Jump to content

Kwebiha Joyce

Bisangiddwa ku Wikipedia

Kwebiha Joyce olumu ayitibwa Kwebiha Joyce Mama Mission Munnayuganda, munnabyabufuzi. Yali y'esimbawo ku bwannamunigina ku kifo ky'omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Kyenjojo mu Paalamenti ya Uganda ey'omunaana .

Ye dayirekita wa leediyo ya Kyenjojo Development. [1]

Mu kisaawe ky'eby'obufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu kuggulawo ofiisi y'ekibiina kya National Unity Platform mu Gwekkuminogumu 2020 e Kyenjojo, Joyce ye yali omugenyi omukulu ku mukolo guno. [2] Yasaba emirembe n’obutebenkevu mu kiseera ky’okulonda kwa 2021 n’oluvannyuma lw’okulonda wadde nga wabeera enjawukana mu Bannayuganda mu sizoni y’ebyobufuzi n’oluvannyuma lw’akalulu nga kawedde. [2]

Mu 2007, omwaka Joyce lwe yeegatta ku Paalamenti ya Uganda ey’omunaana ng’omukyala omubaka my Paalamenti ya Uganda, yafuna okutiisibwatiisibwa okuttibwa okuva mu bawagizi b’omu ku baali beesimbyewo mu kulonda kw’aba ssentebe ba disitulikiti Local Council 5. Joyce yagamba nti okutiisatiisa okumutta kwava ku bigambibwa nti yali akubirako omu kw'abo abaali b'esimbyewo mu kaseera k'okulonda.[3] Mu kutiisibwatiisibwa kuno okw'okumutta kwalimu n’okutiisatiisa okwokya leediyo ya Kyenjojo Development Radio, gye yali dayirekita. [4]

Oluvannyuma mu Paalamenti eyaddako, Linda Timbigamba ow’emyaka 28, yawangula abadde mu ntebe, Joyce Kwebiha n’obululu 24,922, ku kifo ky’omubaka omukyala owa Kyenjojo era Kwebiha n’afuna obululu 20,106. [5] Yaddirirwa Miriam Kesiime n'obululu 14,123 ne Theresa Kabasinguzi n'asembayo n'obululu 11,911. [5]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]