Kwizera Eudia
Kwizera Eudia yali Munnayuganda, munnabyabufuzi. Yali Munnakibiina kya National Resistance Movement (NRM) era yaweereza mu Paalamenti ya Uganda ey’omunaana ng’akiikirira Disitulikiti y’e Kisoro .
Emisomo gye
[kyusa | kolera mu edit source]Yalina Satifikeeti ne Diguli mu kubudabuda abantu eya Bachelors Degree in Counselling. [1]
Emirimu gye egy'ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Kwizera yalondebwa ng'omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Kisoro mu 2006 ng'aweereza mu Paalamenti ya Uganda ey'omunaana . Yakiikirira ekitundu kye nga mmemba w’ekibiina kya NRM okutuusa mu 2011. Mu kisanja kye ng'aweerereza mu Paalamenti, yali yeenyigira mu kukubaganya ebirowoozo ku mateeka n’okulwanirira abantu, wadde ng’emirimu egy’enjawulo egy’obukiiko n’etteeka lye yawagira tebiwandiikiddwako mu lujjudde. [2]
Mu kulonda kw'ababaka ba Paalamenti okwa 2011, Kwisera yafiirwa ekifo kye eri Sarah Mateke Nyirabashitsi muwala wa eyali Minisita omubeezi mu kiseera ekyo Philemon Mateke . [3]
Emirimu gye nga tonnafa
[kyusa | kolera mu edit source]Yafa mu 2017 ku myaka 60 okuva mu ddwaaliro e Nsambya mu Kampala. [4] [5] [6] Kwizera kigambibwa nti yafa oluvannyuma lw’okulwala akaseera katono. [7] Nga tannafa, yaliko omubaka wa Paalamenti Omukyala mu Palamenti ya Uganda ey’omunaana nga yali akiikirira Disitulikiti y’e Kisoro okuva mu 2006 okutuuka mu 2011 nga Sarah Mateke Nyirabashitsi, muwala wa eyali Minisita omubeezi, Philemon Mateke tannakwata bubaka bwa Paalamenti obwa Disitulikiti y’e Kisoro. Kwizera yaziikibwa mu maka ga bajjajjaabwe mu Ggombolola y'e Rubugiru mu Disitulikiti y'e Kisoro.
Nga tannatandika byabufuzi, era yali akozesebwa ng’omukung’aanya w’abantu aba wansi mu kkampuni ya Compassion International. Yali mmemba ku lukiiko olufuzi mu African Queens and Women Cultural Leaders Network. Eudia, yalina omwana omu yekka ow’obulenzi ayitibwa Michael Kwizera.
Mu lukiiko lw’omubaka ba Africa olwatuula e Kenya, yakubirizza abakulembeze ba Africa okulongoosa ku mutindo gw'emmere elimibwa wamu n’okugirongoosa saako n’okugitunda. [8]
Okufa kwe n’omukululo gwe yaleka
[kyusa | kolera mu edit source]Kwizera yafa nga 12Ogwokutaano 2017 mu ddwaliro e Nsambya mu Kampala oluvannyuma lw’okulwalira akaseera katono. Kigambibwa nti we yafiira yali mu myaka gya nkaaga. Okufa kwe kwakungubagibwa nnyo banne mu byobufuzi n’abantu b’omu kitundu kye yali akiikirirra, abaali b'ejjukkanya okwewaayo kwe mu kuweereza abantu b’e Kisoro n’ebintu by’akoze mu bantu.
Yaziikiddwa mu maka ga bajjajjaabe mu Ggombolola y'e Rubuguri mu Disitulikiti y’e Kisoro . Kwizera ayaleka omwana we omu yekka Michael Kwizera. [9]
Laba ne bino
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://chimpreports.com/ex-kisoro-mp-eudia-kwizera-dead/
- ↑ https://chimpreports.com/ex-kisoro-mp-eudia-kwizera-dead/
- ↑ https://www.newvision.co.ugnull/
- ↑ https://chimpreports.com/ex-kisoro-mp-eudia-kwizera-dead/
- ↑ https://chimpreports.com/ex-kisoro-mp-eudia-kwizera-dead/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/1453179
- ↑ https://thelocal.ug/ex-nrm-kisoro-mp-dies-short-strange-illness/
- ↑ https://chimpreports.com/ex-kisoro-mp-eudia-kwizera-dead/
- ↑ https://chimpreports.com/ex-kisoro-mp-eudia-kwizera-dead/