Kojo Adu Asare
| Ekikula | musajja |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Ghana |
| Yazaalibwa nga | 30 Gwamukaaga(Ssebaaseka) 1966 |
| Gy'azaalwa | Eastern Region |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza |
| Omulimu | chief executive officer, musuubuzi, munnabyabufuzi |
| Ekifo ky'alimu | Member of the 5th Parliament of the 4th Republic of Ghana |
| Gyeyasomera | unknown value |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | National Democratic Congress |
| Ediini | Christianity |
Kojo Adu Asare (yazaalibwa 30, Sseboaseka, 1966) munnabyabufuzi okuva e Ghana era yaliko omubaka wa palamenti mu kitundu kya Adenta mu kitundu kya Greater Accra mu Ghana.[1] Asare yawangula ekifo kya palamenti ya Adenta mu kulonda kwa bonna okwa 2008 ku tiketi ya National Democratic Congress, n'awangula Kwadjo Opare-Hammond ey'aliko. Ebyava mu kulonda biraga nti yafuna obululu 20,230 okusinga obwa Opare-Hammond eyafuna obululu 16,646[2]
Ebyafaayo n'obuyigirize bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Asare ava mu kitundu kya Abirim Akuapem mu buvanjuba bwa Ghana.[1] Yamaliriza siniya ey’okuntikko.[3]
Obukugu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Asare y'akulira ekibiina ekivunaanyizibwa ku buvunaanyizibwa bw’ebitongole mu mbeera z’abantu.[4] Era yaliko akulira kkampuni ya Vital Concepts limited, erina amatabi mu Ghana, Sierra Leone ne Guinea.[1] Yakolako ng'omumyuka w’omuwandiisi ow’ekibiina kya National Democratic Congress[5] Adu Asare, mu kiseera kino, omukozi mu woffiisi ya pulezidenti, ali mu lwokaano n’omumyuka w’omuwandiisi, George Lawson era saako n'eyali akulira ebyempuliziganya bya Pulezidenti, Koku Anyidoho.
Mu Gatonnya wa 2012, Adu Asare yawangulwa Emmanuel Nii Ashie Moore mu kalulu k'okusunsula ababka ba palamenti aka National Democratic Congress mu kitundu kya Adetan. Yafuna obululu 17, ate Moore n’afuna obululu 78 era ekibiina ne kimusunsula okukwata tiketi y'akyo. Abalala abaavuganya mu kalulu k'okusunsula kw'ekibiina kuliko Desmond Aryee-Boi eyafuna obululu 25, Paulina Delali Adinyirah eyafuna obululu 38, Alhaji Adam Mahama eyafuna obululu mukaaga, Herty Laura Ken eyafuna akalulu kamu, ne Samuel Anum Adjei ataafuna.[6]
Mu Mutunda wa 2025, yalangirira mu lujjudde nti agenda kuvuganya ku tiketi ya National Democratic Congress ' mu kulonda kwa 2028.[7]
Mu 2025, Adu Asare mu lujjudde yanenya abakulu abaalondebwa mu kibiina kya National Democratic Congress (NDC) olw’okulagajjalira bannakibiina abasokerwako mu byalo era n’alaga obweraliikirivu ku ngeri yokuvujjirira saako okukuuma obwetengereze n'obuwagizi bw'ekibiina. Ono era yayogedde ku nkola y’ebyenjigiriza mu ggwanga, n’abuusabuusa enkyukakyuka mu nkola ya minisitule y’ebyenjigiriza ey’okuteeka abantu mu masomero.[8]
Ebimukwatako ng'omuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Asare yamenyeka ekisambi mu Kasambula wa 2024 era nabeera ku kitanda. Musajja Mukristaayo era mufumbo ng'alina abaana basatu.[9][10]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 "Kojo Adu-Asare,". MobileGhanaWeb. Retrieved 2020-07-03. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "GW1" defined multiple times with different content. - ↑ "Greater Accra Region - 2008 Results". www.modernghana.com. Retrieved 2026-02-22.
- ↑ "Complete Biography & Profile of Kojo Adu-Asare, Hon". GhanaStar (in American English). 2016-08-07. Retrieved 2020-07-03.
- ↑ "I am clean to contest parliamentary elections - Ashong Narh". Modern Ghana (in Lungereza). Retrieved 2020-07-03.
- ↑ "Adu-Asare Joins NDC Race". Modern Ghana (in Lungereza). Retrieved 2020-07-03.
- ↑ Dogbevi, Emmanuel (2012-01-28). "NDC MP for Adenta Constituency out". Ghana Business News (in American English). Retrieved 2026-02-22.
- ↑ "I will contest for NDC flagbearer in 2028 – Adu-Asare announces". GhanaWebbers (in Lungereza). 2025-09-24. Retrieved 2026-02-22.
- ↑ "School Placement issues: Don't abandon a working system – Kojo Adu-Asare - Adomonline.com" (in American English). 2025-10-22. Retrieved 2026-02-22.
- ↑ "Ghana MPs - MP Details - Adu-Asare, Kojo". GhanaMps. Retrieved 2020-07-03.
- ↑ Otchere, Gertrude Owireduwaah (2024-09-05). "I was bedridden - Former MP [Audio] - Adomonline.com" (in American English). Retrieved 2025-08-14.