Jump to content

Kyewaga Central Forest Reserve

Bisangiddwa ku Wikipedia
Kyewaga Central Forest Reserve Esingnibwa e Katabi mu Busiro Wakiso mu Bitundi bya Masekati ga Uganda

Kyewaga Central Forest Reserve kitundu kya bibira ekisangibwa mu Disitulikiti y'e Wakiso mu Uganda . Ekifo kino kimanyiddwa olw’ebitonde eby’enjawulo n’amakulu gaakyo mu butonde. Wabula mu myaka egiyise, kibadde kiyita mu mbeera y'okutiisibwatiisibwa n’okusoomoozebwa okw’enjawulo, omuli okusima omusenyu, ebidiba by’ebyennyanja, n’okuyingirirwa abasimba emiti abalina layisinsi nebatandika okukibeeramu.[1]

Wekisinganibwa n'engeri gyekikolamu emirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Kyewaga Central Forest Reserve esinganibwa mu Bitundu bya Masekati ga Uganda, naddala mu Disitulikiti y’e Wakiso. Kitwaala ekitundu ekinene ng'era kiweereza ng'ekifo eky'omugaso eri obutonde, ebimera n’ebisolo eby’enjawulo. Ekifo kino kimanyiddwa olw’ebimera by'omuddo ogw'enjawulo, ebika by’ebisolo by’omu nsiko, n’obuweereza bw’obutonde bw’ensi. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (June 2023)">okujuliza kwetaagisa</span> ]

Okutiisibwatiisibwa

[kyusa | kolera mu edit source]
Ebbaluwa ya poliisi y’e Kyewaga central reserve okuva mu kitongole kya NFA gyeyaweereza eri abatuuze nga babeetaga okwamuka ekitundu kisobozese okusimba emiti emirala egiwerako.

Ekimu ku bisinga okutiisa Kyewaga Central Forest Reserve kwe kusima omusenyu mu bumenyi bw'amateeka. Okuggya omusenyu muterekero lino kireese okwonooneka kw'obutonde okw’amaanyi, omuli okukulukuta kw’ettaka, okufiirwa ebifo ebisolo webibeera, n’okutaataaganyizibwa kw’amakubo g’amazzi ag’obutonde. Emirimu gy’okusima omusenyu tegukosezza butonde bwa bibira byokka wabula n’ebitundu ebiriraanyeewo nga byesigamye ku kibira okufuna eby’obugagga eby’enjawulo. [2]

Ensonga endala etawaanya Kyewaga Central Forest Reserve kwe kuteekawo ebidiba bye by'ennyanja mu nsalo zaayo. Abantu sekinnoomu batandise okubeera mu kifo kino, nebafuula ekimu ku bintu byakyo ekifo webalundira eby'enyanja. Okusenga mu kifo kino kuleetedde okusaanyizibwaawo bw'ebitundu by'ekibira kino ebimu n’okutaataaganya obutebenvu bw'embeera y’obutonde. [2]

Mu kaweefube w’okukola ku bantu abasenga mu kitundu n’okwonoonebwa kw’ekibira kya Kyewaga Central Forest Reserve, ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibira mu ggwanga kyawa ebiragiro okusengula abasiimba emiti abalina layisinsi abayingidde mu kifo kino. Ekibiina ekidukanya ebibira mu Uganda kigenderera okuzzaawo ettaka ly’ebibira eryali lyonoonese okuliza mu mbeera gye lyalimu. Ebikolwa bino bimu ku kaweefube w’okukuuma ekibira mu bugazi okukuuma obulungi bw’obutonde bw’ensi. [3]

Kaweefube w’okukuuma n’okuzzaawo

[kyusa | kolera mu edit source]

Olw’okutegeera obukulu bw’ekibira kya Kyewaga Central Forest Reserve, wabaddewo enteekateeka z’okuzaawo n’okukuuma eby’obugagga by’ekibira kino. Ekitongole kya NFA, wamu n’ebibiina ebirala ebikuuma obutonde bw’ensi n’ebitongole bya gavumenti, kikola ku ky’okuzaawo ebitundu ebyonooneddwa, okusa mu nkola enkola z’okuddukanya ebibira mu ngeri ey’olubeerera, n’okumanyisa abantu ku bukulu bw’okukuuma ebibira. [4]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "A forest reserve that fell to sand mining, fish ponds". Monitor (in Lungereza). 2021-01-06. Retrieved 2023-06-13.
  2. 1 2 "Kyewaga forest suffers as sand mining takes its toll". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-06-13.
  3. Writer, Secondopinion (2023-03-29). "NFA orders licensed tree planters to vacate Kyewaga Central Forest Reserve". THE SECOND OPINION (in American English). Retrieved 2023-06-13.
  4. "MTN Uganda launches initiative to restore 220 hectares of forest cover". Mazima News (in American English). 2021-08-24. Archived from the original on 2023-03-21. Retrieved 2023-06-13.