Jump to content

Kisiizi Hospital

Bisangiddwa ku Wikipedia
Wansi w’ekifu mulimu eddwaliro lya Kisiizi COU eriddukanya ekyuma ky’amasannyalaze ku mugga Rushuma ekiweereza amasanyalaze eri abantu b’omu kitundu wansi awo.

Kisiizi Hospital ddwaliro ly'abantu mu Uganda. Lirina enkwatagana n'e Kanisa ya Uganda. [1]

Werisinganibwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Eddwaliro lino lisinganibwa mu kibuga ky’e Kisiizi mu Disitulikiti y’e Rukungiri, mu kitundu ky’e Kigezi mu Bitundu By'Omubugwanjuba bwa Uganda. Kisiizi Hospita liri ku kiromita 43, nga ze mayiro 27 mu bukiikaddyo bwa Rukungiri, ewali ekitebe kya disitulikiti eno ekikulu. [2] Ekifo kino nakyo kiri nga kiromita 42, nga ze mayiro 26 mu bukiikakkono bwa Kabale, ekibuga ekisinga obunene mu kitundu ky’e Kigezi. Endagiriro ly'eddwaliro ng'okozesa bibalo ziri zino:00°59'53.0"S, 29°56'37.0"E (Latitude:-0.998056; Longitude:29.943611). [3]

Enkola y'emirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Eddwaaliro lino lya bwannannyini ekitali ku kigendererwa kyakukola magoba nga lirimu ebitanda 250 nga kw'oteeka n’ebitanda/ebifo ebikuumirwamu ew'enjawulo, webalabirira abaana ababeera bazaaliddwa. Eddwaliro lino ddwaliro lisasula ssente, wadde nga tewali muntu yenna agobwaayo singa abeera alemereddwa okusasula ssente. Ssente ezisoloozebwa okuva mu balwadde zikola ebitundu nga 40 ku 100 byokka ku nsaasaanya yonna ey’eddwaliro. Okwongera ku nsimbi ezo, eddwaaliro lino likola bizineensi endala eziwerako nga ssente zino zongerwa ku buvunaanyizibwa bw’eddwaliro mu by’ensimbi n’embeera z’abantu. Eddwaliro lino era lifuna obuyambi bw’abazirakisa okuva mu Uganda munda n’emitala w’amayanja. [1] [4]

Kisiizi Hospital lyatandikibwawo omuminsani John Sharp mu 1958 oluvannyuma ne litwalibwa Obulabirizi bwa Kigezi Ey'omubukiikakkono ey'e Kanisa ya Uganda. Amakampuni gano wamanga ga Kisiizi Hospital mu bujjuvu oba mu kitundu. Empeereza zino ziyamba okutuusa obulamu obw’enjawulo eri ekitundu, nga mungeri endala kiba kya kyalo nnyo era nga kyavu nnyo. [1] [4] [5] [6]

Kampuni zebakolagana nazo

[kyusa | kolera mu edit source]

Ekitongole ekisooka kyebakolagana nakyo ye Kisiizi Hospital Primary School, esomero lya pulayimale erisomesa abalenzi n'abawala, nga lisuza n'okubeera n'abaana abava ebweru, nga liyingiza abayizi okuva mu bakozi b’eddwaliro n’abantu b’omu kitundu, nga lirimu abayizi 403, n’abasomesa 13, wetwatukira mu Gwomunaana 2018. [5]

Kampuni ey'okubiri ye Kisiizi Hospital School of Nursing. Etendekero lino lisomesa, nga lyatandikibwaawo mu 1998 nga liyigiriza abayamba ku basawo wamu n’abazaalisa. Omugatte lirina abayizi nga 200. [6]

Kampuni ey'okusatu ye Kisiizi Hospital Power Limited, nnannyini oba adukanya ebibiro ly’amasannyalaze e Kisiizi, erya 300 kirowatts (0.30 MW) pulojekiti y’amasannyalaze agakolebwa okuva mu mazzi agakozesebwa mu ddwaaliro n’ebitongole ebikolagana nabyo. Amasannyalaze agasukiridde gatundibwa mu kitundu, omuli bizineensi n’amayumba. [7]

Ow'okuna akolagana nabo ye Kisiizi Hospital Health Insurance Scheme. Enteekateeka eno, yakolera wamu n’ebibiina by’obwegassi ebitereka n’okuwola ssente (Saccos), mu kitundu. Aba sacco basolooza ssente z’eby'obulamu okuva mu bamemba baabwe, mwebava okusasula ssente z’eddwaliro olw’endwadde ezibeera zibaluma. Sibuli mbeera yonna nti erabirirwa, naye enkola eno ekuuma abalwadde okuva mu mbeera embi ey'eby'enfuna, obulwadde obwabuli kiseeranga n'eddwaliro lifuna okusasulwa okwengeri mukifo ky'okuviramu awo ng’omulwadde tali ssente nkalu. Webwatukira mu 2017 enteekateeka eno yalina abantu 38,400 abewandiisa. [8]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 Church of Uganda (April 2020). "Hospitals and Medical Bureau: Kisiizi Hospital". Church of Uganda. Archived from the original on 19 May 2023. Retrieved 27 April 2020.
  2. Template:Google maps
  3. Template:Google maps
  4. 1 2 "About Kisiizi Hospital". Kisiizi: Kisiizi Hospital. April 2020. Retrieved 27 April 2020.
  5. 1 2 Titus Kakembo (24 August 2017). "Sights & Sounds: A Journey Down South To Kisiizi". Retrieved 27 April 2020.
  6. 1 2 Kisiizi Hospital (April 2020). "Profile of Kisiizi Hospital School of Nursing". Kisiizi Hospital. Retrieved 27 April 2020.
  7. Kisiizi Hospital (April 2020). "About Kisiizi Hospital Power Limited". Kisiizi Hospital. Retrieved 27 April 2020.
  8. Sebastian Olikira Baine, Alex Kakama & Moses Mugume (2018). "Development of the Kisiizi hospital health insurance scheme: lessons learned and implications for universal health coverage". BMC Health Services Research. 18 (1): 455. doi:10.1186/s12913-018-3266-8. PMC 6003105. PMID 29903016.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]