Jump to content

Kkampuni ya DFCU

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Kkampuni ya Development Finance Company of Uganda Group emanyiddwa ennyo nga DFCU Group kkampuni ekola ku by'ensimbi mu Uganda .

Ekibiina kino kyenyigira mu kukozesa abakozi b'omu bbanka, okuwola abaguzi, okuwola emisingo, ensimbi z'enkulaakulana, okusasula liizi ez'ekiseera ekimpu n'ekiwanvu wamu n'okusiga ensimbi mu by'amayumba eby'obusuubuzi . DFCU yatandikibwawo mu 1964 nga kkampuni ekola ku by’ensimbi mu nkulaakulana. Mu mwaka gwa 2005 DFCU Group yalimu amakampuni gano wammanga: [1] [2]

DFCU Limited ye kampuni ekwata emigabo era ewandiikiddwa ku katale ka Uganda Securities Exchange ( USE ), wansi w'akabonero ka DFCU . [12]

Emigabo gya DFCU

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu Gwekkuminebiri 31 2022, ebitongole wammanga saako n'abantu ssekinnomu be baali balina emigabo mu DFCU:[13]

Abalina ebigabo mu Kkapuni ya DFCU
Eddaala Erinnya lya nnannyini yo Ebitundu ku kikumi eby’obwannannyini
1. 1. Situka BV ya Netherlandsi 58.70
2. 2. SCB Mauritius A/C Ensawo y’okusiga ensimbi mu mawanga agakyakula 9.97
3. 3. NSSF 7.56
4. 4. Kimberlite Frontier Africa Naster Fund, LP 7.35
5. 5. Kumpi Bamusigansimbi Abalala 3,800 16.42
Okugatta 100.00

Ekizimbe kya DFCU

[kyusa | kolera mu edit source]

Kkampuni ya DFCU yazimba ekitebe kyayo ekipya, nga kwe kuli ettabi ekkulu erya DFCU Bank . Ekizimbe kino kimanyiddwa nga DFCU House era nga kiweza myaliiro kkumi. Kisangibwa ku luguudo lwa Kyaddondo 26, ku lusozi Nakasero, mu Disitulikiti y’ebyobusuubuzi wakati mu Kampala, enkulaakulana eno erimu paakingi y'ebweru ne wansi w’ekizimbe, wamu n’ebifo eby’okupangisa, eby’amaduuka ne ofiisi ku myaliriro egiwerako. [14]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:Kampala District