Jump to content

Kkala z'Ekitangaala

Bisangiddwa ku Wikipedia

Gakuweebwa Charles Muwanga !!!Kkala z’Ekitangaala (the Colours of Light)


Ekitangaala ekirabika (Visible light) kye kitundu kya "endaga y’omugendo gw’amasannyalaze ne magineeti" (electromagnetic spectrum) amaaso gaffe agali obukunya kye gasobola okulaba.

Ekitangaala okuva ku njuba oba balibu y’amasanyalaze kitunula nga kyeru kyokka ekituufu kiri nti kiba mugattiko gwa kkala za musoke (rainbow colurs). Tusobola okulaba langi ez’enjawulo ez’endaga ya kkala za Musoke (ekkamiso=rainbow spectrum) nga nga twabuluza mu kitangaala ekyeeru n’ekigulumiro (prism=ekirawuli eky’ekigulumiro). Endaga (spectrum) era erabika bw’olaba “ekkamiso” (rainbow colours) mu lubaale.

Kkala zino ziva ku emyufu (kasaayi) okutuuka ku mugattiko gwa bbululu, kakobe, ne kakyungwa. Wakati wa mmyuufu ne kakyungwa walilwo kyenvu, kiragala, bbululu, yindigo ne vayola. Kkala zino zirina obuwanvu bw’ejjengo, enziringana, n’amasoboza bya njawulo. Vayola alina obuwanvu bw’ejjengo obusinga obumpi mu ndaga y’ekitangaala ekirabika. Kino kitegeeza erina enziringana n’amaanyikasoboza ebisinga okuba waggulu. Mmyufu (kasaayi) erina obuwanvu bw’ejjengo obusingayo obuwanvu n’olwekyo langi emmyufu erina enziringana n’amasoboza ebisinga okubeera wansi.

Ekitangaala kitambula okuyita mu bwengula mu layini engolokofu kasita waba nga tewali kigyekiise mu maaso. Ekitangaala bwe kiba kiyita mu nnampewo, kyeyongerayo mu layini engolokofu okutuuka nga kiyingiridde molekyu za ggaasi, ebire oba enfuufu. Kino nga kibaddewo ekituuka ku kitangaala kisinziira ku buwanvu bwa jjengo bw’ekitangaala n’obunene bw’ekintu kye kisangirizza mu kkubo.


Patike z’enfuufu (dust), ebile, oba enfuufu n’obutondo bw’amazzi biba binene okusinga obuwanvu bw’ejjengo ly’ekitngaala. Ekitangaala bwe kitomela patike zino ennene, kikyusa ekkubo lyako (gets reflected) ne kibuna emiwabo okudda emabega. Langi z’ekitangaala ez’enjawulo zonna nazo zidda emabega mu ngeli y’emu nga zitomedde patike z’enfuufu n’obutondotondo bw’amazzi.

Ekitangaala ekizze emabega kilabika ng’ekyeelu kubanga kiba kikyalimu langi  za musoke zonna.  

Molekyu za ziggaasi ntonoko okusinga obuwanvu bw’ejjengo ly’ekitangaala ekirabika. Ekitangaala bwe kiyingirira molekyu za ziggaasi, kyeyisa mu ngeli ya njawulo. Ekitangaala bwe kitomela molekyu ya ggaasi, ekimu kiyingizibwa (gets absorbed). Bwe wayitawo akaseela, molekyu efulumya ekitangaala nga kidda mu kkubo ery’enjawulo kwelyo lye kibaddemu. Langi efulumiziddwa eba kkala y’emu n’eyo eyayingiziddwa. Langi z’ekitangaala ez’enjawulo zikolebwaako mu ngeri za njawulo.

Kkala zonna ziyinza okuyingizibwa (absorbed) naye ezo ezilina enzilingana eza waggulu (nga eza bbululu) ziyingizibwa emirundi mingi okusinga ezo ezirrina enzilingana eza wansi (nga emmyuufu).Kino kiyitibwa “kusaasanya kwa Layila” (Rayleigh scattering). Kyabbulwa mu Lord John Rayleigh, munna fizikilogia omungeleza eyasooka okukizuula mu myaaka gya 1870.

N’olwekyo ng’obuziddwa Lwaaki ekikaayi (Olubaale) kya bbululu, ky’osooka okumanya kwe kuba nti ekitangaala kika ky’amaanyikasoboza (energy) agasobola okuyita mu bwengula. Nga bw’olaba ekitangaala ekiva mu balibu y’amasannyalaze, n’ekitangaala ekiva ku njuba kilabika okuba nga kyeelu kyokka mu butuufu guba mugattiko gwa kkala ez’enjawulo. Kkala ezili mu kitangaala ekyeelu mulimu emmyuufu, kakyungwa, kyenvu, kilagala, yindigo, bbululu ne vayola.Kklala zino osobola okuziraba obulungi ng’olabye musoke mu kikaayi (mu lubaale).

Ate era olina okumanya nti nampewo w’Ensi (the atmosphere of the Earth) akolebwa zi ggaasi ez’enjawulo naddala nayitilogeni ne wokisigeni. Mu kikula kya kemiko, yadde nga eriiso ly’omuntu terisobola kulaba zi ggaasi zino butereevu, molekyu za ggaasi ngazi ddala okusinga paketi z’ekitangaala.

Ekitangaala okuva ku njuba kiba kyeelu kyokka ng’obweeru bwakyo bukolebwa mugatte gwa kkala za Musoke (rainbow colours). Kkala eya bululu kiba kitangaala ekitambulira mu bupaketi obutini okusinga obw’ekitangaala ekimyuufu.

Ekitangaala ekimyufu bwe kitomera nampewo. patiki z’ekitangaala zitomela molekyu ennene ez’empewo (ggaasi). Patike enneneko ez’ekitangaala emmyufu, kakyungwa, kyenvu n’ezimu eza kyenvu zisobola okuwagaanya okuyita mu molekyu z’empewo ne zikka wansi ku Ensi. Kyokka bu paketi bw’ekitangaala obutonotono, ekitangaala ekya bululu n’obumu obwa kiragala bulaalila ku molekyu ennene. N’olwekyo ekikaayi kirabika nga kya bbululu olw’ekitangaala ekya bbululu ekiba kiwagamidde waggulu mu nnampewo ate enjuba egwa (sunset) elabika nga mmyufu olw’ekitangaala ekimyufu ekiba kisobodde okuyita obuteleevu awali ekifundikwa ky’ekitangaala (enjuba).

Okumyuka kuyinza okulabibwa mu bifo eby’enjawulo mu kibuga naddala mu bifo awali empewo eyonooneddwa omukka, ekikaayi we kirabikira okuba ekimyufu ennyo.

Olwa patiki z’enfuufu ne munyale ennene ekimala okusaasanya ne paketi z’ekitangaala ezisinga obunene ng’ezo emmyufu. Ebikaayi (skies) ebya bululu ennyo, ku ludda olulala, bye bibaamu empewo ennungi, etayonooneddwa mikka mibi ela muno nga mwe musigala paketi z’ekitangaala ezisingayo obutono eza bululu ne vayola, eziba ziwagamidde mu bifo bya nampewo ebisinga okubeela waggulu.