Jump to content

Kiweewa owa Buganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox monarchMutebi Nnyonyintono Kiweewa yali Kabaka ow’omulundi ogwa 32 mu Bwakabaka bwa Buganda okuva nga 2 Ogwomunaana 1888 okutuuka nga 21 Ogwekkumi 1888.

Okutuuzibwa ku Namulondo

[kyusa | kolera mu edit source]

  Yazaalibwa Nakatema nga 1856 tannatuuka, omutabani omukulu owa Kabaka Mukaabya Walugembe Mutesa I Kayiira, Kabaka wa Buganda, eyafugira wakati wa 1856 ne 1884. Nnyina yali Kiribakka ow’ekika ky'e Mamba. Yalinnya ku Nnamulondo oluvannyuma lwa muto we Kabaka Mwanga II lw’okuwangulwa amagye g'abayeekera Abaganda ag'egatta n'Abakristaayo, Abasiraamu n’abayeekera. Okuwangulwa kwa Mwanga II kwaliwo nga 2 Ogwomunaana 1888. Kiweewa n'atikkirwa engule nga 11 Ogwomwenda 1888. Yakola Olubiri lwe ku lusozi Mengo .

Obulamu bwe obw’obufumbo

[kyusa | kolera mu edit source]

Kiri mu biwandiiko nti yawasa abakyala abiri (20) :

  1. Omukyala Bukirwa Nassaza
  2. Nnyabo Butema
  3. Nnyabo Kajja
  4. Omukyala Lozaliya
  5. Omukyala Luleba, Omusenero
  6. Nnyabo Namubiru
  7. Nnyabo Balirwa
  8. Omukyala Namuli, Omufumbiro
  9. Naabakyaala Namusoke, Kaddulubaale
  10. Nnyabo Nambajjwe
  11. Omukyala Nambi I
  12. Nnyabo Nambi II
  13. Omukyala Nambi III
  14. Omukyala Tebalyayeebwa, Omulindamazzi
  15. Omukyala Teyansigira
  16. Omukyala Lwandeeta
  17. Naabakyaala Zandaba, Namasole, eyali Kaddulubaale
  18. Naabakyaala Mbagumidde, Kabejja
  19. Nnyabo Bwangu
  20. Nnyabo Sabaddu

Ensonga endala

[kyusa | kolera mu edit source]

  Yazaala abaana 23, ng'abaana 21 balenzi n’abawala babiri:

  1. Omulangira Kiweewa Ssimbwa nga nnyina yali Lady Butema
  2. Omulangira Walulyo I, nga nnyina yali Lady Butema
  3. Omulangira Kibuuka, nga nnyina yali Lady Kajja
  4. Omulangira Nabadda, nga nnyina yali Lady Lozaliya
  5. Omulangira Muyinda, nga nnyina yali Lady Luleba, Omusenero
  6. Omulangira Agustin [Gusito] Tebandeke, nga nnyina yali Lady Namubiru. Yasomera mu ttendekero lya Namilyango College .
  7. Omulangira Lulaba, nga nnyina yali Lady Namuli
  8. Omulangira Kagunya, nga nnyina yali Lady Namuli
  9. Omulangira Lukongwa, Ssaabalangira (Omulangira Omukulu), nga nnyina yali Lady Namusoke
  10. Omulangira Kiwanuka, nga nnyina yali Lady Namusoke
  11. Omulangira Walulyo II, nga nnyina yali Lady Namusoke
  12. Omulangira Kalubagwiire, nga nnyina yali Lady Nambajjwe
  13. Omulangira Sekamaanya, nga nnyina yali Lady Nambi I
  14. Omulangira Namulinzi I, nga nnyina yali Lady Nambi II
  15. Omulangira Mwanga, nga nnyina yali Lady Nambi III
  16. Omulangira Chwa, nga nnyina yali Tebalyayeebwa
  17. Omulangira Ngenza, nga nnyina yali Tebalyayeebwa
  18. Omulangira Namulinzi II, nga nnyina yali Teyansigira
  19. Omulangira Namika, nga nnyina yali Lady Lwandeeta
  20. Omulangira Musisi, nga nnyina yali Lwandeeta
  21. Omulangira Nasuswa, nga nnyina yali Lady Zandaba
  22. Omumbejja Hana Mazzi, nga nnyina yali Balirwa
  23. Omumbejja Agaati Kagere, nga nnyina Tebalyayeebwa

Obukulembeze bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

  Kabaka Kiweewa Nnyonyintono ye yafugira akaseera akatono ennyo mu byafaayo bya Buganda. Yali Kabaka okumala wiiki mukaaga; oluvannyuma lw’okutikkirwa engule, yamala ennaku amakumi ana zokka ku Nnamulondo. Obukulembeze bwe bwalimu obutakkaanya n’obujeemu mu bammemba b’olubiri lw’obwakabaka, enkwe mu magye g’Abasiraamu Abawalabu n’Abakristaayo agaali gawagira ebiwayi ebyali birwanagana.

Abamu ku bakozi abakulu mu kiseera ky’obukulembeze bwe kuliko; [1]

Erinnya Ekifo Okuvvuunula
Ow'ekitiibwa Nyonyintono Katikiro Katikkiro
Ali Bukulu Kimbugwe Minisita owookubiri
Ow'ekitiibwa Nyonyintono Sekibobo Gavana wa Kyaggwe
Apollo Kaggwa Mukwenda Gavana wa Singo
Muguluma Pokino Gavana wa Buddu
Kapalaga Kaggo Gavana wa Kyadondo
Gaburieli Kintu Kangao Gavana wa Bulemezi
Luganga Omujasi Akulira Ekitongole Ekijasi
Samuel Mukasa Omuwanika Akulira Ekitongole Ggwanika

Ennongoosereza Kiweewa ze yakola mwalimu okuggyawo envumbo ku busuubuzi bw’Abawalabu ne Bunyoro, kw’ossa n’okukendeeza ku misolo egyali gigerekeddwa ku by’amaguzi ebifulumizibwa ebweru n’okuyingiza mu ggwanga. y'eyama okusasula ebbanja ly’amasanga Mwanga lye yali abanjibwa abasuubuzi Abawalabu. [2] Mu lukiiko lwe yatuuza n’abaminsani b’Abazungu n’Abasiraamu, Kiweewa yasuubiza okuzimbira Abasiraamu omuzikiti. Kyokka okulangirira kwe nti tewali n’omu ku bantu be eyalina okuyingirira ensonga z’eddiini ye eyali awulirwa, era ekibiina ky’Abasiraamu bwe kyafuna obuyinza b'amulemerako okukomolebwa n’okukyuka okudda mu nzikiriza yaabwe.

Ennaku ze ez'oluvannyuma

[kyusa | kolera mu edit source]

Yagobwa amagye g’Abasiraamu aga muganda we Kabaka Kalema, eyafugira okuva nga 21 Ogwekkumi 1888 okutuuka nga 5 Ogwekkumi 1889. Yakwatibwa n’asuulibwa mu kkomera. Yattibwa mu kkomera abasiraamu abaali bamuwamba mu Gwomusanvu 1889. Yaziikibwa e Masanafu, Kyaddondo. [3]

"Okufaananako Vitellius, emyaka lunaana emabega, yali tayagalangako kufuga, era nga Vitellius naye bwe yalaba nga bamaliridde okumutta, yalaajana mu bulumi eri abatemu be obutatta musajja oyo nga bamaze okubafuula omufuzi."

  • Sir John M. Gray, "Omwaka gwa Bassekabaka abasatu aba Buganda", 1950 [4]

"Kiweewa y'ennyini yali musajja muwanvu, mutontono, ng'alina olususu oluddugavu ennyo nga luliko enkovu z'annamusuna. Yali akuze bulungi mu myaka, nga talina ky'ayagala nnyo mu byobufuzi era nga talina kisaanyizo kyonna eky'obukulembeze. Ekirungi kyokka ekyali alina gwe mutima mulungi naye nga musirise."

  • MSM Kiwanuka, "Kabaka Mwanga n'ebibiina bye eby'obufuzi", 1969 [5]

"Bwe yalinnya ku ntebe Kiweewa yalina endowooza nti y'agenda okubeera n'obuyinza obusukkulumye ku ttaka nga bajjajaabe bwe baali. Naye mu bbanga ttono Kiweewa yakizuula nti yali tasukka ddole y'okuzanyisa mu mikono gy'abataka ne baminisita."

  • A. Mutyaba, Ensonga y’Abasiraamu mu Uganda, 1840-1900 [6]

Enger Bakabaka gye bazze b'eddiringana

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. R.P. Ashe, Two Kings of Uganda, 1890, pp. 262
  2. Sir John M. Gray, "The Year of the Three Kings of Buganda,: The Uganda Journal, Vol.14, No.1, 1950, pp.15-53
  3. https://web.archive.org/web/20130615070042/http://www.buganda.com/kings.htm
  4. Gray, J. M. (1950). The Year of the Three Kings of Buganda. Uganda Journal, 14, 15-52.
  5. Kiwanuka, MSM, Kabaka Mwanga and his Political Parties, Uganda Journal, 33, 1 (1969).
  6. Mutyaba, A., The Muslim Factor in Uganda, 1840-1900, page 41.

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:Kabaka of Buganda