Kyebambe IV owe Tooro
Template:Infobox royaltyRukirabasaija Daudi Kasagama Kyebambe III yali Omukama w'Obukama bwa Tooro (obumu ku bwakabaka obw'ennono obuna obusangibwa mu nsalo za Uganda ) okuva mu 1891 okutuuka mu 1928. Ye yali Omukama ow'ekkumi ow'e Tooro.

Okulinnya ku ntebe yObukama
[kyusa | kolera mu edit source]Yali mutabani wa Rukirabasaija Nyaika Mukabirere Olimi II, Omukama ow’okutaano (5) ow’e Toro, eyafugira wakati wa 1872 ne 1875. Maama we yali Vikitoria Kahinju. Mu 1875, oluvannyuma lw’okufa kwa kitaawe, yadduka ne nnyina saako ne baganda be babiri ne baddukira mu Ankole. Bwe yali eyo, bakulu be babiri battibwa ku biragiro bya Nnabagereka w’e Ankole, omu yali ayitibwa Kiboga . Oluvannyuma yabudamira mu Buganda .
Yakola endagaano ne Imperial British East Africa Company (IBEAC), era n’alangirirwa e Kabarole, Lord Lugard nga 14 Ogwomunaana 1891. Yatuuzibwa nga Omukama ow’e Tooro nga 16 Ogwomunaana 1891 e Kabarole.
Obulamu bwe obw’obufumbo
[kyusa | kolera mu edit source]Omukama Kasagama Kyebambe IV yawasa abakyala abawerako okusinziira ku mpisa z’edda, kyokka bonna n’abagaana, okuggyako mukyala we ow’ekkumi n’omu era gwe yali ayagala ennyo era gwe yaddamu okuwasa mu Kkanisa okusinziira ku nzikiriza y'e Kikulisitaayo ku, Lutikko ya St John, Kabarole, nga 4 Ogwotaano 1896. Erinnya lye yali ayitibwa Adyeri Damali Tibaitwa, muwala wa Nikodemo Kakurora, Omutaka wa Kitagwenda.
Abaana be
[kyusa | kolera mu edit source]- Rukirabasaija Sir George David Matthew Kamurasi Rukidi III, Omukama ow’ekkumi n’omu (11) ow’e Tooro, nga nnyina yali Damali Tibaitwa.
- Omubito Akiiki Hosea K. Nyabongo, nga nnyina tayogerwako. Yazaalibwa mu Fort Portal mu 1907. Yasomera mu Mengo High School, King's College, Budo, Queen's College, Oxford (Rhodes Scholar) ( MA ), Carmen Theological Seminary, Yunivasite ya Yale . ( BSc ), ne Yunivasite ya Harvard, (PhD). Yaweereza nga Pulofeesa mu Yunivasite y’e Alabama ate ng’omusomesa mu by’obufirosoofo mu A&T University of North Carolina. Era yakubiriza olukiiko oluteekerateekera ebibuga n'amawanga mu Uganda, wakati wa 1963 ne 1975. Yali mmemba w'ekibiina kya Uganda People's Congress . Yawandiika ekitabo; Winds And Lights: African Fairy Tales.. Yafiira Jinja, nga 3 Ogwekkumi 1975. Ye yali taata wa: Omubiito Amooti Nyabongo Kyebambe Mukarusa, eyazaalibwa mu Brooklynekya New Yorkmu Amerika, yasomera mu Tuskegee University n’aweereza mu Ggye ly’omu bbanga erya Amerika, oluvannyuma ne yeegatta ku kitongole kya poliisi ekya NYPD .
- Omubiito Akiiki Yokaana. B.Rwakatale.
- Omubiito Amooti Keith Kagoro era amanyiddwa nga Keesi Bahindi era nga yali Omusuga wa Rukirabasaija Rukidi III.
- Omubiito Araali Switzer Rwaboni Kaijomurubi [1]
- Omubiito Adyeri Solomon Okwiri* eyafumbirwa Angelinah M Okwiri
- Omubiito Atwooki Danyeri. K. Ogene ye taata wa Ambassador Anne Katusiime Kageye, consul General wa Uganda mu kitebe kya Uganda e Arusha mu Tanzania.
- Omubiito Kiijanangoma taata wa Kyebambe, Rubambaiguru, Mufumu, Kabasweka ne Ada Nyamutoka
- Omubiitokati Lusi, nga nnyina yali Damali Tibaitwa.
- Omubiitokati Ruth Komuntale nga nnyina yali Damali Tibaitwa. Yazaalibwa Kabarole mu 1900. Yatuuzibwa ku bwa Rubuga/ Batebe eri muganda we Omukama Rukidi III, nga 19 Ogusooka 1929.
- Omubiitokati Abwooli Agnes Nkwenge Kakoko ye maama w'omubaka wa Paalamenti Munnabyabufuzi era mulwanirizi w'eddembe ly'abalina ekirwadde kya mukenenya . Victoria Kakoko Sebagereka [2] [3]
- Omubiitokati Ada Nyamutoka.
- Omubiitokati Kabokya.
- Omubiitokati Adyeri Fredrick Rweru
- Omubiitokati Abwooli Jeruline Mpanja
- Omubiitokati Akiiki Juliana Komubaizi
- Omubiito Akiiki Charles Kimome
- Omubiitokati Atwooki Evasta Masamba
- Omubiitokati Abwooli Victoria Komukyeya
- Omubiitokati Adyeri Beatrice Kabasweka