Jump to content

Kizito Maria Kasule

Bisangiddwa ku Wikipedia

Kizito Maria Kasule (yazaalibwa 1967) Munnayuganda omusiizi w'ebifaananyi era omutandisi w'emirimu.[1] Omulimu gwe gulagiddwa mu buvanjuba bwa Afrika yonna, Bubirigi, Austria, Girimaani, Australia, ne Bufalansa, [2] wamu ne mu Denmark awamu ne Norway. Musomesa mu yunivasite y'e Makerere okuva mu 1992. [2]

Kasule yemutandisi w'essomero ery'eby'emikono erya Nagenda International Academy of Art and Design (NIAAD ), essomero lya matendekero aga waggulu mu by'emikono, mu 2006. [1]

Obulamu obwasooka

[kyusa | kolera mu edit source]

Kizito Maria yazaalibwa mu 1967 ekyalo mu byalo mu Uganda. Ye yali omuto mu baganda 12. Bazadde be baalina ennimiro y'emwaanyi ng'eddukanyizibwa famile. Ku myaka 11 kitaawe yasaba mutabani we ave ku ssomero akole mu nnimiro eno. Omuvubuka Kizito yagaana okuva mu kusoma era mu kuddamu kitaawe n’amuwaliriza amuviire mu makaage. Emyezi egyaddirira Kizito yabeeranga kunguudo, ng’akonkona ku nzigi ez'enjawulo okubaako emiimu gy'abakolera olwo nga bamusasulamu kyakulya n'aw'okusula. Oluvannyuma yalondebwa omusajja omu eyakkiriza okubeera naye. Emyaka ebiri egyaddirira Kizito yagimala ng’asoma mu biseera eby'okumakya ng'ate olweggulo ebiseera abimala mu nnimiro zz'emwanyi okusobola okufuna sente ez'okwebezaawo awamu n'okweweerera.[1]

Mu 1987 olutalo lwa bannansi lwabalukawo mu bukiikakkono bwa Uganda. Nga wayise emyaka ebiri, nga Kizito aweza emyaka 16, Kizito yakwatibwa n’asindikibwa mu nkambi y’amagye. Yakola nnyo ng’omusimi w'entaana za basibe banne ababeeranga battidwa. Olunaku lumu, bwe yamala okusima entaana eziwerako, ye ne banne mu kasenge k'ekkomera baalagirwa okuyimirira ku mabbali g’entaana mu maaso g’ekibinja ky’abajaasi abaali bakuba amasasi. abajaasi abo btandika okuttanga abasibe omu ku omu naye Kizito yawona okuttibwa olw'okubanga kitaawe yali amanyiganye ne ofiisa omu ow'omunkambi era eyamukiriza okutoloka. Yatoloka mu Uganda ng’alina endagamuntu ey’ekicupuli. Yakomawo oluvannyuma lw'emyaka esatu n'agenda mu yunivasite y'e Makerere mu Kampala . Mu 1992 Kizito yatikkirwa diguli esooka eya Arts mu by’emikono.[1]

Mu 1994 yakola omwoleso gwe ogwasooka era negusiimibwa olw'endowooza ennungi gyeyayolesa. [1]

Mu 2003 Kizito yamaliriza diguli ey'okubiri mu byafaayo by’ebyemikono okuva mu yunivasite y’e Makerere n’awangula sikaala okugenda mu Burren College of Art esangibwa mu Ireland.[1]

Kizito Maria muzirakisa era mulwanirizi wa bantu. Pulojekiti ye enkulu ey’omukitundu ye ttendekero ly’eby'emikono erya NIAAD erisomesa abavubuka nebannayuganda abalala. Mu 2009 NIAAD yeegatta ku kibiina kya Yisirayiri eky'obwannakyewa ekya Brit Olam ne bakola pulojekiti ya "Muse Uganda". Pulojekiti eno esuza n’okusomesa abavubuka abawejjere okuva mu Uganda era ebasobozesa okwegatta ku ttendekero lya NIAAD ng’abayizi aba bulijjo ku ssente ensaamusaamu.[1]

Kizito Maria Kasule mu kiseera kino ye Dean w’ebyemikono mu Margaret Trowell School of Art ne dizayini mu yunivasite y’e Makerere, Kampala mu Uganda.

Emyoleso egyalondebwa egy’omuntu omu

[kyusa | kolera mu edit source]

2014 Omuyimbi Rett Vest, Asker ne Galleri Stilart, Gran, Norway

2011 Makerere University Gallery, Kampala, Uganda

2009 Makerere University Gallery, Kampala, Uganda

2008 La Fontaine Gallery, Kampala, Uganda

2006 Sakaraga Gallery, New York, Amerika

2004 Ettendekero ly’ebyemikono erya Windhoek, Windhoek, Namibia

2000 National Museum of Kenya, Nairobi, Kenya

2000 Ekifo ekirabirira ebifaananyi e Paris, New York, Amerika

1998 Ekifo ky’ebyobuwangwa ekya Germany, Kampala, Uganda

1998 Tulifanya Gallery, Kampala, Uganda

Emyoleso gy’ebibinja egyalondeddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

2014 Ekifo ky’abayimbi ekya Dronninglund, Denmark

2012 Ekifo eky’ebifaananyi ekya Diani, Mombasa, Kenya

2008 Kultur Stationen, mu kibuga Skørping, mu Denmark

2005 Ekitongole ky’ebyemikono ekya Burren College of Art Gallery, Ballyvaughan, Ireland

1999 Yunivasite y’e Namibia, Windhoek, Namibia

1995 Modern ART, Uganda Austria enkolagana, Kampala, Uganda

1995 Ekifo eky’ebifaananyi eby’omu bwengula, Johannesburg, South-Africa

1994 Nommo Gallery, Kampala, Uganda

1994 Omwoleso gw’ebyemikono mu Afrika ogwa 7th pan African Congress, Kampala, Uganda

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 6 7 "An In-Depth Interview with Dr. Kizito Maria Kazula, the artist, the spirit behind Muse Uganda". Brit Olam. 2010. Archived from the original on March 30, 2012. Retrieved March 15, 2012. Cite error: Invalid <ref> tag; name "brit" defined multiple times with different content
  2. 1 2 "Kizito Maria Kasule". African Fine Art. Archived from the original on March 9, 2018. Retrieved March 15, 2012.

3. www.kizitomariakasule.com ku mukutu gwaffe ogwa yintaneeti