Jump to content

Kookolo w'oku bwongo

Bisangiddwa ku Wikipedia
Kokolo W’obwongwo

Enfaanana y’obulwadde buno

[kyusa | kolera mu edit source]

Kansa w'obwongo agya singa obutofaali obutali bwa bulijjo bumeruka mu bwongo. Obulwadde buno bwa emirundi ebiri ”concerous" ne "Benign". Ebika bya kansa ono biyinza okuleeta obubonero okusinziira ku kifo w’abeera akutte. Obubonero buno mulimu ng’okulumwa omutwe, okusesema, okukyukakyuka mu ndowooza y'omuntu n'ebirala. Omuntu alina obulwadde buno atera nnyo okulumwa omutwe ku makya era kitera n’okuleetera okusesema.

Ebimu ku bireeta obulwadde buno

[kyusa | kolera mu edit source]

Waliwo ebigambibwa nti okukozesa ennyo esimu kiviirako obulwadde buno naye tekinnaba kunoonyerezebwako bulungi. Obujjanjabi obuweebwa omuntu ono basinziira ku biva mu kukebera omuntu mu byuma.

Omuntu alina obulwadde buno asobola okulongoosebwa. Eddagala eriyinza okukozesebwa kuliko, “Furosemide” era nga liyinza okukozesebwa okukendeeza ku kuzimba eri omuntu alina kookolo ono. Obulumi omuntu bw’afuna businziira kika kya kookolo ekiruma omuntu. Ekika ekya Glioblastomas kikosa nnyo omulwadde so ng’ate ate "meningiomas" tebukosa nnyo mulwadde.

Kika kya kookolo ekiyitibwa, Secondary oba metastatic bukwata nnyo abantu okusinga "Primary brain tumor" era nga businga kuva ku kookolo w'amawuggwe. Obulwadde bwa Primary brain tumor bukwata abantu 250,000 buli mwaka mu nsi yonna. Mu Australia, omuwendo gw'ensimbi akakadde kamu mu emitwalo kyenda ze zikozesebwa okujjanjaba Kansa ono okusinga ekika kya Kansa omulala yenna.