Lake Victoria Fisheries Organisation


Lake Victoria Fisheries Organization, kitongole ky’ebyobuvubi ku nnyanja Victoria (LVFO) ekiri wansi w’omukago gwa East African Community, n’ekigendererwa eky’okukwataganya, okukulaakulanya n’okutwala enkola z’okukuuma n’okuddukanya enkozesa ey’olubeerera ey’eby’obugagga mu Nnyanja Victoria, n’okutumbula emigaso gy’embeera z’abantu n’eby'enfuna okuva mu kiwonvu eri amawanga agali mu mukago; Kenya, Tanzania, [1] Burundi, ne Uganda. [2] Ekitebe kya LVFO ekikulu kisinganibwa Jinja, mu Uganda. LVFO ekolagana nnyo n’ebitongole by’eggwanga ebinoonyereza ku by’obuvubi mu mawanga eg'emirundi esatu agakolagana nabyo.
LVFO yatandikibwawo mu Gwomukaaga mu 1994 nga bayita mu “Lukungaana lw’Okutandikawo ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'obuvubi ku Nnyanja Victoria”, [3] era nga yeesigamiziddwa ku kakiiko akatono aka CIFA akavunaanyizibwa ku nkulaakulana n’okuddukanya eby’obuvubi mu nnyanja Victoria. CIFA kakiiko ka FAO akavunaanyizibwa ku by’obuvubi mu mawanga ga Afrika ag'omunda.
Ekikula kyayo
[kyusa | kolera mu edit source]LVFO erimu ebitongole Ebiddukanya n’Okunoonyereza ku by’obuvubi n’Eby'obulamu by'Omumazzi eby’amawanga ag’omukago, ebitongole ebiddukanya bbiici, Obwassaabawandiisi , Ebibiina by’abalongoosa eby'ennyanja n’ababitunda ebweru w’eggwanga. [4] [5]
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "FAO Fisheries & Aquaculture". www.fao.org. Retrieved 2024-05-22.
- ↑ "FAO Fisheries & Aquaculture". www.fao.org. Retrieved 2024-05-22.
- ↑ "FAO Fisheries & Aquaculture". www.fao.org. Retrieved 2024-05-22.
- ↑ "Structure of LVFO | East African Community". www.lvfo.org. Retrieved 2024-05-22.
- ↑ "FAO Fisheries & Aquaculture". www.fao.org. Retrieved 2024-05-22.