Kizito omuto omujulizi omutuukirivu

Bisangiddwa ku Wikipedia

Kizito omuto omujulizi omutuukirivu ye mujulizi eyali asinga obuto mu bonna abaayokebwa Ssekabaka Mwanga e Namugongo. Y'omu ku bajulizi abakatoliki abiri mu ababiri abaafiirira Yezu nga 3 Gwamukaaga 1886. Kizito yazaalibwa mu mwaka gwa 1872 era yafa alina emyaka kkumi n'ena. Yali Muganda nga ava mu kika ky'emmamba nga azaalibwa Mityana.

Kizito atendebwa olw'obuvumu bwe yalina mu kukkiriza Yezu anti newandibadde yali mwana muto atyo, yayagala nnyo okusoma era nga taganya banne abakulu mu ddiini kumuleka mabega bwe baabanga bagenda okusoma eyo mu matumbi budde. Kigambibwa nti olw'okusaba banne okumuzuukusanga bagende bonna okusoma ekiro naye bo ne batamuzuukusanga olw'okumusaasira olw'olugendo kubanga yali muto, yasiba ekyayi ku luggi n'akisibira ku kugulu kwe, nga bwe banaaba bajjawo oluggi asobole okuzuukuka. Bwe yazuukuka, n'abagamba nti ku luno temundeka. Kale nno banne ne beewunya nnyo olw'okwagala Kizito kwe yayagalamu Yezu ono gwe yali yaakasenga. Kizito yabatizibwa Kaloli Lwanga eyali omukulembeze w'abasomi.

Kabaka Mwanga bwe yabuuza abasoma nga agenda kubatta n'abagamba okudda oludda luli, Kizito naye teyagaana, wabula yeewaayo newandibadde abambowa baamwegayirira eddiini agireke si kulwa nga emussissa. Kizito yayokebwa ne banne e Namugongo mu kifo kati awali ekkanisa ey'ekijjukizo ky'abajulizi ey'abapolositante e Namugongo.

Kizito yalangibwa paapa Benedicto XV mu lubu lw'abeesiimi mu mwaka gwa 1920. Yalangibwa paapa Paulo VI mu lubu lw'abatuukirivu nga 18 Gwakkumi 1964 mu eKlezia enkulu eya Petero omutume e Roma mu kitiibwa ekingi wakati mu lukiiko lw'eKlezia yenna olwokubiri olwa Vatikano olwali lugenda mu maaso e Roma mu biseera ebyo.

Kizito kaakati ye muwolereza w'abaana mu Uganda nga tumulabirako empisa ennungi, obuwulize n'okwagala Yezu. Kizito omuto tumutenda olw'empisa ennungi ey'okukkiriza, ey'okusuubira ko n'ey'okwagala. Erinnya Kizito kati ly'afuuka linnya lya ddiini era nga lituumibwa mu Klezia yonna. Kizito aganze nnyo mu b'Afirika naddala mu buvanjuba bwa Afirika, mu Zambia, mu Ghana n'awalala wangi nnyo.

Oluyimba lwa Kizito[kyusa | edit source]

Oluyimba luno lwayiiyizibwa omwami Joseph Kyagambiddwa

Kizito Omuto[kyusa | edit source]

Leaders: Chorus: 1. Kizito omuto oyo wange - Kizito omusomi

Mwana w’embuga gwe mbiita -do-

Kizito omwagalwa omuganzi asiimwa -do-

Nkugumya ennaku gwe nsuuta -do-

Omwana w’ abakungu atalabwa -do-

Atunula ng’amata obuta olw’enneema -do-

Nkuuma ekkula lya Katonda zzaabu -do-

Nkuuma emisana n’ettumbi -do-


(A) Chorus: Bwe tulittibwa naawe ffembi olw’okuba eddiini Nze ndikugumya gy’ogenda tolindeka Bwe balinjokya ne nfa nze ndijaguza owange, Nze ndiwondera, ne ngwa ggwe eri gy’oligwa (A x2)

(B) Kizito onnumya omwoyo, mazima totya, ewa Yezu laba nnyini ffe anti gyetulamaga. (B x2)

(C) Zannya, zannya, omwana wa Yezu zannya, Zannya nnyo omulenzi wa Yezu omwana, Jaagaana omulongo w’olukoba owange, Jaagaana omulongo w’olukoba ow’edda. (C x2)

(D) Eh! Eh! Eh! ……………… Eh! Eh! Kizito onsagaasaganya ka nkusabire, Gy’ogenda wala ntalo, nywera tuziyabule (D x2)


2. Kizito omugagga enneema Kizito omusomi

Ne Namasole aweese ggwe -do-

Mukama w’eggulu Katonda awa ggwe -do-

Nnyina Maria atwesiimya -do-

Okaabiranga ki nga ndi wano? -do-

Ntunula sitemya nkukuuma owange -do-

Nkwasa Bikira omuyambi nnyaffe -do-

Gwe mmulerera ow’emmamba -do-


3. Kizito mukwano ow’edda Kizito omusomi

Ziriba bbiri n’enngenda -do-

Nngenda eri omutonzi nga nze nfa nno -do-

Nfiirira ssebo eyantonda -do-

Ffe tulifa lumu ffembi wamu -do-

Ndayira sirikuleka bw’omu ggwe -do-

Liiso ddene waggulu gy’ali eyo -do-

Tulimulaba n’oweera -do-

--Tonny Ineza (talk) 07:28, 2 Gwamunaana 2015 (UTC)