Kwagalana Group
Kwagalana Group kibiina kya ky'abasuubuzi abaami n'abakyala abagagga mu Uganda. Okugatta awamu, ekibiina kino kikulemberwa Godfrey Kirumira kyali kibalirirwamu ssente ezisoba mu kawumbi ka UGX1,000/USD272 mu mwaka gwa 2009. [1] Ekibiina kino kyatandikibwawo mu 2002 [2] ekibinja ky’abasajja abagagga, kyokka okuva olwo obwammemba bw'eyongera okulinnya era ky'egattibwako bannabizinensi abalala abawerako nga Sudhir Ruparelia owa Ruparelia Group Joseph Magandaaziga, Dr. Hamis Kiggundu owa Ham Group [3] n'abaggagga abalala abawerako. [4] [5] [6]
Obuzirakisa
[kyusa | kolera mu edit source]Ekibiina kya Kwagalana Group kimanyiddwa nnyo olw’emirimu gy’obuzirakisa mu bammemba baakyo. [7] Bammemba b’ekibiina kino babadde bamanyiddwa olw'okuyamba mu bitundu n’enkulaakulana y’eggwanga nga bayita mu bizinensi n’obuzirakisa. Sudhir Ruparelia [8] naddala ng'ekitongole [9] kigasizza abaana n’abakyala abawerako. [10]
Mu kiseera kya nnawoookera w'ekirwadde kya COVID-19, ekibiina kya Kwagalana Group kyawaayo emmotoka ekika ky'akabangali eri minisitule y’ebyobulamu okuyambako mu kutambuza ebintu mu malwaliro ag'enjawulo. Kino ky'aliwo oluvannyuma lw'omulanga gw'okuwaayo obuyambi ogw’okubibwa Yoweri Museveni [11] [12] Bammemba nabo baawaayo obuyambi ssekinnoomu ku nsonga y’emu. [12]
Mu kisaawe kya bizinensi
[kyusa | kolera mu edit source]Bammemba ba Kwagalana Group balina bizinensi eziwerako mu Uganda, omuli wooteeri, Kkampuni z'amafuta, amasomero, amakampuni agasuubula ettaka n’amalala. Mu zin mulimu; Kkampuni ya Kirumira's Bargary Company Limited ekola ku mafuta, ne wooteri saako n'amayumba agapangisibwa n'amasomer ebya Sudhir's etc. Ba mmemba abalala mu kibiina kya Kwagalana Group mulimu Joseph Magandaazi Yiga nnannyini kkampuni y'emitayimbwa eya Steel and Tube Industries [13] Dr Sarah Nkonge, alina ebizimbe by'amaduuka (arcades) eziwerako mu Kampala ne Jinja. Era ye mukyala eyasooka okulondebwa ku bwa Loodi Meeya wa Kampala City. [14] Mwami Ben Kavuya, Proprietor Legacy Group [15] [16] ne Hamis Kiggundu nnannyini Ham Enterprises, saako ne bammemba abalala.
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://allafrica.com/stories/200903090500.html
- ↑ https://chimpreports.com/7244-kwagalana-group-members-appraisal-raises-fear/#google_vignette
- ↑ https://www.newvision.co.ug/category/agriculture/hamis-kiggundu-expresses-displeasure-over-fel-NV_190204
- ↑ https://eagle.co.ug/2024/08/18/tycoon-sudhir-businessmen-grace-speaker-among-bukedea-sports-facility-launch/
- ↑ https://www.forbes.com/profile/sudhir-ruparelia/
- ↑ https://www.watchdoguganda.com/news/20210616/115783/what-gen-katumba-wamala-told-billionaires-club-kwagalana-who-paid-him-visit-at-his-palatial-najjera-home.html#google_vignette
- ↑ https://kwagalanagroup.com/
- ↑ https://www.civsourceafrica.com/ugandas-wealthiest-man-talks-philanthropy
- ↑ https://www.rupareliafoundation.org/about-us/
- ↑ https://eagle.co.ug/2022/01/06/hundreds-of-orphans-reap-big-from-ruparelia-foundations-end-of-year-donation-drive/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1519075/kwagalana-donates-pick-fight-covid-19
- 1 2 https://www.spyuganda.com/kwagalana-group-donates-brand-new-4x4-truck-to-covid-19-task-force/
- ↑ https://www.ceo.co.ug/man-of-steel-how-steel-tube-industries-joseph-yiga-hot-rolled-himself-from-an-ordinary-hardware-retailer-to-a-ugx427-2-bn-a-year-steel-magnate/
- ↑ https://www.independent.co.ug/profile-sarah-nkonge-formula-success/
- ↑ http://legacygroupug.com/about-us/
- ↑ https://www.ceo.co.ug/uganda-govt-to-acquire-shares-in-businessman-ben-kavuyas-usd12-7-mn-medical-glove-making-firm/