Kiryandongo General Hospital
Kiryandongo General Hospital, ddwaliro lya gavumenti mu mu bugwanjuba bwa Uganda . [1]
Ekifo
[kyusa | kolera mu edit source]Eddwaliro lino liri ku luguudo lwa Kampala – Gulu, mu muluuka gwe Kikube,mu gombolola ye Kiryandongo,mu ssaza lye Kibanda, mu Disitulikiti y’e Kiryandongo,Kilomita 50 (31 mi) obukiikakkono mu mambuka g’eddwaliro ekkulu erya Masindi, mu kibuga Masindi . [2] Kilimita 101 (63 mi), mu bukiikakkono bw’eddwaliro lya Hoima Referral Hospital, mu kibuga Hoima . [3]
Eddwaaliro ekkulu e Kiryandongo lisangibwa 209 kilometres (130 mi) northwest of Mulago National Referral Hospital, eddwaliro erisinga obunene mu ggwanga. [4]
Okutwaliza awamu
[kyusa | kolera mu edit source]Kiryandongo General Hospital lirina ebitanda 109,era nga lya gavumenti. Liweereza Disitulikiti y'e Kiryandongo n'ebitundu by'amagombolola okuli Masindi, Nakasongola, Oyam, Apac, Amuru, ne Nwoya . [5]
Okutandika mu Ogwekuminebiri ogwa 2013, gavumenti ya Uganda, ng’ekozesa looni okuva mu Banka y’ensi yonna, yatandika okuddaabiriza eddwaaliro lino ku ddoola za Amerika 5,654,229. Okuddaabiriza kwalimu bino wammanga: [5] 1. Webajanjabira abalwadde abava ewaka 2. Ekisenge ekipya eky’abalwadde abeetaaga obujanjabi abw’amangu (Eky’abalwadde abagudde ku kabenje) 3. Ebifo eby’okwoza engoye z’abalwadde 4. Ebifo eby’okufumbamu 5. Ekyuma ekipya mw’ebokyera kasasiro 6. Ebifo eby’okusuulamu kasasiro eby’obulabe 7. Ennyumba kkumi na bbiri ez’abakozi empya 8. Okukyusa endabirwamu ezimenyese mu madirisa n’enzigi 9. Ebinaabiro ey’omunda n’ey’ebweru 10. Kikyusa tulansifooma enkadde eya 50kVA n’ossaamu empya eya yuniti 500kVA 11. Okwongera ku bungi bwa amazzi obwa liita 144,000 (31,676 imp gal; 38,041 FFE gal) 12. Sima ekinnya ky’amazzi ekikozesa ppampu ky’amaany g’enjuba 13. Okulongoosa n’okuddaabiriza ppipa ez’omunda n’ez’ebweru. [5]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]1.Uganda Ministry of Health (2014). "Profile of Kiryandongo General Hospital" (PDF). Kampala: Uganda Ministry of Health. Archived from the original (PDF) on 6 February 2020. Retrieved 1 November 2020.
5. UMOH (4 May 2016). "Uganda Health System Strengthening Project (UHSSP)". Kampala: Uganda Ministry of Health (UMOH). Archived from the original on 10 July 2016. Retrieved 4 May 2016.
- ↑ Uganda Ministry of Health (2014). "Profile of Kiryandongo General Hospital" (PDF). Uganda Ministry of Health. Archived from the original (PDF) on 6 February 2020. Retrieved 1 November 2020.
- ↑ Template:Google maps
- ↑ Template:Google maps
- ↑ Template:Google maps
- 1 2 3 UMOH (4 May 2016). "Uganda Health System Strengthening Project (UHSSP)". Kampala: Uganda Ministry of Health (UMOH). Archived from the original on 10 July 2016. Retrieved 4 May 2016.