Kikalayi
Kikalayi mmere ya Uganda ennansi mu buwangwa bw'okufumba mu ggwanga naddala mu bantu abaagala ennyo ennyama y'embizzi . [1]
Obuvo n’omugaso gwayo ogw’Obuwangwa
[kyusa | kolera mu edit source]Erinnya "Kikalayi" liva ku kkalaayi engazi ezikozesebwa mu kugiteekateeka. Ekkalaayi zino ebiseera ebisingza zikolebwa mu byuma ebiwangaala era nga zimanyiddwa olw’obusobozi bwazo okugabanya ebbugumu ekyenkanyi, okukakasa nti ennyama y’embizzi efumbibwa bulungi. [2] Ekikalaayi kino okusinga kisangibwa mu bitundu by'amukibuga ebya Uganda n'ebifo eby'obusuubuzi, ng'amatundiro g'ennyama y'embizzi, bye bifo ebimanyiddwa abantu mwe bakuŋŋaanira. [3] Okulya ennyama y’embizzi mu Uganda kwali kukoma mu bitundu ebimu olw’ensonga z’obuwangwa n’eddiini, naye oluvannyuma lw'ekiseera, efunye okukkirizibwa okunene, nga ekikalayi ky'ekisonga okwettanirwa. [4] [5] [6]
Obukodyo bw'okufumba Ekikalayi
[kyusa | kolera mu edit source]Omutendera ogusooka guba gwa kusala nnyama y’ambizzi mu bifi ebimala mu bunene, okujja amasavu ku nnyama. Oluvannyuma ennya,ma enjere n'amasavu biteekebwa mu kkalaayi ennene oba mu sseffuliya ku muliro omusaamusaamu okusobola okusaanuusa amasavu . Omutendera guno mukulu nnyo, kubanga amasavu galeeta butto amala eyeetaagisa okusiika, ekijjawo obwetaavu bw’okwongera ku butto. Amasavu bwe gamala okusaanuuka gonna nga n'ennyama enjere emyuse, butto atoolwako omu naateekebwa ebbali, ne musigalamu mutono mu kkalaayi. Ekiddako, ebifi by’ennyama y'embizzi biteekebwa mu kkalaayi ne bisiikibwa mu butto oyo ku muliro omusaamusaamu. [7] Eba erina okutabulwa obutasalako okukakasa nti efuuka ya kitaka era kiziyiza okusiriira. Ennyama eno efumbibwa okutuusa lw’emyuka yonna ku ngulu nnungi nnyo munda. [8] Enjawulo ezimu mu nfumba mulimu okusiika ennyama y’embizzi n'omunnyo, black pepper, ne katunguluccumu nga tonnasiika oba ng’ogisiika okusobola okwongera ku buwoomi bwayo. Mu nfumba ezimu, ebirungo ebirala ng’obutungulu, ennyanya, ne green pepper biteekebwamu nga oli anaatera okumaliriza okufumba ne byongera enjawulo entonotono mu nnyama. Wabula enfumba ennansi yyo nnyangu kuuba essira liteekeddwa ku buwoomi obw’omu butonde obw’ennyama y’embizzi efumbiddwa obulungi. [9]
Ebirungo
[kyusa | kolera mu edit source]Eno y'enkola enzijuvu ey’okuteekateeka ekikalaati kino awaka. [10] [9]
- Pawundi 2 (nga kkiro emu) ez’ennyama y’embizzi ng’eriko ennyama enjere n’amasavu
- Omunnyo ne black pepper okuwoomesa
- Ennyaanya ennene 4, ezisaliddwa obulungi
- Obutungulu 2 obunene, obutemeddwa obulungi
- Carrots 2 ezikubiddwa
- Ekitundu ky'emboga entono, esaliddwamu
- Katunguluccumu, nga asaliddwa bulungi
- 1 green bell pepper 1 nga asaliddwa bulungi
- 2 Obummonde obuzungu, nga busaliddwamu ebitemeddwa (si ky'abuwaze) .
- Obunzaali okwongera ku buwoomi (si ky'abuawaze) .
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.ilri.org/news/improving-food-safety-uganda-piloting-nudge-theory-change-risky-practices-amongst-ugandas-pork
- ↑ https://ugandasafariexperts.com/local-ugandan-food/
- ↑ https://peopleimeetandfoodtheyeat.com/2018/07/17/ugandan-fried-pork-with-all-the-trimmings/
- ↑ https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC10239858
- ↑ https://www.smithsonianmag.com/smart-news/people-ate-pork-middle-east-until-1000-bcwhat-changed-180954614/
- ↑ https://medium.com/teatime-history/how-did-the-pork-taboo-originate-2d7009bfad70
- ↑ https://www.purposejewelry.org/blogs/recipes/kikalayi-pork-kampala-sanctuary-recipe?srsltid=AfmBOordvBRjVKNqRKmlj7-3B0YAdX3I3hijSGo51BK6enwwMZLzDASe
- ↑ https://globalindiannetwork.com/how-to-make-kikalayi-pork-at-home/
- 1 2 https://globalindiannetwork.com/how-to-make-kikalayi-pork-at-home/
- ↑ https://www.purposejewelry.org/blogs/recipes?srsltid=AfmBOoqb5bqrCCwDBQbFtb_xOrq5N7rdEYE2XVnVB9JPkWLCcJVDEe2_