Kiwanuka Sulaiman
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Yazaalibwa nga | 20 Gwamwenda(Mutunda) 1982 | |
| Gy'azaalwa | Mukono Disitulikiti | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza | |
| Omulimu | omusambi w′omupiira, munnabyabufuzi, legislator | |
| Ekifo ky'alimu | Omubaka wa Palamenti ya Uganda | |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | National Unity Platform | |
| Okwesiimbawo kwe mu kalulu | Akalulu ka Uganda aka 2026 | |
| Omuzannyo | omupiira ogw'ebigere | |
| Mmemba wa | 12th Parliament of Uganda | |
Kiwanuka Sulaiman munnabyabufuzi, musuubuzi era eyali omuzannyi w'omupiira gw'ensimbi Munnayuganda, eyazannyaako ng'omuteebi kiraabu ya Express FC ne Tooro United FC bweyali tannawummula mirimu gye olw'obuvune. Oluvannyuma yafuuka nnannyini ttiimu ya The Spartans FC.[1] Mutabani w’eyali addukanya emizannyo gy’emmotoka z'empaka, omugenzi Hajji Juma Nkambwe,[2] eyali abeera e Wanjeyo.
Ye mubaka mu Paalamenti akiikirira abantu b'e Nakifuma,[3][4][5]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Sulaiman yazaalibwa Hajji Juma Nkambwe ne Hajjat Hadijah Namatovu. Oluvannyuma lw’okuzaalibwa kwe, teyamala biseera bingi ne nnyina eyalina okuddayo okutwala emisomo gye mu maaso. Yasigala ne Jjajjaawe Nanfuka Walia eyabeeranga e Bweyogerere.[1]
Nnassale ye yagisomera ku Nursery Ku Muzikiti e Bweyogerere nga tannaba kwegatta ku Hassan Trabih okusoma pulayimale esooka okutuuka mu y'omusanvu. Ku kusoma kwe okwa siniya, yeegatta ku Bweyogerere Secondary School gye yasomera siniya esooka n'eyokubiri. Olw'okuba yali muzannyi wa mupiira, omutendesi we era omusomesa Kaddu Badru yatambulanga naye mu masomero asatu ag’enjawulo okuli Naggalama Islamic, Kasawo Secondary School n'oluvannyuma Namagabi Secondary School - Kayunga gye yatuulira Siniya ey'okuna. Yaddamu okwegatta ku ssomero lya Namagabi Secondary School, Kayunga n’afuna satifikeeti y’ebyenjigiriza mu siniya ey'omukaaga okuva ku mukulu w’essomero Yusuf Kinene era n’afuuka akulira ebyemizannyo mu kiseera ekyo.[1]
Yasoma Eby'enfuna okuva mu Yunivasite y'e Makerere .
Enzirukanya y'omupiira gw'ebigere
[kyusa | kolera mu edit source]Mu kiseera kye yamala ng'akulira The Spartans FC mu 2018, yafuna obutakkaanya n'ekitongole ekikulira omupiira mu ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations -( FUFA) ku ky’okuggya Isaac Ogwang okuva mu kiraabu ya SC Villa era ekyaviirako The Spartans FC okugobwa mu mpaka za FUFA.[6]
Ye mutandisi w'Ekibbiitu ky'Ebyemizannyo e Nakifuma, ekibeerawo ku nkomerero ya buli mwaka. Emizannyo mingi gibeerawo mu kiruubirirwa ky'okufuula Nakifuma "Brazil ya Uganda'.[7][8]
Mu Gwekkumineebiri 2021, Sulaiman yategeka ekivvulu kya Boxing Day eky’obwereere e Kimenyedde, mwe yassa ssente z’ebirabo obukadde 2 mu mizannyo egy’enjawulo ng’ebikonde, emisinde, okumeggana, amazina, okubaka, obugaali bw'empakka n’omupiira. Kyakungaanya abalabi okuva e Nagojje, Ntunda, Kimenyedde, Kasawo, Seeta, Kabimbiri, Namuganga, Naggalama ne Namataba. Kimenyedde Select FC mu mupiira yawangula The Spartans FC ggoolo 4-2 mu peneti oluvannyuma lw’okugwa amaliri ggoolo 1-1 mu ddakiika 90 ez'essalira. Baka Ocheng yateebera Kimenyedde Select ggoolo ey'ekyenkanyi mu ddakiika ezisembayo olw'okuba Emma Kalyowa yali yakulembezza dda The Spartans n'ewangula ekirabo kya kakadde 1.[9][10][11]
Obuvujjirizi ku masaza ga Buganda
[kyusa | kolera mu edit source]
Yafuulibwa omu ku kakiiko ka Masaza mu 2021 bwe yeegatta ku Ssaza Kyaggwe[12] era okuva olwo abadde muvujjirizi omutongole ow’empaka zonna.[13] Yasiimibwa ng’omu ku bantu abakulu mu kuwagira empaka z’amasaza.[14] Mu Masaza 2021, yassa mu Ssaza Kyaggwe doola 1900 bwe bukadde 6,650,000/= mu za Uganda wadde nga baawangulwa mu luzannya oluddirira oluddiirira olw'akamalirizo
Obulamu bw’ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Yali mu lw'okaano lw’okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Paalamenti owa Nakifuma mu 2021 ng’ayavuganya nga namunigina era naawangulwa Fred Ssimbwa eyali akwatidde National Unity Platform bendera. Kiwanuka yayambako mu kuzimba Poliisi y'e Kateete[15]
Pulojekiti z'ekitongole ki Friends of Kiwanuka
[kyusa | kolera mu edit source]Eby'obulimi n’obulunzi
Friends Of Kiwanuka Organization, kitongole kya bwannakyewa ekyatandikibwawo Omubaka Sulaiman Kiwanuka mu 2021 okuyamba ku Bannamukono. Ekitongole kino kiyambye mu kuwagira abalimi n’abalunzi, ensigo, ebikozesebwa n'ebirala. Mu Gwomwenda gwa 2022, amagombolola abiri mu kitundu ky'e Mukono, Nakifuma ne Namuganga, abalimi abasoba mu 100 baafuna ensigo za Kasooli nga zibalirirwamu obukadde bwa Uganda 10 okutumbula pulojekiti zaabwe ez’okulima.[16]
Enkulaakulana y’ebyemizannyo mu masomero Kasawo Secondary School, Kigayaza, Namagabi secondary school, Kayunga, Latifah Mixed Secondary School, Kabimba ge gamu ku masomero agaweebwa amaanyi nga gayita mu nsengeka z’ebyemizannyo.[17] Mu Gwokusatu 2022, Kasawo Secondary School lyafuna ensawo 50 eza Sementi n'omujoozi omupya ssaako akakadde ka ssente oluvannyuma lw'omupiira gw'omukwano ne The Spartans Fc.[18]
Ebituukiddwaako mu mizannyo
Mu 2021, Kiwanuka yawaayo doola 400 eri omuzannyi wa Uganda Fauzia Najjemba, munnakitone enzaalwa ya Nakifuma, ng’okumwebaza olw’okuwanika Nakifuma ku mutendera gw’Eggwanga. Fauzia yali azannyira mu Kampala Queens WFC mu liigi y'abakyala ey'ababinwera eya FUFA Women Super League. Kiwanuka Sulaiman yaluubirira okufuula Nakifuma "Brazil ya Uganda era mu kukola ekyo; yatumbula n'okuwa ebitone amaanyi okumanyika. Mu Gwokubiri 2024, yakyaza abaaliko bannakinku mu kusambira Uganda Cranes mu kisaawe kya Kikube e Nakifuma mu mupiira ogw'omukwano ne ttiimu ya Nakifuma Select Fc ogwalimu abamu ku bannabitone ba ttiimu y'eggwanga nga Tony Mawejje, Geofrey Massa, Yunus Sentamu, Joseph Kizito, Moses Waiswa n'abalala .
Ekizimbe ky'ebyemizannyo ekya Nsaji Sports Complex
Mu kiseera kino Kiwanuka azimba ekifo eky’ebyemizannyo ekyatandika mu 2022, wansi w’erinnya lya Nsangi Sports Complex, ekisangibwa e Nsaji, Nakifuma, nga kitudde ku ttaka eriweza yiika 7 nga ku zino kusuubirwa okukolebwako emizannyo egy'enjawulo ku mutendera gw’ensi yonna. Ekizimbe kya Nsaji Sports Complex kisuubirwa okuggulwawo mu mwaka gwa 2029.
Laba ne.
[kyusa | kolera mu edit source]- Bobi Wine
- Ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Unity Platform
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 "Sulaiman Kiwanuka: Spartans FC President Quits Football After Alleged FUFA Misconduct". ChimpReports (in American English). 9 February 2021. Retrieved 13 August 2024.
- ↑ "From Spartans, Kiwanuka Sula lands in Nakifuma". Monitor (in Lungereza). 30 January 2022. Retrieved 13 August 2024.
- ↑ "Ab'e Nakifuma omwaka bagumazeeko na byamizannyo". New Vision (in Lungereza). 31 December 2021. Retrieved 13 August 2024.
- ↑ Isabirye, David (9 December 2021). "Philanthropist Kiwanuka joins Kyaggwe funders' list, promises $100 per goal | Masaza Cup 2021". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 13 August 2024.
- ↑ Isabirye, David (3 February 2022). "Kiwanuka extends philanthropism to women football in Nakifuma sub-county". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 13 August 2024.
- ↑ "Fufa unfair on smaller clubs - Spartans owner". Monitor (in Lungereza). 10 February 2021. Retrieved 15 August 2024.
- ↑ Isabirye, David (1 January 2022). "Kiwanuka's Ekibbiitu Ky'ebyemizannyo at Namanoga Seeta Namuganga ushers 2022 in style | Sports Bonanza". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 13 August 2024.
- ↑ Isabirye, David (30 December 2021). "Kiwanuka's sheer love for sports development in Nakifuma expounds in Kimenyedde sub-county". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 27 September 2024.
- ↑ "Kiwanuka Continues to Better Livelihoods Through Sport". ChimpReports (in American English). 28 December 2021. Retrieved 15 August 2024.
- ↑ Isabirye, David (1 January 2022). "Kiwanuka's Ekibbiitu Ky'ebyemizannyo at Namanoga Seeta Namuganga ushers 2022 in style | Sports Bonanza". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 27 September 2024.
- ↑ "Ssimbwa Silent as Kiwanuka Sulaiman Slowly Winning Hearts of Nakifuma County Electorates | Voice of Bugerere" (in American English). 2021-12-28. Retrieved 2024-11-21.
- ↑ "Kyaggwe Ssaza Receives Financial Boost as Bulange Group Enters Njeru". ChimpReports (in American English). 8 December 2021. Retrieved 13 August 2024.
- ↑ "Masaza Cup: Kyaggwe Reach Quarters, Receive USD 900 in Bonuses". ChimpReports (in American English). 13 December 2021. Retrieved 13 August 2024.
- ↑ "Former Uganda Cranes Stars Hassan Wasswa, Tonny Mawejje to feature against Sulaiman Kiwanuka's Nakifuma Select". Swift Sports Uganda (in American English). 24 February 2024. Archived from the original on 12 November 2025. Retrieved 15 August 2024.
- ↑ "Nakifuma residents build police post to fight crime". Monitor (in Lungereza). 11 January 2022. Retrieved 13 August 2024.
- ↑ "Abalimi e Nakifuma baweereddwa ensigo za kasooli n'ebijanjaalo okulwanyisa enjala". New Vision (in Lungereza). 13 September 2022. Retrieved 15 August 2024.
- ↑ Isabirye, David (3 February 2022). "Kiwanuka extends philanthropism to women football in Nakifuma sub-county". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 27 September 2024.
- ↑ Isabirye, David (22 March 2022). "Kasawo S.S receive boost from Kiwanuka prior to knock out stages | 2022 Mukono District Schools Football Qualifiers". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 15 August 2024.
- CS1 American English-language sources (en-us)
- CS1 Lungereza-language sources (en)
- Abantu abalamu
- Abaazaalibwa mu 1982
- Abantu abava mu Disitulikiti y'e Mukono
- Bannayuganda abasajja bannabyamizannyo ab'ekyasa ky'amakumi abiri mwekimu
- Bannayuganda abasuubuzi ab'ekyasa ky'amakumi abiri mwekimu
- Bannayuganda bannabyabufuzi ab'ekyasa ky'amakumi abiri mwekimu
- Abaasomera ku Yunivasite y'e Makerere
- Bannayuganda abasajja abazannyi b'omupiira
- Ekibiina ky'abasajja abazannyi b'omupiira abalumbi
- Bannayuganda bannabyamizannyo -bannabyabufuzi