalumbaganyi baakuma omuliro mu bisulo by’abayizi byamirundi esatu, ekyaletera abayizi bangi okubeera nga baali bakwatiddwa munda nga tebalina webayinza kuyita. Omuliro gwayanguwa okukwata ebizimbe byonna, nekivirako abayizi 80 abaali tebasobola kutolokamu, okufa.[6] Okwongereza ku kufa, abayeekera baawamba abayizi nga 100 ne basaanyaawo ebifo ebirala n'ebikozesebwa mutendekero lino omwali gyetababulira eddagala n’ebikozesebwa.[4][7]
Obulumbaganyi bwaliwo nga buli wansi w'okuduumirwa Jamil Mukulu, omukulembeze w’ekibiina kya ADF omututumufu eyakwatibwa oluvannyuma n’avunaanibwa emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna olw’okubeera n'omukono mu bikolwa eby’obukambwe eby’enjawulo ebyakolebwa ekibiina kino. [5]
Ebyavaamu
[kyusa | kolera mu edit source]Ettemu lino lyasindika ensisi mu Uganda yonna n’ensi yonna. Kyalaga ng'amatendekero g’eby'enjigiriza bwegatabeera na bukuumi bumala nadala bu bifo ebirimu obutabanguko n’obukodyo obw’obukambwe aba ADF bwe baakozesa eri bantu baabulijjo naddala nga bugenderera abavubuka. [8]
Okuddamu kwa Gavumenti
[kyusa | kolera mu edit source]Gavumenti ya Uganda yayongera amaanyi mu bikwekweto by’okulwanyisa amagye ga ADF oluvannyuma bw’obulumbaganyi buno. Eby'okwerinda mu matendekero g’eby'enjigiriza okwetoloola eggwanga lyonn gayongerwaamu amaanyi okwewala ebikolwa ebifaananako bwe bityo. [4]
Ensonga z’okuliyirira
[kyusa | kolera mu edit source]Webwatukira mu 2022, abaasimattuka n’aba famire z'abo abaafunira obuzibu mu bulumbaganyi buno baali bakyalinze gavumenti ebaliririre, nga kino kyali kibasuubizziddwa oluvannyuma bw’obulumbaganyi buno. Okulwawo kw'okusasula ssente z’okuliyirira kisigadde nga nsonga eriko enkaayana, nga famire ezakosebwa zikyalajana okufuna obwenkanya n’okuyambibwa mu by’ensimbi.[5]
Omukululo
[kyusa | kolera mu edit source]Ekittabantu e Kichwamba kukyasigadde nga byebimu ku bikyasinze okubeera eby'entiisa mu byafaayo bya Uganda ebisembyeyo. Kyakola ng’ekijjukizo eky’amaanyi ekiraga ebiyinza okuvaamu singa obulumbaganyi obw'emundu bukolebwa ku matendekero g’eby'enjigiriza n’abantu baabulijjo. Obulumbaganyi buno butera okwogerwako mu kuteesa ku kaweefube wa ADF eyali ow’obukambwe n’okusoomoozebwa okugazi mu by’okwerinda Uganda kweyayita ngamu ku nkomerero y’emyaka gya 1990. [8]
Ettemu lino lyajjukirwa mu 2023 oluvannyuma lw’okulumbibwa kw'esomero eddala erya Mpondwe Lhubiriha Secondary School, nga guno gwegwali omulundi ogwali gusooka aba ADF okulumba esomero endala mu Uganda mu myaka 25 bukyanga kibaawo e Kichwamba.
Nga bayambibwako Gavumenti ya Uganda, ekitongole kya Budaaki ekikola ku Nkolagana y’Ensi Yonna mu By’enjigiriza ebya waggulu (Nuffic), Hanze University, Kyambogo University, Mountains of the Moon University ne Gavumenti ya Budaaki, ettendekero lino lyatereera era, mu 2010, lyali lyongedde ku omuwendo gw’abayizi baayo okutuuka ku 650. [2]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Uganda: Massacre! -ADF Burns 50 Students To Death In Kichwamba". AllAfrica. 9 June 1998.
- 1 2 Felix Basiime, and Joseph Mugisa (5 June 2010). "Kichwamba rises from the ashes". Archived from the original on 22 December 2015. Retrieved 21 December 2015. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "Rising" defined multiple times with different content - ↑ Administrator (12 June 2014). "Kichwamba Massacre: Survivors Accuse Government Of Neglect". Retrieved 21 December 2015.
- 1 2 3 "How we escaped ADF attack on Kichwamba". Monitor (in Lungereza). 2021-01-05. Retrieved 2025-06-26. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":0" defined multiple times with different content - 1 2 3 4 "Kichwamba massacre: Govt compensation still in limbo". Monitor (in Lungereza). 2022-06-14. Retrieved 2024-05-25. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":1" defined multiple times with different content - ↑ "Uganda: Kasese School Massacre Worries Educators". AllAfrica. 26 June 2023. Retrieved 26 June 2025.
- ↑ "IRIN Special Report on the ADF rebellion". www.thenewhumanitarian.org (in Lungereza). 1999-12-08. Retrieved 2025-06-26.
- 1 2 "HRW Condemns Deadly Attack By Ugandan Rebels On School Children | Human Rights Watch" (in Lungereza). 1998-06-10. Retrieved 2025-06-26. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":3" defined multiple times with different content