Jump to content

Kintu Florence

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Kintu Florence era amanyiddwa nga Kintu Florence Tumwine yazaalibwa 3 Ogwokuna 1960 Munnayuganda era munnabyabufuzi. Yali MP omukyala mu akiikirira ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement mu Paalamenti ya Uganda owa Disitulikiti y'e Kalungu .

Obulamu bwe nga tannayingira by'abufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Kintu yaweerezaako nga ssentebe wa Disitulikiti y’e Kalungu nga tannaba kwegatta ku Paalamenti ng’omubaka waayo Omukyala era yalekulira eby'obufuzi mu 2016 ng'essira yaliteeka ku mirimu emirala. [1]

Obulamu bw’ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Yali omu ku baavuganya omunaana abaali balaze obwagazi okubeera mu kifo ky'omumyuka wa ssentebe w'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) mu kitundu ky'e Buggwanjuba. [2] Abamu ku bantu abaali balaze obwagazi kwaliko eyali omwogezi w’amagye Col (Rtd) Shaban Bantariza, Dr. Emmanuel Diini Kisembo, eyali omubaka wa Busongora ey'Obukiikaddyo, Boaz Kafunda n’abalala. [2] Yavuganya ne Matayo Kyaligonza mu kalulu ka NRM ku ani anakwata bbendera y'ekibiina ku kifo ky'omumyuka wa ssentebe oluvannyuma lw’okugyayo foomu z’okusunsulamu okuva mu ofiisi z’akakiiko k’ebyokulonda mu NRM nga 20 Ogwomusanvu 2020. [3] Mu Gwokusatu 2022, yakkirizibwa nga Ssentebe w’akakiiko ka Gavumenti ez’ebitundu n’abakozi ba gavumenti. [4]

Florence eyaliko minisita w’ekitongole ky’ebyobuwangwa ekya Obundhingiya Bwa Bwamba avunaanyizibwa ku by’obulambuzi n’enkolagana y’amakolero, yalekulira mu 2020 okussa essira ku kulwanirira emirembe mu bitundu by'e Rwenzori oluvannyuma lw’okuweereza nga Minisita w’ebyobuwangwa okumala emyaka esatu. [1] Kintu ebbaluwa ye ey’okulekulira yagiwandiikira ofiisi ya Ssabaminisita. [1]

Ye ssentebe w’ekitongole kya Rwenzori Women Peace Forum ng’okusinga essira kisinga kulissa ku Disitulikiti ez'akosebwa oluvanyuma lw'okulwanagana okwaliwo mu mawanga. [1]

Margaret Ntambaazi ne Janat Nassiwa bawaayo okwemulugunya ku Kintu mu kkooti enkulu. [5] Baali balumiriza nti Kintu teyalina satifikeeti z'abuyigirize eza siniya ey'okuna n'eyomukaaga. [5] Kyokka okusaba kwaabwe kwagobebwa omulamuzi Elizabeth Musoke ng’agamba nti tewali bujulizi bumala okulaga nti empapula za Kintu ez’obuyigirize zaali zijingirire. [5] Mu Kkooti enkulu, Caleb Alaka, Samuel Muyizzi, Ben Ikirai, ne Julius Galisonga be baakiikirira Ntambaazi ne Nassiwa, ate Geoffrey Kandeebe n’akiikirira Kintu n’akakiiko k'ebyokulonda . [5] Ntambaazi ne Nassiwa bewera okujulira nga bawakanya ensala eno. [5] Kyokka Kintu yalina ebisaanyizo byonna era nga asaanidde okulondebwa nga bwe kyasalirwa omulamuzi Elizabeth Musoke. [5]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/bwamba-tourism-minister-resigns-1868444
  2. 1 2 https://www.independent.co.ug/minister-baryomunsi-joins-race-for-nrm-vice-chairperson-western-region/
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2022-03-27. Retrieved 2025-09-20.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://ugandaradionetwork.com/a/archive.php?iKeyword=40442
  5. 1 2 3 4 5 6 https://www.newvision.co.ug/articledetails/1001124