Jump to content

Kimbugwe owa Buganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox monarchKimbugwe Kamegere yali Kabaka w’Obwakabaka bwa Buganda wakati wa 1634 ne 1644. Yali Kabaka wa Buganda ow’ekkuminabasatu. Ajjukirwa nga kabaka omulungi. [1]

Okutuuzibwa ku ntebe y’obwakabaka

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa Kongojje, mutabani wa Kabaka Suuna I Kisolo omuto wakati wa 1584 ne 1614. Maama we yali Naluggwa ow’ekika ky’e Ndiga ng'ono ye yali mukyala wa kitaawe owookubiri. Yalinnya ku Nnamulondo oluvannyuma lw’okuseerera (kufa) kwa kizibwe we, Kabaka Sekamaanya . Olubiri lwe yaluzimba Bugwaanya.

Obulamu bwe obw’obufumbo

[kyusa | kolera mu edit source]

Yalina abakyala basatu:

  • Nakamyuuka muwala wa Mukusu ow'ekika ky'e Mpindi
  • Nakunja muwala wa Sekayiba ow'ekika kya Mbogo
  • Nabakyaala Nabuuso, Naabagareka, muwala wa Gunju, ow’ekika ky’e Butiko era nnamwandu w’eyamusooka ku Nnamulondo, Kabaka Sekamaanya Kisolo, Kabaka wa Buganda, ey'alamula wakati wa 1614 ne 1634.

Ensonga endala

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaala abaana ab’obulenzi babiri mu mukyala we eyasooka Nakamyuuka:

  • Omulangira Kamyuuka
  • Omulangira Baleke

Emyaka gye egy'oluvanyuma

[kyusa | kolera mu edit source]

Kigambibwa mbu yattibwa amagolo ag'abasamize agamusindikibwa mutabani we muggyananyina Omulangira Kateregga, eyamusikira ku Nnamulondo mu mwaka gwa 1644. Aterekeddwa (aziikiddwa) e Bugwaanya mu Busiro. [2]

Engeri ba Kabaka gye bazze b'eddiringana

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Kaggwa, Apollo; Kalibala, Ernest B. (1934). The Customs of the Baganda. p. 26.
  2. https://web.archive.org/web/20130615070042/http://www.buganda.com/kings.htm

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]