Jump to content

Kid Fox

Bisangiddwa ku Wikipedia
Kid Fox
Munnayuganda omuyimbi wa dancehall Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeYuganda Kyusa Wikidata
Omulimumusician Kyusa Wikidata
Kika ky'en­nyim­badancehall Kyusa Wikidata

Kid Fox, era amanyiddwa nga King Steven (yazaalibwa Kiggundu Steven ) Munnayuganda omuyimbi w'ennyimba ekika kya dancehall nga yayitimuka nnyo mu myaka gya 1990 ne 2000.[1][2][3]

Obuto bwe n'obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Kid Fox pulayimale ye yagisomera ku Nakasero Primary School, oluvannyuma n’agenda mu Wairaka College ne Progressive Secondary School okusoma siniya, nga tannaweebwa kifo mu Ssettendekero wa Makerere gye yatikkirwa diguli ya Bachelor of Arts mu 2001.[2][3] Mu 2003, yafuna dipuloma mu mateeka okuva mu Law Development Center.[3]

Emirimu egy’okuyimba

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 1991, bwe yali akyali muyizi mu Wairaka College e Jinja, yatandika olugendo lwe olw’okuyimba ng’omuyimbi wa Rap mu Drama Club.[2] Okuva mu makkati g’emyaka gya 1990, yayimba mu bifo ebinene mu Kampala ne Jinja, omuli Fairway Hotel, Lugogo Indoor Stadium, ne mu mabaala eg’enjawulo agamanyikiddwa ennyo.[4] Alubaamu ye eyasooka gye yatuuma Watoto, yafuluma mu myaka gya 2000 kyokka teyamanyika nnyo ekyamuleetera okuwummula eby'okuyimba n'assa essira ku misomo gye mu yunivasite y'e Makerere.[2][4] Oluvannyuma yafulumya ennyimba nga Brothers and Sisters, Love Is a Good Feeling, Fed Up, ne Uganda.[4]

Ennyimba z'eyayimba

[kyusa | kolera mu edit source]

Ezimu ku nnyimba ze:[5][6][7]

  • Wololo
  • Love Is a Good Feeling
  • Zinunula
  • Night and Day (feat. Moots)
  • Rumours
  • Kukiriza
  • Uganda
  • Fed Up
  • Nimechoka / Nimekyoka
  • Kapere (with Bebe Cool)
  • Genius
  • Abakunyoma
  • Brothers and Sisters
  • Busu
  • Byebogede Bingi
  • Ebigambo
  • Fade Up
  • Imagine (with Peter Miles)
  • Move Your Body
  • Teri Amanyi
  • Uganda Ne Mikwano

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Reporter, Vision. "Still upcoming? Musically amazing, but what's not happening?". New Vision. Retrieved 2026-02-25.
  2. 1 2 3 4 "Kid Fox". Music In Africa (in Lungereza). 2015-06-11. Retrieved 2026-02-25.
  3. 1 2 3 Reporter, Vision. "Kid Fox in live concert". New Vision. Retrieved 2026-02-25.
  4. 1 2 3 Platform, Ugmuziki Online Audio Streaming (2025-03-18). "Kid Fox Biography, His Music Profile, Age, Education, Wife, Real Name, Net Worth - ugmuziki.com". Ugmuziki Online Audio Streaming Platform (in Lungereza). Retrieved 2026-02-25.
  5. Reporter, Vision. "‘Zinunula’ throws Kid Fox in limelight". New Vision. Retrieved 2026-02-25.
  6. "Best of Kid Fox by Kid Fox stats and listeners – volt.fm". volt.fm (in Lungereza). Retrieved 2026-02-25.
  7. "Kid Fox - All Songs, A to Z". www.nowviba.com. Retrieved 2026-02-25.