Kookolo w’omu lubuto
Enfaanana ya kookolo w'omu lubuto
[kyusa | edit source]Kookolo w’omu lubuto[[1]] y'Oyo akwata ku kasusu ak'omunda ak’omu lubuto. ObubonerO bwe obusooka kuliko: ekikeeto, okulumizibwa waggulu mu lubuto, okusinduukirirwa emmeeme, n’obutaagala kulya. Obubonero obw’oluvannyuma mulimu: omubiri okuwewuka, olususu olwa kyenvu, okusesema, obuzibu mu kumira, omusaayi mu bubi, n’ebirala. Kookolo ono asobola okuva mu lubuto n’asaasaanira ebitundu by’omubiri ebirala nga; ekibumba, amawuggwe, amagumba, ku lubuto ne mu bifo eby’ensanjabavu.
Ebireeta kookolo ono n'obubonero
[kyusa | edit source]Ekisinga okuleeta kookolo ono ke kawuka ak’ekika kya bacteria akayitibwa Helicobacter pylori era nga kano kalwaza abantu 60% ku bafuna obulwadde buno. Ekirala ekireeta kookolo ono kwe kulya enva endiirwa ensibe mu mikebe n’okunywa ssigala. Abantu 1-3% bafuna obulwadde buno nga babusikira okuva mu ffamire zaabwe.
Ebiseera ebisinga obulwadde buno bukula mu muntu mu mitendera egy’enjawulo era nga kitwala emyaka. Kookolo ono akeberebwa nga bayita mu kuggya akanyama ku muntu ateeberezebwa okuba ne kookolo ne bakakebera mu kyuma, okumukuba ebifaananyi okulaba oba ng’obulwadde busaaasanye mu bitundu by’omubiri ebirala.
Engeri y'okuziyiza kookolo ono
[kyusa | edit source]Okulya enva endiirwa, emmere erimu ekiriisa ekya proteins ez’ekigero ne butto ava mu binazi bisobola okukendeeza ku katyabaga k’okufuna kookolo ono nga kuno kw'ogatta n’okwewala okunywa ssigala. Singa kookolo w’omulubuto ajjanjabwa mangu, olwo ebizibu bingi byaleeta biba bisobola okuwonyezebwa. Obujjanjabi buzingiramu okulongoosa n’obujjanjabi obulala. Singa abeera ng’ajjanjabiddwa nga buyise kiba kyetaagisa omulwadde oyo okufiibwako mu ngeri ey’enjawulo.
Ebivaamu oluusi tebiba birungi ng’omuwendo gw’abo abawangaala okumala emyaka etaano nga bali ku bujjanjabi bali 10% bokka mu nsi yonna. Kino kibaawo olw’ensonga nti abantu abasinga abalina obulwadde buno babugayaalirira ne bukula. Mu Amerika abasobola okubeererawo ku bujjanjabi okumala emyaka etaano bali 28%, mu Korea ey’omu bukiikaddyo bali 65% olw’okunyiikira okwekebezanga.
Mu nsi yonna kookolo w’omu lubuto ye wookutaano mu bika bya kookolo asenkenya abantu era ng’akwata kya kusatu mu bika bya kookolo ebitirimbula abantu. Kookolo ono akola ebitundu 7% eby'abalwadde wamu n’ebitundu 9% eby’abantu abafa. Mu 2012, yakwata abantu emitwalo 950,000 era ng’emitwalo 723,000 be baafa. Ng’emyaka gya 1930 nga teginnaba, mu bitundu by’ensi ebisinga, nga ne Amerika mw’ogitwalidde, kookolo ow’omu lubuto ye yali asinga okutta abantu. Omuwendo gw’abantu abafa obulwadde buno gugenze gukendeera okuva olwo nga kino kirowoozebwa okuba nga kivudde ku kulya emmere ey’omu mikebe essibwa mu byuma ebinnyogoza okusobola okugikuuma nga nnungi. Kookolo w’omu lubuto ali nnyo mu nsi za Ssemazinga wa Asia ey’obukiika ddyo wamu ne Bulaaya ng’alabikira nnyo mu basajja okusinga bwe kiri mu bakazi.