Jump to content

Kkala za Musoke (Rainbow Colours)

Bisangiddwa ku Wikipedia
rainbow

Kkala za Musoke(Rainbow colours).

Kkala za Musoke(Rainbow colors) zijjawo zitya mu kikaayi (sky)?

Okusooka ekitangaala kiva ku njuba ng’emigendo gy’ekitangaala(sun’s rays) .

Emigendo gy’ekitangaala emingi gye gikola ekisaaganda ky’ekitangaala(beam/stream of light) .

Omugendo gw’ekitangaala bwe guyingirira amatondo g’enkuba mu bbanga(mu kikaayi) , ne gwewetamu(refraction) nga guyingirira amatondo oba ettondo ly’enkuba ate olwo ne gudda emabega(reflection) nga gutuuse emabega w’ettondo ly’enkuba lye guyingidde ate ne guddamu negwewetamu nga gufuluma e ttondo ly’amazzi lino , ekintu ekiviirako ekitangaala ekyeru okulaga kkala ezikirimu.


Ekireetawo kino kyonna kwe kuba nga ekitangaala ekiyingira kidda emabega(reflected back) ku mpeto(angles) ag’enjawulo , ng’ekitangaala ekisinga kidda emabega ku ppeto(angle) eriri wakati wa digiri 40-42 .

Eppeto terisinziira ku bunene bwa ttondo lya nkuba omugendo gw’ekitangaala mwe guba guyingiridde naye ku misinde  omugendo gw’ekitangaala kwe guyingirira .
Amazzi ga semayanja gayingiza omugendo gw’ekitangaala ku misinde gya waggulu okusinga ag’enkuba , n’olwekyo laadiya(radius) y’omuweto gwa musoke(rain bow curve) mu semayanja ntono okusinga ku ya musoke mu kikaayi.
Amaanyi ekitangaala kwe kyewetera gasinziira ku buwanvu bwa jjengo(wave lengths) , kino ne kivaako enneeyisa ya kkala  okusinziira ku buwanvu bw’ejjengo obwa buli kkala. 

Bivudde wa Charles Muwanga