Jump to content

Kiggala owa Buganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox royaltyKiggala Sewannaku Mukaabya Kasungubu (yafa 1494) yali Kabaka w'Obwakabaka bwa Buganda . Yalamula okuva mu 1434 okutuuka mu 1464 n'okuva mu 1484 okutuuka mu 1494. Yali Kabaka wa Buganda ow'okutaano .

Okutuuzibwa ku ntebe y’obwakabaka

[kyusa | kolera mu edit source]

Ye yali mutabani wa Kabaka Ttembo omukulu ne mukyala we Najjemba. Yatuula ku ntebe nga kitaawe agye omukono mu ngabo mu mwaka gwa 1434. Yatandikawo ekibuga ekikulu kye ku lusozi Kitala. Mu 1464, yalekulira okuva mu ntebe n’agilekera mutabani we, Ntege Kiyimba . Kiggala yadda ku ntebe oluvannyuma lw’okufa kwa mutabani we mu mwaka gwa 1484. Yaziba amaaso nga wayiseewo akaseera katono ng'obukulembeze bwe obw’okubiri bwakatandika . Yafuga wansi w'obukulembeze bw'aba ssaabaminisita . [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (August 2020)">okujuliza kwetaagisa</span> ]

Obulamu bwe obw’obufumbo

[kyusa | kolera mu edit source]

Yawasa abakyala mukaaga nga bwe kirambikiddwa wansi:[1]

  1. Nabukalu Nabuto muwala wa Natiigo, ow’ekika ky’e Lugave
  2. Nakawuka muwala wa Senfuma ow'ekika kya Mamba
  3. Nakimera muwala wa Masembe ow’ekika ky’e Nsenene
  4. Nakku muwala wa Walusimbi, ow'ekika kya Ffumbe
  5. Nakyobula muwala wa Mbajja ow’ekika kya Mamba
  6. Nawampamba muwala wa Ggunju, ow’ekika kya Butiko

Ensonga endala

[kyusa | kolera mu edit source]

  Kabaka Kiggala yazaala abaana mwenda ab’obulenzi:

  • Omulangira Wasswa, nga nnyina yali Omumbejja Nazibanja
  • Omulangira Mawempe, nga nnyina yali Omumbejja Nazibanja
  • Omulangira Semugalwa, nga nnyina yali Mumbejja Nazibanja
  • Omulangira Bubula, nga nnyina yali Omumbejja Nazibanja
  • Omulangira Kaggya, nga nnyina yali Omumbejja Nazibanja
  • Kabaka Kiyimba Ntege, Kabaka wa Buganda, nga nnyina yali Nabukalu
  • Omulangira Gogombe, nga nnyina yali Nakyobula
  • Omulangira Kaasameeme, nga nnyina yali Nakawuka
  • Omulangira Wampamba, nga nnyina yali Nawampamba. Yaggyibwa ku by'obusika lwa mawano geyakola bweyayagalana ne ssenga we. Omulangira Wampamba yawasa abakyala babiri (a) Lady Nakayima muwala wa kojja we Gunju, ow’ekika ky’e Butiko ne (b) Lady Naabagereka, ssenga era omusawo eri mukyala we eyasooka, mwannyina wa Gunju, ow’ekika ky’e Butiko. Yazaala abaana babiri ab’obulenzi:
    • Kabaka Kayima Sendikaddiwa, Kabaka wa Buganda ow’omusanvu, nga nnyina yali Nakayima ne...
    • Omulangira Kyabayinze, nga nnyina yali Naabagereka. Omulangira Kyabayinze yazaala omwana omu ow’obulenzi:
      • Omulangira Juma eyavuganya ku lw'obusika ne kizibwe we, Kabaka Nakibinge n'atafuna buwanguzi .

Emyaka gye egy'asembayo

[kyusa | kolera mu edit source]

Kabaka Kiggala Mukaabya Sewannaku Kasungubu yaseerera mu 1494 ku myaka emikulu ddala era y'asikizibwa muzzukulu we Kayima Sendikaddiwa ku ntebe . Enjole ye y'aterekebwa mu kibuga ekikulu Manjja era akawanga ke ne bakaziika e Ddambwe mu Busiro.

Emmeeza eraga okusikira Nnamulondo

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-endTemplate:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Kaggwa, Apollo; Kalibala, Ernest B. (1934). The Customs of the Baganda. pp. 20–21.

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]