Kookolo w'Ekibumba
Kookolo w'ekibumba[[1]] y'oyo akwata ekibumba. Kyokka kookolo atandikira mu bitundu by'omubiri ebirala oluvannyuma n'akwata ekibumba alabikalabika nnyo okusinga oyo atandikira mu kibumba mwennyini.
Obubonero
[kyusa | edit source]Obumu ku bubonero bwa kookolo w'ekibumba mulimu okufuna obulumi mu kabutobuto ak'oluuyi lwa ddyo (mu kitundu ky'olubuto ekiri wansi w'embiriizi eky'oku mukono ogwa ddyo). Mu bubonero obulala kuliko okuzimba olubuto, olubuto okufuuka olwa kyenvuyenvu, okukyankalanamu ku mutwe okutonotono, okukogga era n'okunafuwa kw'omubiri.
Ebireeta kookolo w'ekibumba
[kyusa | edit source]Ekisinga okuleeta kookolo ono ow'ekibumba, kye kibumba okumala ebbanga nga kirwadde ate ne kitafuna bujjanjabi eyitibwa Cirrhosis atera okuleetebwa omusujja gw'ekibumba oguyitibwa Hepatitis B ne C nga n'ekirala kwe kunywa ennyo omwenge. Ebirala ebiviirako kookolo ono kwe kufuna okirungo ekiyitibwa 'aflatoxin' ekitera okuva mu mmere esimibwa mu ttaka, era kookolo ono ayinza okuva ku njoka ezikwata ekibumba eziyitibwa Liver flukes.
Ebika bya kookolo w'ekibumba ebitera ennyo okukwata abantu kwe kuli ayitibwa 'Hepatocellular carcinoma' atwala ebitundu kinaana ku buli kikumi(80%) ku balwala kookolo ono, ekirala kye kiyitibwa 'Cholangiocarcinoma' ng'ono ye kookolo w'ekibumba atandikira mu kakutu akatambuza omubisi ogugonza emmere mu lubuto nga guva mu kibumba, n'ebirala.
Okuzuula kookolo w'ekibumba kuyinza okuyita mu kukebera omusaayi, ssaako okukozesa ebyuma ebikuba ne biraga ekiri munda y'omuntu okulaba ebirimu.
Engeri z'okwewalamu kookolo ono kuliko okwegemesa omusujja ge'ekibumba oguyitibwa 'Hepatitis B oba C', ssaako okwekebeza okulaba oba oyina kookolo ono naddala ku abo abalina endwadde z'ekibumba endala.
Mu nzijanjaba za kookolo ono ez'enjawulo okuli okulongoosa ekibumba ekyo ekiba kirwadde, enzijanjaba ey'okukalirira omulwadde okusobola okutta obutaffaali obulimu kookolo ono ow'ekibumba, okuggyiramu ddala ekibumba ne bateekamu ekirala, n'enzijanjaba endala nnyingi.
Kookolo ono asinga kusangibwa mu bitundu ebirimu emisujja gy'ekibumba nga Asia n'ebitundu ebiri wansi w'eddungu Sahara mu ssemazinga wa Afirika. Naye endwadde eno esinga kuzuulibwa mu bantu abali wakati w'emyaka ataano n'enkaaga mu etaano (55-65).