Kirunda Kivejinja
Ali Kirunda Kivejinja (yazaalibwa nga 12 Ogwomukaaga 1935 – 19 Ogwekkumineebiri 2020), amanyiddwa ennyo nga Kirunda Kivejinja, yali munnabyabufuzi Munnayuganda era omuwabuzi omukulu owa Pulezidenti wa Uganda, Yoweri Museveni. Mu kiseera we yafiira yali Mumyuka wa Ssaabaminisita Owookubiri era Minisita owaaguno na guli mu Kabineti ya Uganda.[1]
Emabegako, yaliko Minisita w’obuyambi n’okuddaabiriza embeera z’abantu, ensonga z’omunda n’okubeera Omumyuka wa Ssaabaminisita wa Uganda.[2] Yalondebwa okuba Minisita w'ensonga z'omukago gwa East Africa nga 6 Ogwomukaaga 2016,[3] n'ava mu kifo ekyo nga 14 ogwekkumineebiri 2019.[4]
Yafa nga 19 Ogwekkumineebiri 2020 era nga kigambibwa nti okufa kwe kwava ku bulwadde bwa COVID-19 obwali buyitiridde nga kigambibwa nti yali amaze wiiki nga bbiri ng’alwanagana nabwo mu ddwaaliro lya Mulago Referral Hospital.[5]
Okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Ali Kirunda Kivejinja yasomera ku Kibuli Junior School ne Busoga College Mwiri mu Uganda n’oluvannyuma n’akola omusomo nga tannatuuka ku yunivasite mu Madras Christian College nga tannafuna diguli ya Bachelor of Science (Honours) mu by’ensolo ku Yunivasite y’e Delhi ku sikaala ya Gavumenti ya Buyindi. Bwe yali mu Buyindi yaliko omuwanika w’ekibiina ekigatta abayizi mu Afirika ekya African Students Association (ASA) ekyalimu mu bammemba baakyo Bingu wa Mutharika, John Malecela ne John Mataure.[6]
Omulimu gw’ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Ali Kiruda Kivejinja yakomawo mu Uganda mu 1962. Mu myaka gya 1960 yakola ng’omukunzi mu kibiina ky’ebyobufuzi ekya Uganda People’s Congress, ekibiina ky’ebyobufuzi ekyali kifuga mu kiseera ekyo. Okuva gavumenti ya Milton Obote eyookubiri lwe yawambibwa mu 1986, Kivejinja aweerezza mu bifo ebiwerako mu gavumenti ekulemberwa Pulezidenti Yoweri Museveni. Mu 1986, yalondebwa okuba Minisita w’obuyambi n’okuddaabiriza abantu.[6] Yaliko Omubaka wa Paalamenti ow'omu kitundu ky’e Bugweri. Okuva olwo abadde Minisita w’ensonga z’omunda era omumyuka wa Katikkiro wa Uganda owookusatu. Okuva mu Gwomunaana 2012 yafuulibwa omuwabuzi wa Pulezidenti omukulu ku nsonga z’omunda eri Pulezidenti Museveni.[7][8] Nga 6 Ogwomukaaga 2016, yalondebwa ng'omumyuka wa Ssaabaminisita ow'okubiri era Minisita w'ensonga z'obuvanjuba bwa Afirika mu Kkabineti empya eyalangirirwa ku lunaku olwo.[9]
Okufa kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Ali Kirunda Kivejinja yafa nga 19 Ogwekkumineebiri 2020, mu ddwaliro lya Mulago National referral Hospital mu Kampala Uganda ekirwadde kya COVID-19 mu kiseera ky'ekirwadde kya COVID-19 mu Uganda, okusinziira ku Pulezidenti Yoweri Museveni.[10]
Ebitabo bye
[kyusa | kolera mu edit source]Kivejinja ye muwandiisi w’ekitabo Uganda: The Crisis of Confidence, ekitabo ekikwata ku byafaayo by’ebyobufuzi bya Uganda.[11]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Museveni shuffles Cabinet, drops Muloni, appoints Magyezi". Monitor (in Lungereza). 14 December 2019. Retrieved 28 August 2022.
- ↑ Yolisigira, Yazid (22 August 2014). "Kivejinja Returns To Challenge MP Katuntu". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 5 February 2015.
- ↑ Uganda State House (6 June 2016). "Museveni's new cabinet list At 6 June 2016" (PDF). Daily Monitor. Kampala. Archived from the original (PDF) on 7 October 2016. Retrieved 13 June 2016.
- ↑ "Museveni shuffles Cabinet, drops Muloni, appoints Magyezi". Monitor (in Lungereza). 14 December 2019. Retrieved 28 August 2022.
- ↑ "Kivejinja succumbs to COVID-19". 19 December 2020.
- 1 2 "AbaiseMenhya Royal Clan of Busoga In Uganda: Kirunda Kivejinja". Abaisemenhya.tripod.com. 2010. Retrieved 5 February 2015.
- ↑ Matsiko, Haggai (18 August 2012). "Museveni Appoints New Envoys And Presidential Advisors". The Independent (Uganda). Archived from the original on 5 February 2015. Retrieved 5 February 2015.
- ↑ Semakula, John; Masaba, John (27 January 2013). "Coup Talk Real, Says Kivejinja". New Vision. Kampala. Retrieved 5 February 2015.
- ↑ Uganda State House (6 June 2016). "Uganda's New Cabinet As At 6 June 2016". Scribd.com. Retrieved 13 June 2016.
- ↑ "Minister Kivejinja succumbed to Covid-19 - Museveni". Monitor. 19 December 2020. Retrieved 20 December 2020.
- ↑ Kigambo, Gaaki (26 December 2014). "Kivejinja Tells of A Dramatic Past That Seems To Be Repeating Itself". The EastAfrican (Nairobi). Retrieved 5 February 2015.
Lua error: Invalid configuration file.