Jump to content

Kokoro Janda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Kokoro Janda muvuzi wa nnyonyi za Uganda, akola nga Kapiteeni ku nnyonyi ya A330-800 mu kkampuni ya Uganda National Airlines Company, kkampuni y’ennyonyi eya Uganda eyazuukizibwa. Abadde akolagana ne Uganda Airlines okuva mu 2021. [1] [2] [3] [4]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Muzaale munnayuganda. Ono ava mu Disitulikiti y'e Arua . Alina layisinsi y’okuvuga ennyonyi ezikola ssente okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa ku nnyonyi ekya Federal Aviation Administration mu Amerika. Alina ne layisinsi ya ICAO ey'okuvuga ennyonyi mu by'entambula . Yasomera mu Lynn University, e Boca Raton, Florida, Amerika, gye yatikkirwa diguli esooka eya Bachelor of Science mu by’okuddukanya eby'ennyonyi. [1] [3]


Oluvannyuma lw’okutikkirwa mu Lynn University, yasooka kuweereza ng’omukulu w’okutunda ennyonyi za bizinensi n’ennyonyi eziyitibwa turbo prop, ng’asinziira mu Boca Raton Florida, mu Amerika. Oluvannyuma yatandika okuvuga ennyonyi ne kkampuni z’ennyonyi eza bulijjo okuli Transworld Safaris (Kenya), Selous Safari Company (Tanzania), Fly ALS (Kenya) ne East African Safari Express (Kenya). [1] [3]


Mu 2008, yapangisibwa kkampuni ya Air Uganda kati etakyaliwo. Yavaayo mu 2010,ekitongole kya Astral Aviation bwe kyamupangisa nga Kapiteeni ku nnyonyi zaabwe ezitwala emigugu. Mu 2018, yapangisibwa nga Captain ku nnyonyi ya A320 family mu Jetstar Pacific Airlines, mu kiseera ekyo nga yali kkampuni ya Vietnam Airlines (ebitundu 70 ku 100) ne Qantas (ebitundu 30 ku 100). Yavuga ennyonyi za famire A320, nga kapiteeni okumala emyaka egisukka mu ebiri. [1] [2] [3]


We bwatuukira mu Gwomwenda 2021, yagezesebwa ku bika by’ennyonyi zino wammanga: Cessna 208 Caravan, Beechcraft King Air, McDonnell Douglas MD-82, McDonnell Douglas MD-83, McDonnell Douglas MD-87, McDonnell Douglas DC-9, Airbus A320 family ne A330neo . Ye muvuzi w’ennyonyi eyasooka okuyita mu kugezesebwa okuvuga ennyonyi ya A330neo ku UR, nga ye kkampuni y’eggwanga eya Uganda eyazuukizibwa nga yeeyali Captain . [2] [3]

Ebirala ebyalowoozebwako

[kyusa | kolera mu edit source]

Kapiteeni Kokoro Janda, y’omu ku bavuzi b’ennyonyi abakulu mu kkampuni y’ennyonyi eya Uganda Airlines. Ye mukungu avunaanyizibwa ku by’okwerinda mu nnyonyi mu kkampuni eno. Era akola nga kapiteeni atendeka ba Kapiteeni n’Abaserikale Abaasooka ku nnyonyi ya A330-841. Ng’oggyeeko ekyo, ye kapiteeni agezesa abavuzi b’ennyonyi abatendekeddwa ba kapiteeni abalala mu kkampuni eno. Yali mmemba ku bavuzi b'ennyonyi eyavuga ennyonyi eyasooka nga egenda butereevu wakati wa EBB, mu Uganda ne LOS, mu Nigeria nga Flight UR900 nga 19 Ogwekkumi 2023. [5] Era yeeyali omuvuzi w'ennyonyi ali mu mitambo gy'ennyonyi ya Uganda Airlines Airbus A330-800 eyasooka okugenda e Nairobi nga 27 Ogwomunaana, 2021. [6]

Kapiteeni Kokoro Janda yali mu kibinja ky’abavuzi b’ennyonyi abasatu abavuga ennyonyi UR445 okuva ku kisaawe ky’ennyonyi e Dubai okutuuka ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe nga 30 Ogwekkuminoogumu 2024. Ennyonyi eyo, nga kapiteeni Peter Thomas ye muvuzi w’ennyonyi agiri mu mitambo nayo yalina First Officer Ivan Massa mu kisenge ky’abavuzi. Yali nnyonyi ya bya busuubuzi eyasembayo nga Peter Thomas yeeyali kapiteeni waayo, nga yawummula oluvannyuma lw’ekyo. [7]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 https://trumpetnews.co.ug/2021/09/20/here-is-janda-kokoro-first-ugandan-to-pass-training-to-fly-the-airbus-as-captain-in-command/
  2. 1 2 3 https://www.watchdoguganda.com/news/20210921/121909/meet-captain-kokoro-janda-the-first-ugandan-to-pass-training-to-fly-uganda-airlines-unique-airbus.html
  3. 1 2 3 4 5 https://businessfocus.co.ug/captain-kokoro-janda-the-first-ugandan-to-pass-training-to-fly-uganda-airlines-airbus-as-captain-in-command/
  4. https://www.spyuganda.com/our-target-now-is-employing-ugandans-meet-captain-kokoro-janda-from-arua-1st-ugandan-to-pass-training-to-fly-uganda-airlines-airbus-as-captain-in-command/
  5. https://www.youtube.com/watch?v=3sgOmXoWnAs
  6. https://businessfocus.co.ug/inside-uganda-airlines-airbus-flight-to-nairobi-that-left-passengers-wowed/
  7. https://www.observer.ug/index.php/news/headlines/83088-capt-thomas-ends-41-year-flying-career-with-uganda-airlines-flight