Kizito Keziron
Kizito Keziron (yazaalibwa nga 17 omwezi Ogwolubereberye mu mwaka gwa 1997) muzannyi wa mupiira omukugu era Munnayuganda, azannya nga omuzannyi w'omu makkati mu kiraabu ya Zambia Super League ZESCO United ne ttiimu y'eggwanga lya Uganda.[1] Mu mwaka gwa 2015, Keziron yali omu kubazannyi abasajja abaasunsulwamu okuvuganya ku ngule y'omuzannyi w'omwaka eya FUFA Airtel.
Emirimu gye mubuvubuka bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Ku myaka gye emito, Kizito yali mmemba wa St. Mary's Kitende gye yali mu ttiimu eyawangula ekikopo kya Copa Coca-Cola mu mwaka gwa 2013 e Kabale . Oluvannyuma yeegatta ku KJT Rweshama gye yazannyira sizoni emu mu mwaka gwa 2013/14.[2]
Emirimu gye mu kiraabu
[kyusa | kolera mu edit source]Vipers
[kyusa | kolera mu edit source]Yasooka kuzannyira mu Vipers SC mu mwezi Ogwomwenda mu mwaka gwa 2014 nga battunka ne Entebbe FC era mu mupiira gwe gumu n’ateeba ggoolo ye esooka. Kizito yakola asisiti 14 bwe yalambika Vipers okutuuka ku kitiibwa kya liigi ng’azannya omulundi gwe ogusoose mu Liigi y’oku ntikko (sizoni ya 2014/2015). Kizito yali muzannyi wa maanyi mu makkati ga Vipers SC bwe yafuna ekikopo kya liigi eyookubiri mu byafaayo bya kiraabu eno. Ng’akola sizoni ye ey’olubereberye mu kibinja eky’oku ntikko, nga Kizito ayita wakati mu ppaaka yasanga bangi ku bavuganya naye nga tebamanya.[3]
AFC Leopards
[kyusa | kolera mu edit source]Mu mwezi Ogwomukaaga mu mwaka gwa 2017, Kizito yeegatta ku ttiimu ya Kenya eya AFC Leopards ng’omuzannyi ow’eddembe okuva mu Vipers SC n’akola endagaano nabo yamyaka ebiri.[4] Yasooka kuzannya nga 27 omwezi Ogwomusanvu mu mwaka gwa 2017 nga bazannya ne Bidco United.[5] Keziron yava ku katebbe n’ateeba ggoolo ye esoose nga AFC Leopards ekubye Bidco United ggoolo 2-1 mu lawundi ya 16 eya GOtv Cup mu kisaawe kya Thika Municipal Stadium.[6]
Kerala Blasters
[kyusa | kolera mu edit source]Yasooka kuzannya mu Blasters nga 4 omwezi Ogwolubereberye mu mwaka gwa 2018 nga battunka ne FC Pune City ng’ajja ng’omuzannyi adda mbigere bya Dimitar Berbatov mu ddakiika ey’e 46. Sizoni yonna teyasobola kuzannya kuba yafunna obuvune wakati mu sizoni ya 2017–18. Yagenda mu maaso n’okuzannya ne Blasters mu sizoni ya 2018-19 nayo.[7]
KCCA
[kyusa | kolera mu edit source]Mu mwezi Ogwomwenda mu mwaka gwa 2019 yeegatta ku KCCA FC n’akola endagaano ya myaka 2.[8] Nga 2 omwezi Ogwekkumi mu mwaka gwa 2019, yasooka mu KCCA FC nga battunka ne Tooro FC.[9]
Emipiira gyazanyidde tiimu y'eggwanga
[kyusa | kolera mu edit source]Kizito yasooka mu ttiimu y'eggwanga lya Uganda nga 9 omwezi Ogwekkuminoogumu mu mwaka gwa 2014 mu kisaawe kya Mandela nga bazannya ne Ethiopia.[10] Yateeba ggoolo y'eyasooka mu ttiimu y'eggwanga lya Uganda nga 4 omwezi Ogwomusanvu mu mwaka gwa 2015 nga bazannya ne Tanzania mu CHAN 2016 Preliminary Round.[11] Yali kitundu ku ttiimu y'eggwanga eya Cranes eyawangula ekikopo kya CECAFA Cup 2015 e Ethiopia.[12] Era yali mmemba wa ttiimu y'eggwanga eyazannya mu mpaka za CHAN 2016 ezaali e Rwanda.[13]
| Uganda | ||
|---|---|---|
| Omwaka | Apps | Ggoolo |
| 2014 | 1 | 0 |
| 2015 | 11 | 1 |
| 2016 | 5 | 0 |
| Okugatta | 17 | 1 |
Ebibalo bituufu okuva ku mupiira ogwazannyibwa nga 4 omwezi Ogwomukaaga mu mwaka gwa 2016[14]
Ggoolo z'eggwanga lye
[kyusa | kolera mu edit source]- Obukodyo n'ebyava mu kulonda ggoolo ya Uganda eyasoose.[15]
| No | Olunaku | Ekifo | Avuganya | Okuteeba | Alizaati | Empaka |
|---|---|---|---|---|---|---|
| 1. | 4 Jjulaayi 2015 | Ekisaawe kya Nakivubo, Kampala, Uganda | Tanzania | 1 –1 | 1–1 | 2016 African Nations Championship qualification |
Ebibalo by’emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]| Sizoni | Liigi | Ekikopo | Okugatta | ||||
|---|---|---|---|---|---|---|---|
| Division | Apps | Ggoolo | Apps | Ggoolo | Apps | Ggoolo | |
| 2017–18 | Indian Super League | 4 | 0 | 0 | 0 | 4 | 0 |
| 2018–19 | Indian Super League | 13 | 0 | 1 | 0 | 14 | 0 |
| okugatta | 17 | 0 | 1 | 0 | 18 | 0 | |
Nga 16 omwezi Ogwokusatu mu mwaka gwa 2019
Engule
[kyusa | kolera mu edit source]Kiraabu
[kyusa | kolera mu edit source]- Vipers SC
- Liigi ya Uganda eya Premier : 2015
- Ekikopo kya Uganda : 2016
Mu ggwanga lye
[kyusa | kolera mu edit source]- Uganda
- Ekikopo kya CECAFA : 2015
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Kizito Keziron at Soccerway
- africanfootball.com Archived 5 December 2017 at the Wayback Machine
- Kizito Keziron at National-Football-Teams.com
- ↑ Keziron Kizito at National-Football-teams.com
- ↑ "Keziron KIZITO | The Official Website of Vipers Sports Club | viperssc.com". viperssc.com (in American English). Retrieved 2018-05-23.
- ↑ "Airtel-FUFA Awards: Kezironi Kizito, nominee for male player of the year - FUFA: Federation of Uganda Football Associations". FUFA: Federation of Uganda Football Associations (in American English). 2015-12-10. Retrieved 2018-05-23.
- ↑ "KPL side AFC Leopards sign Keziron Kizito from Vipers". Airtel Uganda Football (in American English). 2017-05-29. Archived from the original on 2018-07-13. Retrieved 2018-05-23.
- ↑ "Kezironi Kizito Comes off the Bench to Score for AFC Leopards | ChimpReports" (in American English). Retrieved 2018-05-23.
- ↑ "Keziron Kizito fires FC Leopards to the Quarter finals". www.swiftsportsug.com (in American English). 27 July 2017. Archived from the original on 2018-07-13. Retrieved 2018-05-23.
- ↑ Chandran, M. r Praveen (2018-01-04). "Hero ISL: Kerala Blasters hold FC Pune City". The Hindu (in Indian English). ISSN 0971-751X. Retrieved 2018-05-23.
- ↑ "Kezironi Kizito: Creative midfielder joins KCCA". 2 September 2019.
- ↑ "10 man Tooro United subjects KCCA to first loss of the season". 2 October 2019.
- ↑ Strack-Zimmermann, Benjamin. "Uganda vs. Ethiopia (3:0)". www.national-football-teams.com (in Lungereza). Retrieved 2018-05-23.
- ↑ Strack-Zimmermann, Benjamin. "Uganda vs. Tanzania (1:1)". www.national-football-teams.com (in Lungereza). Retrieved 2018-05-23.
- ↑ "Uganda beat Rwanda 1-0 to win the 2015 Cecafa Cup". BBC Sport (in British English). 2015-12-05. Retrieved 2018-05-23.
- ↑ "2016 CHAN Finals: Uganda Cranes Contingent to Rwanda released - FUFA: Federation of Uganda Football Associations". FUFA: Federation of Uganda Football Associations (in American English). 2016-01-12. Retrieved 2018-05-23.
- ↑ "Keziron Kizito". National-Football-Teams.com. Retrieved 20 August 2015.
- ↑ "Uganda vs. Tanzania".